Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
togaya kwegayirira kwange.
2 (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
3 (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.
4 (D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
entiisa y’okufa entuukiridde.
5 (E)Okutya n’okukankana binnumbye;
entiisa empitiridde.
6 Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
7 “Nandiraze wala nnyo,
ne mbeera eyo mu ddungu;
8 (F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”
9 (G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
15 (K)Okufa kubatuukirire,
bakke emagombe nga bakyali balamu;
kubanga bajjudde okukola ebibi.
16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
ndaajana nga bwe nsinda;
n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
nga siriiko kintuseeko
newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
era abatatya Katonda.
20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
ajja kukuwanirira;
kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.
Naye nze, neesiga ggwe.
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (K)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7 (M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 (N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
Ekyeya Kikoma
41 Eriya n’agamba Akabu nti, “Genda olye, n’okunywa onywe; kubanga waliwo okubwatuka kw’enkuba ey’amaanyi.” 42 (A)Awo Akabu n’agenda okulya n’okunywa, naye Eriya n’alinnya ku ntikko y’olusozi Kalumeeri, n’akutama, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.
43 N’agamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.”
Omuweereza n’agenda n’alaba n’akomawo n’amugamba nti, “Teri kye ndabyewo.”
Eriya n’amugamba addeyo emirundi musanvu.
44 (B)Ku mulundi ogw’omusanvu omuweereza n’akomawo n’agamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ng’omukono gw’omuntu kyambuka okuva mu nnyanja.”
Eriya n’amugamba nti, “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba nga tennakuziyiza.’ ”
45 Mu kiseera kyekimu, eggulu ne libindabinda, kibuyaga ne yeeyongera, enkuba ey’amaanyi n’ejja, Akabu n’ayolekera e Yezuleeri. 46 (C)Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.
Eriya Addukira e Kolebu
19 (D)Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala. 2 (E)Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.”
3 (F)Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we. 4 (G)Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.” 5 (H)N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.
Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, “Golokoka olye.” 6 N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.
7 Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.” 8 (I)Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.
17 (A)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (B)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (C)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (D)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. 21 (E)Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
Okuyigiriza
4 (F)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
2 (G)Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. 3 Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
4 (H)Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. 5 (I)Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. 6 (J)Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. 7 (K)N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
Okubatizibwa kwa Yesu
13 (A)Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”
15 Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.
16 (B)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 (C)Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.