Old/New Testament
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
2 (B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3 (C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4 (D)Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
5 (E)Mukama anaakulwaniriranga;
bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
6 (F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
7 (G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.
111 Mutendereze Mukama!
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2 (H)Mukama by’akola bikulu;
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4 (I)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5 (J)Agabira abamutya emmere;
era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7 (K)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (L)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9 (M)Yanunula abantu be;
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10 (N)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (O)Mutendereze Mukama![b]
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 (P)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 (Q)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 (R)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 (S)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 (T)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 (U)Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 (V)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
Okugoba owooluganda ow’empisa embi
5 (A)Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we. 2 (B)Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe? 3 (C)Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga. 4 Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe. 5 (D)Omuntu ng’oyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.
6 (E)Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ng’ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? 7 (F)Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe. 8 (G)Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.
9 (H)Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, 10 (I)so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. 11 (J)Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.
12 (K)Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? 13 (L)Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.