Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Koseya 12-14

12 (A)Efulayimu alya mpewo;
    agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
    era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
    n’aweereza n’amafuta e Misiri.
(B)Mukama alina ensonga ne Yuda,
    era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
    Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
(C)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
    ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
(D)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
    n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
(E)Mukama Katonda ow’Eggye,
    Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
(F)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
    kuuma okwagala n’obwenkanya,
    olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.

(G)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
    era anyumirwa okukumpanya.
(H)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
    “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
    wadde okwonoona kwonna.”

(I)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
    nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (J)Nayogera eri bannabbi,
    ne mbawa okwolesebwa kungi,
    ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (K)Gireyaadi butali butuukirivu
    era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
    era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (L)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[a]
    Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
    era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (M)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
    era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (N)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
    Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
    n’amusasula olw’obunyoomi bwe.

Mukama Asunguwalira Isirayiri

13 (O)Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
    Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
    Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
(P)Ne kaakano bongera okwonoona;
    ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
    nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
    “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
    ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
(Q)Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
    oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
    ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
    oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.

(R)“Nze Mukama Katonda wo
    eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
    so tewali mulokozi wabula nze.
Nakulabirira mu ddungu,
    mu nsi ey’ekyeya ekingi.
(S)Bwe nabaliisa, bakkuta;
    bwe bakkuta ne beegulumiza,
    bwe batyo ne banneerabira.
Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
    era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
(T)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
    ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
    ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
(U)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
    kubanga munnwanyisa.
10 (V)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
    Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
    ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (W)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
    ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (X)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
    era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (Y)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
    naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
    tavaayo mu lubuto.

14 (Z)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
    era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
    Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,
15     (AA)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
    ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
    n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
    eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 (AB)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
    kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
    n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

Okwenenya Kuleeta Omukisa

14 (AC)Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
    Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
(AD)Mudde eri Mukama
    nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
    otwanirize n’ekisa,
    bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
(AE)Obwasuli tebusobola kutulokola;
    Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
    nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
    kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

(AF)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
    ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
    Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
(AG)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
    alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
    (AH)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
    n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
(AI)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
    era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
    era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
(AJ)Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
    Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

(AK)Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
    era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
    n’abatuukirivu bagatambuliramu,
    naye abajeemu bageesittaliramu.

Okubikkulirwa 4

Entebe ey’Obwakabaka mu Ggulu

(A)Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.” (B)Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. (C)Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi. (D)Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. (E)Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda. (F)Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.

(G)Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. (H)Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,

“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,
Mukama Katonda Ayinzabyonna,
Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

(I)Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, 10 (J)abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti,

11 (K)“Mukama waffe era Katonda waffe,
    osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,
kubanga gwe watonda ebintu byonna
    era byonna byatondebwa ku lulwo
    era gwe wasiima okubiteekawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.