Old/New Testament
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
5 (D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 (E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 (F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 (G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 (H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (Q)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (R)Nnaamukulemberanga,
n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (S)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (T)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (U)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (V)Alifuga okuva ku migga
okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (W)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (X)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (Y)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (Z)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
ne batagondera mateeka gange,
32 (AA)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (AB)Naye ssirirekayo kumwagala,
wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (AC)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.
38 (AD)Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
omukyaye era omunyiigidde.
39 (AE)Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 (AF)Wamenyaamenya bbugwe we yenna,
n’oggyawo n’ebigo bye.
41 (AG)Abatambuze baanyaga ebintu bye;
n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 (AH)Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
n’osanyusa abalabe be bonna.
43 (AI)Wakyusa ekitala kye
n’otomuyamba mu lutalo.
44 Ekitiibwa kye wakikomya;
entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 (AJ)Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,
n’omuswaza.
46 (AK)Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 (AL)Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 (AM)Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
n’awangula amaanyi g’emagombe?
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 (AN)Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 (AO)abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
52 (AP)Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (AQ)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (AR)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (AS)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (AT)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (AU)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (AV)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7 Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8 (AW)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9 (AX)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (AY)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (AZ)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (BA)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13 (BB)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (BC)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (BD)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (BE)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
Obutanenyagananga lwa Byakulya
14 (A)Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. 2 Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka. 3 (B)Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza. 4 (C)Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
5 (D)Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu. 6 (E)Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda. 7 (F)Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe. 8 (G)Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.
9 (H)Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu. 10 (I)Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula. 11 (J)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama,
‘buli vviivi lirinfukaamirira
era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”
12 (K)Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
Okwesittaza Abalala
13 (L)Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. 14 (M)Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 15 (N)Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 16 (O)Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 17 (P)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18 (Q)Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.
19 (R)Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka. 20 (S)Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala. 21 (T)Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.
22 (U)Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu. 23 (V)Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.