Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 21-22

Dawudi Atangirira Abagibyoni

21 (A)Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”

(B)Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni[a] n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.) (C)Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?” (D)Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?” Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri, (E)tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”

(F)Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo. (G)Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali[b] muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. (H)N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.

10 (I)Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola, 12 (J)n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani. 13 Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.

14 (K)Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.

Entalo n’Abafirisuuti

15 (L)Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo. 16 Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi. 17 (M)Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”

18 (N)Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi[c] Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu. 19 (O)Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani[d] mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

20 Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo. 21 (P)Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.

22 Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.

Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza

22 (Q)Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. (R)N’ayogera nti,

Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
    (S)Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
    ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
    ggwe ondokola eri abantu ababi.
(T)Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
    n’andokola eri abalabe bange.

(U)“Amayengo ag’okufa ganzingiza;
    embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
(V)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
    n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
(W)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
    nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
    n’okukaaba kwange kwamutuukako.

(X)“Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
    emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
    ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
(Y)Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
    n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
    n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 (Z)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
    ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 (AA)Ne yeebagala kerubi n’abuuka,
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
    n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 (AB)Okumasamasa okwali mu maaso ge
    kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 (AC)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
    Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 (AD)Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
    n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 (AE)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
    n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
    n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.

17 (AF)“Yasinzira waggulu n’antwala
    n’ansika mu mazzi amangi.
18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
    abo abaali bansinza amaanyi.
19 (AG)Bannumba mu nnaku yange
    naye Mukama n’ampanirira.
20 (AH)Yandeeta mu kifo ekigazi;
    yandokola kubanga yansanyukira.

21 (AI)Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
    n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 (AJ)Ntambulidde mu kkubo lya Mukama,
    era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 (AK)Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
    era ssaava ku biragiro bye.
24 (AL)Sizzanga na musango mu maaso ge,
    era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 (AM)Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.

26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
    n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 (AN)eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
    n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 (AO)Olokola abantu abawombeefu,
    naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 (AP)Oli ttaala yange, Ayi Mukama
    era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30 Ku lulwe mpangula eggye,
    era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 (AQ)Ekkubo lya Katonda golokofu,
    n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
    abaddukira gy’ali.
32 (AR)Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
    era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33 Katonda kye kiddukiro kyange,
    era alongoosa ekkubo lyange.
34 (AS)Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
    era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 (AT)Anteekateeka okulwana entalo,
    era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 (AU)Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
    ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 (AV)Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,
    n’obukongovvule bwange tebukoonagana.

38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
    so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 (AW)Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
    era bali wansi w’ebigere byange.
40 (AX)Wampa amaanyi okulwana entalo,
    n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 (AY)Waleetera abalabe bange okunziruka,
    ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 (AZ)Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
    ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 (BA)Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
    ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.

44 (BB)“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
    n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
45     (BC)Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
    bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 (BD)Bonna baggwaamu omwoyo,
    ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.

47 (BE)Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
    Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 (BF)Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
    era ateeka amawanga wansi wange;
49     (BG)anziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
    n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 (BH)Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
    era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 (BI)Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
    era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
    eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Lukka 18:24-43

24 (A)Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

27 (B)Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

28 (C)Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”

29 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 30 (D)atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

31 (E)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (F)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (G)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

34 (H)Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza

35 (I)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36 Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” 37 (J)Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”

38 (K)Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 39 (L)Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

40 Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41 “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” 42 (M)Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” 43 (N)Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.