Old/New Testament
Sulemaani Asaba Amagezi
1 (A)Sulemaani mutabani wa Dawudi n’atebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era n’amugulumiza nnyo.
2 (B)Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe. 3 (C)Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu. 4 (D)Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema. 5 (E)Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama. 6 Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7 (F)Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti, “Saba kyonna ky’oyagala nkuwe.”
8 (G)Sulemaani n’addamu Katonda nti, “Olazze kitange Dawudi ekisa n’okwagala kungi nnyo, n’onfuula omusika we. 9 (H)Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka ow’eggwanga eryenkana ng’enfuufu ku nsi mu bungi bwayo. 10 (I)Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?”
11 (J)Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe, 12 (K)amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.”
13 Awo Sulemaani n’ava mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu e Gibyoni n’addayo e Yerusaalemi. N’afuga Isirayiri.
14 (L)Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga. 15 (M)Kabaka n’afuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ng’amayinja; era n’afuula n’emivule okuba emingi ng’emisukamooli mu nsenyi. 16 Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo. 17 (N)Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.
Enteekateeka z’Okuzimba Yeekaalu
2 (O)Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka. 2 (P)N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.
3 (Q)Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti,
“Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu. 4 (R)Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.
5 (S)“Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. 6 (T)Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?
7 (U)“Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8 “Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo 9 okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa. 10 (V)Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”
11 (W)Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti,
“Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”
12 (X)N’ayongerako na kino nti,
“Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.
13 (Y)“Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi, 14 (Z)ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.
15 (AA)“Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza, 16 (AB)tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”
17 (AC)Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. 18 (AD)N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.
Sulemaani Azimba Yeekaalu
3 (AE)Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 2 (AF)Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.
3 (AG)Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda. 4 Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu. 5 (AH)Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu. 6 N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu. 7 (AI)Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.
8 (AJ)N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu. 9 (AK)Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.
10 (AL)Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu. 11 Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala. 12 N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala. 13 (AM)Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye. 14 (AN)N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.
15 (AO)Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu. 16 (AP)N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo. 17 N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini[a], n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi[b].
Omusumba Omulungi
10 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 2 (A)Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. 3 (B)Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. 4 Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5 Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 6 (C)Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
7 Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. 8 (D)Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. 9 Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10 Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
11 (E)“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 (F)Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 (G)“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 (H)Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 (I)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 (J)Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 (K)Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
19 (L)Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 (M)Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21 (N)Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
22 Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 23 (O)Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.