Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37

Zabbuli ya Dawudi.

37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
    so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
(B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
    bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

(C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
    onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
(D)Sanyukiranga mu Mukama,
    anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

(E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
    mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
(F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
    n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

(G)Siriikirira awali Mukama,
    ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
    Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

(H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
    teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
(I)Kubanga ababi balisalibwako,
    naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
    wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
    ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
    kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
    ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
    era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
    n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
    bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
    naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
    era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
    ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20 (S)Naye ababi balizikirira;
    abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
    era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
    naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
    naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
    aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
    kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
    naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
    wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
    Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
    munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
    n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
    naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
    ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
    n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
    era ebigere bye tebiseerera.

32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
    ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
    wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
    otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
    ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
    ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
    ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37 (AI)Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;
    obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
38 (AJ)Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
    ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

39 (AK)Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
    ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 (AL)Mukama abayamba n’abalokola;
    abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
    kubanga gy’ali gye baddukira.

1 Bassekabaka 11:1-13

Abakazi ba Sulemaani

11 (A)Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, (B)nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. (C)Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. (D)N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.

(E)Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi[a] akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. (F)Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 10 (G)Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 11 (H)Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12 Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 13 (I)Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”

Yakobo 3:13-4:12

Amagezi agava mu ggulu

13 (A)Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 (B)Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 (C)Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

17 (D)Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 (E)Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

Mweweeyo eri Katonda

(F)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (G)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

(H)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (I)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(J)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. (K)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. (L)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

11 (M)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (N)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Makko 15:12-21

12 Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”

13 Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”

14 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”

15 (A)Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.

Abaserikale baduulira Yesu

16 (B)Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. 17 Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. 18 (C)Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!” 19 Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. 20 (D)Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.

Yesu akomererwa ku musaalaba

21 (E)Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,[a] kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.