Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 14-15

Abusaalomu Akomawo e Yerusaalemi

14 (A)Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. (B)Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu. (C)Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu n’amuwa ebigambo eby’okwogera.

Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” Kabaka n’amubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” N’addamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa. Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne. (D)Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”

(E)Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.” (F)Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”

10 Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”

11 (G)Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”

12 Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.”

13 (H)Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa? 14 (I)Ffenna tuli baakufa, ng’amazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gy’anaayinza okukomyawo omuntu abuze.

15 “Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba. 16 (J)Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’

17 (K)“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”

18 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”

19 (L)Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”

Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 20 (M)Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”

21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”

22 (N)Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”

23 Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24 Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.

25 Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 26 (O)Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.

27 (P)Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.

28 Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 30 (Q)Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.

31 (R)Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 32 (S)Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”

33 (T)Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.

Obujeemu bwa Abusaalomu

15 (U)Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu. (V)Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” (W)Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.” (X)Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”

Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa. (Y)Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.

Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama. (Z)Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ” Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni.

10 (AA)Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” 11 Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo. 12 (AB)Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi[a] Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.

13 Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.”

14 (AC)Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.” 15 Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.”

16 (AD)Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri. 17 Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo. 18 (AE)Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.

19 (AF)Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe. 20 (AG)Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.”

21 (AH)Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”

22 Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo. 23 (AI)Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.

24 (AJ)Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.

25 (AK)Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu. 26 (AL)Naye bw’alisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bw’asiima.”

27 (AM)Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe. 28 (AN)Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.” 29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo.

30 (AO)Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere[b]. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba. 31 (AP)Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”

32 (AQ)Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki[c] yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 33 (AR)Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu. 34 (AS)Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu. 35 (AT)Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri. 36 (AU)Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”

37 (AV)Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n’atuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.

Lukka 17:1-19

Ekibi, Okukkiriza, Omulimu

17 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. (B)Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. (C)Mwekuume.

“Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. (D)Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”

(E)Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”

(F)Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.

“Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ (G)Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 (H)Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”

Abagenge Kkumi Bawonyezebwa

11 (I)Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. 12 (J)Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako 13 (K)ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”

14 (L)Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

15 (M)Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 16 (N)N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

17 Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18 Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” 19 (O)Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.