Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 16-18

Dawudi ne Ziba

16 (A)Awo Dawudi bwe yali ng’atambuddeko ebbanga ttono n’okuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi n’ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n’ebirimba eby’ezabbibu enkalu kikumi, n’ebirimba eby’ebibala eby’ekyeya kikumi, n’ekita kya wayini. (B)Kabaka n’abuuza Ziba nti, “Bino oleese bya ki?” Ziba n’addamu nti, “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga, n’emigaati n’ebibala bya bavubuka okulya, ne wayini, w’abo abaliyongobera mu ddungu.”

(C)Kabaka n’amubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”

Awo kabaka n’agamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba n’ayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”

Simeeyi Akolimira Dawudi

(D)Awo kabaka Dawudi bwe yali ng’anaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja ow’omu kika ky’ennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; n’akolima nga bw’asembera okumpi ne we baali. N’akasuukirira Dawudi n’abakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna n’abakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono. Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali! (E)Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”

(F)Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya[a] n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.” 10 (G)Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”

11 (H)Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde. 12 (I)Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange n’ansasula obulungi olw’okukolima okwo.”

13 Awo Dawudi n’abasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi n’ayitira ku lusozi okumwolekera nga bw’akolima, nga bw’amukasuukirira amayinja n’enfuufu. 14 (J)Kabaka n’abantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye. N’aweereraweerera eyo.

Amagezi Kusaayi ne Akisoferi ge baawa

15 (K)Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye. 16 (L)Awo Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, n’ajja eri Abusaalomu n’ayogera nti, “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!” 17 (M)Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti, “Bw’otyo bw’olaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?”

18 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gw’anaalonda, n’abantu bano, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abanga wuwe era n’abeeranga naye. 19 (N)Era nate n’aweereza ani okuggyako mutabani we? Nga bwe naweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga.” 20 Abusaalomu n’agamba Akisoferi nti, “Tuwe ku magezi. Tunaakola tutya?”

21 Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.” 22 (O)Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.

23 (P)Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.

17 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. (Q)Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta, naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.” Ekigambo ekyo Abusaalomu n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima.

(R)Naye Abusaalomu n’ayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire ky’anaayogera ku nsonga eyo.” Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?

Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi g’abawadde si malungi ku mulundi guno. (S)Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale. (T)Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’ 10 (U)Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira.

11 (V)“Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo. 12 Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu. 13 (W)Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.”

14 (X)Awo Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki ky’aleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” Mukama yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu. 15 Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati. 16 (Y)Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ”

17 (Z)Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, n’oluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga. 18 (AA)Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 19 (AB)Omukyala we n’addira ekisaanikira n’asaanikira ku kamwa k’oluzzi, n’ayiwako eŋŋaano n’agisaasaanyizaako. Ne wataba n’omu eyakitegeera.

20 (AC)Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.

21 Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.” 22 Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani.

23 (AD)Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, n’agenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. N’ateekateeka ennyumba ye, n’oluvannyuma ne yeetuga. N’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe.

24 (AE)Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani. 25 (AF)Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. 26 Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.

27 (AG)Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba eky’Abamoni, ne Makiri[b] mutabani wa Ammiyeri ow’e Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi ow’e Logerimu, 28 ne bamuleetera ebyokwebikka, n’ebibya, n’entamu, n’eŋŋaano, ne sayiri, n’obutta, n’eŋŋaano ensiike, n’ebijanjaalo, n’empindi, ne mpokya omusiike, 29 (AH)n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”

Okufa kwa Abusaalomu

18 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi. (AI)Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”

(AJ)Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.” Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi. Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.”

Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu. (AK)Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri. Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala.

(AL)Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso. 10 Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.” 11 (AM)Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”

12 Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’ 13 (AN)Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”

14 (AO)Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera. 15 (AP)N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.

16 (AQ)Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza. 17 (AR)Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.

18 (AS)Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.

Dawudi Akungubagira Abusaalomu

19 (AT)Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20 Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”

21 Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23 N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”

Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.

24 (AU)Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka. 25 Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera.

26 (AV)Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”

27 (AW)Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”

28 Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”

29 Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”

30 Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo.

31 Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”

32 (AX)Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”

33 (AY)Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”

Lukka 17:20-37

Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda

20 (A)Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, 21 (B)era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”

22 (C)Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 23 (D)Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 24 (E)Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 25 (F)Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.

26 (G)“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.

28 (H)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

30 (I)“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 (J)Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 (K)Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 (L)Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 (M)Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”

37 (N)Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”

Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega[a] we zirikuŋŋaanira!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.