Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 4-6

Amayinja Ekkumi n’Abiri ag’Ekijjukizo

(A)Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’agamba Yoswa nti, (B)“Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.” (C)Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”

Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti, “Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye. (D)Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza, (E)mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”

(F)Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa. (G)Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.

10 Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro. 11 Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya Mukama abantu bonna nga babayeegese amaaso. 12 (H)Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba, 13 bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ng’ena mu maaso ga Mukama Katonda, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lw’e Yeriko. 14 (I)Ku lunaku olwo Mukama n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.

15 Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, 16 (J)“Lagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Obujulirwa baveeyo mu mugga.” 17 Bw’atyo Yoswa n’alagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.” 18 (K)Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo. 19 (L)Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko. 20 (M)Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali. 21 (N)N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano, 22 (O)mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani, 23 (P)Mukama n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’ 24 (Q)Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”

(R)Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.

Yoswa akomola Abayisirayiri

(S)Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.” Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi. (T)Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu. Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole. (U)Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama era kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo. (V)Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.

Abayisirayiri bakwata Okuyitako e Girugaali

10 (W)Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. 11 (X)Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. 12 (Y)Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.

Yoswa Asisinkana Omukulu w’Eggye lya Mukama

13 (Z)Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti, 14 (AA)“Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” 15 (AB)Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.

Ekibuga Yeriko kizingizibwa

(AC)Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. (AD)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. (AE)Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. (AF)Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”

Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” (AG)N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”

Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega. (AH)Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. 10 (AI)Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” 11 Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.

12 Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama, 13 ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. 14 Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.

Okugwa kwa Yeriko

15 (AJ)Ku lunaku olw’omusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. 16 Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga. 17 (AK)Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. 18 (AL)Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. 19 (AM)Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”

20 (AN)Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba. 21 (AO)Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala.

Lakabu Atalizibwa

22 (AP)Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.” 23 (AQ)Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri. 24 (AR)Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama. 25 (AS)Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. 26 (AT)Yoswa n’alayira nti,

“Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko.
    Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye.
Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo,
    alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”

27 (AU)Bw’atyo Mukama n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.

Lukka 1:1-20

Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe, (A)ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye. (B)Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana. (C)Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.

Okulanga Okuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza

(D)Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi. (E)Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.

(F)Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe, (G)n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga. 10 (H)Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.

11 (I)Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane! 12 (J)Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata. 13 (K)Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. 14 (L)Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe. 15 (M)Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. 16 Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. 17 (N)Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”

18 (O)Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”

19 (P)Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano. 20 (Q)Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.