Old/New Testament
Omugabo gwa Simyoni
19 (A)N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. 2 (B)Kyali kitwaliramu
Beeruseba, oba Seba, ne Molada, 3 ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, 4 ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, 5 ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa 6 ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.
7 (C)Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, 8 (D)n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.
Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 9 (E)Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.
Ensi ya Zebbulooni
10 (F)Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi. 11 (G)Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. 12 Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. 13 (H)Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. 14 Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; 15 (I)ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu[a], ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.
16 (J)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
Omugabo gwa Isakaali
17 (K)Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali: 18 (L)Omugabo gwabwe gwalimu
Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu, 19 ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi, 20 ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi, 21 ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.
22 (M)Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.
Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
23 (N)Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Omugabo gwa Aseri
24 (O)N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 25 Ekitundu kyabwe kyalimu
Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu, 26 (P)ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi, 27 (Q)ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono. 28 (R)Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene. 29 (S)Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu, 30 ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.
31 (T)Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Ensi ya Nafutaali
32 Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
33 N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani. 34 N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.
35 (U)N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi, 36 (V)ne Adama ne Laama ne Kazoli, 37 (W)ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli, 38 ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi,
ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.
39 (X)Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Omugabo gwa Ddaani
40 Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 41 N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu
Zola ne Esutaoli ne Irusemesi 42 (Y)ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula 43 (Z)ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni 44 ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi 45 (AA)ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni 46 (AB)ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.
47 (AC)Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.
48 (AD)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Omugabo gwa Yoswa
49 Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo 50 (AE)ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.
51 (AF)Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
Ebibuga ekyokwekwekamu
20 Mukama Katonda n’alyoka agamba Yoswa nti, 2 “Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa, 3 (AG)era nti omuntu yenna atta omulala nga tagenderedde era nga takitegese addukirenga omwo, eyo gy’anaawoneranga omuwoolezi w’eggwanga ayagala okwesasuza.
4 (AH)“Annadukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga annyonnyole ensonga ye eri abakadde b’ekibuga ekyo. Awo ne balyoka bamukkiriza okuyingira mu kibuga ne bamuwa ekifo eky’okubeeramu. 5 N’oyo ayagala okwesasuza singa anaamugobereranga, tebateekwa kuwaayo oyo asse tagenderedde kubanga muliraanwa we yamutta tagenderedde, lwa kuba nti yamulinako ekiruyi n’obukyayi.
6 (AI)“Mu kibuga omwo mwanaabeeranga, abantu baamu banaawuliranga ensonga ye, era anaabeeranga omwo okutuusa kabona omukulu aliko mu kiseera ekyo, lw’alifa. Olwo nno aliddayo ewaabwe mu kibuga gye yadduka.”
7 (AJ)Awo ne baawulako ebibuga bino: Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey’ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba, ye Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda. 8 (AK)N’emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw’ebuvanjuba ne bateekayo Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase. 9 (AL)Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi w’eggwanga okutuusa lw’aliyimirira mu maaso g’ekibiina.
Ebibuga by’Abaleevi
21 (AM)Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri 2 (AN)e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”
3 Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.
4 (AO)Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
5 (AP)Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
6 (AQ)N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.
7 (AR)Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.
8 Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.
9 Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: 10 bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
11 (AS)Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. 12 Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. 13 (AT)Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, 14 (AU)ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, 15 (AV)ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, 16 (AW)ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.
17 (AX)Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba 18 ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
19 Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
20 Eri Abakokasi[b] abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.
21 (AY)N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo, 22 (AZ)ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,
23 ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, 24 (BA)Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
25 Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.
26 Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.
27 (BB)N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi,
ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.
28 (BC)Ne mu kika kya Isakaali,
Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo, 29 Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,
30 (BD)ne mu kika kya Aseri,
Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo, 31 Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
32 (BE)Ne mu kika kya Nafutaali,
Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.
33 (BF)Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
34 (BG)Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa
okuva mu kika kya Zebbulooni,
Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo, 35 Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
36 (BH)Ne mu kika kya Lewubeeni,
Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo, 37 Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
38 (BI)Ne mu kika kya Gaadi,
Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo. 39 Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.
40 Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.
41 (BJ)Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye. 42 Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.
43 (BK)Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. 44 (BL)Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe. 45 (BM)Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.
25 (A)Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 (B)Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,
29 (C)“Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,
ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 (D)Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31 bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 (E)okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.
N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”
33 Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu. 34 (F)Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. 35 Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.”
36 (G)Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa, 37 (H)n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro. 38 (I)Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
39 (J)Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya. 40 (K)Omwana n’akula, n’aba w’amaanyi, n’ajjuzibwa amagezi n’ekisa kya Katonda kyali ku ye.
41 (L)Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako. 42 Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali. 43 Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya. 44 Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe. 45 Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya. 46 Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ng’atudde mu Yeekaalu n’abannyonnyozi b’amateeka ng’abawuliriza awamu n’okubabuuza ebibuuzo. 47 (M)Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’amagezi ge n’okuddamu kwe. 48 (N)Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”
49 (O)Yesu n’abaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?” 50 (P)Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.
51 (Q)N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe. 52 (R)Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.