Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(E)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(F)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(G)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
(B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

(C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
(D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
(E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
(F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
(G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

(H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

(I)Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Yeremiya 23:16-32

16 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,

“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
    babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
    so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 (B)Bagamba abo abannyooma nti,
    Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
    babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18 Naye ani ku bo
    eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
    oba okuwulira ekigambo kye?
19 (C)Laba, omuyaga gwa Mukama
    gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
    eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 (D)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
    okutuusa ng’amaze okutuukiriza
    ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. 21 (E)Situmanga bannabbi bano,
    songa bagenda
    badduka n’obubaka buno,
era sogeranga nabo,
    songa bategeeza obunnabbi.
22 (F)Naye singa bayimirira mu maaso gange,
    bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,
era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi
    era ne mu bikolwa byabwe ebibi.

23 (G)“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
    so si abeera ewala?”
    bw’ayogera Mukama.
24 (H)“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
    ne sisobola kumulaba?”
    bw’ayogera Mukama.
    “Sijjuza eggulu n’ensi?”
    bw’ayogera Mukama.

25 (I)“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 (J)Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 (K)Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 29 (L)“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

30 (M)“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. 31 (N)“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ 32 (O)Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.

1 Abakkolinso 9:19-27

19 (A)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (B)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (C)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (D)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.

24 (E)Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 (F)Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 (G)Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Makko 8:31-9:1

Yesu Alanga Okufa kwe n’Okuzuukira kwe

31 (A)Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.” 32 (B)Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali n’atandika okumunenya.

33 (C)Yesu n’akyuka n’atunuulira abayigirizwa be, n’alyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku by’abantu.”

34 (D)Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. 35 (E)Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya. 36 Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 37 Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olw’obulamu bwe? 38 (F)Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

Okufuusibwa kwa Yesu

(G)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.