Old/New Testament
Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”
3 (B)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti; 4 (C)“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”
5 (D)Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. 6 (E)Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. 8 (F)Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. 9 (G)“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. 10 (H)Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. 11 (I)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”
12 (J)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
13 (K)Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama. 14 (L)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe, 15 (M)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.
Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya
2 Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 2 “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, 3 (N)‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? 4 (O)Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 5 (P)‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’
6 (Q)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. 7 (R)Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 8 ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye. 9 (S)‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Okubuulirira n’Okusuubiza
10 (T)Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 11 (U)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba. 12 (V)Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ”
Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”
13 (W)Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?”
Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”
14 (X)Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.
15 (Y)“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama. 16 (Z)Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. 17 (AA)Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera Mukama. 18 (AB)Okuva olunaku lwa leero, olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama. Mwebuuze nti, 19 Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala.
“ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”
20 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti, 21 (AC)“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi. 22 (AD)Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.
23 (AE)“ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Omukazi eyali Yeebagadde Ekisolo
17 (A)Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. 2 (B)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”
3 (C)Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. 4 (D)Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe. 5 (E)Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti:
Babulooni Ekibuga Ekikulu
Nnyina wa Bamalaaya bonna,
era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.
6 (F)Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu.
Bwe namulaba ne neewuunya. 7 (G)Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. 8 (H)Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.
9 (I)“Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu. 10 Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. 11 (J)Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.
12 (K)“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu. 13 (L)Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe. 14 (M)Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”
15 (N)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi. 16 (O)Ekisolo n’amayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina ky’ayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya n’omuliro. 17 (P)Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, n’okukola n’omwoyo gumu n’okuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. 18 (Q)Ate omukazi gwe walabye, ky’ekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna ab’oku nsi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.