Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 1-4

EKITABO I

Zabbuli 1–41

(A)Alina omukisa omuntu
    atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
    newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
(B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
    era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
(C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

(D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
    Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
(E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
    newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

(F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
    naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
(G)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(H)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(I)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(J)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(K)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(L)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(M)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(N)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (O)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (P)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(Q)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(R)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(S)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(T)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(U)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(V)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(W)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(X)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
    Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
    Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

(Y)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
    Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
(Z)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
    Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

(AA)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
    mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
(AB)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
    era mwesigenga Mukama.

(AC)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
    otumulisize omusana gw’amaaso go.”
(AD)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
    erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

(AE)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
    kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
    ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Zabbuli 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

(A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
    ngobaako bonna abangigganya era omponye,
(B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
    ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

(C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
    era ng’engalo zange ziriko omusango,
obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
    oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
    bankube wansi banninnyirire,
    banzitire mu nfuufu.

(D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
    Golokoka, Ayi Katonda wange,
    onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
    obafuge ng’oli waggulu ennyo.
    (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era n’amazima agali mu nze bwe gali.
(F)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
    alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
    era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
    n’aleega omutego gwe
    ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
    era akozesa obusaale obw’omuliro.

14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
    n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
    ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
    n’obukambwe bwe bumuddire.

17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
    nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Danyeri 1

Okutendekebwa kwa Danyeri mu Babulooni

(A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba Yerusaalemi. (B)Mukama n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n’ebintu ebimu eby’omu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza n’abiggyamu n’abitwala e Babulooni n’abiteeka mu ggwanika ery’omu ssabo lya lubaale we.

(C)Nebukadduneeza n’alagira Asupenaazi omukulu w’abalaawe be alonde mu Bayisirayiri ab’omu lulyo olulangira, ne mu bakungu, abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu by’amagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obw’okubayigirizanga amagezi g’Abakaludaaya, n’olulimi lwabwe. (D)Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.

(E)Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya. (F)Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.

(G)Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa. (H)Mu biro ebyo Katonda n’akozesa Asupenaazi okulaga ekisa n’okusaasira eri Danyeri. 10 Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.” 11 Awo Danyeri n’agamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti, 12 “Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa n’amazzi ag’okunywa. 13 N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.” 14 N’akkiriziganya nabo ku nsonga eyo, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 15 (I)Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka. 16 (J)Awo omusigire n’alekayo okubawa emmere yaabwe ey’enjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, n’abawa enva endiirwa.

17 (K)Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.

18 (L)Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza. 19 (M)Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka. 20 (N)Buli nsonga ey’amagezi n’ey’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo n’abafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.

21 (O)Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.

1 Yokaana 1

Kigambo Aleeta Obulamu

(A)Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. (B)Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. (C)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. (D)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

Okutambulira mu Musana

(E)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. (F)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. (G)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. (H)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. (I)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (J)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.

Yokaana 17:1-11

Yesu Yeesabira

17 (A)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti,

“Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize, (B)nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. (C)Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. (D)Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. (E)Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”

Yesu Asabira Abayigirizwa be

(F)“Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo. Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli, (G)kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma. (H)Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo. 10 (I)Ng’ebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa. 11 (J)Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.