Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 30-31

Obwesigwa bwa Mukama Katonda Obutajjulukuka

30 (A)Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza, (B)n’okyuka n’odda eri Mukama Katonda wo, n’omugonderanga, n’abaana bo bonna, n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero, (C)kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza. (D)Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera ey’ewala ennyo wansi w’eggulu, Mukama Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, n’akuggyayo n’akukomyawo. (E)Mukama Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era n’akwaza nnyo okukira bajjajjaabo. (F)Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu. (G)Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo ne ku abo abanaakuyigganyanga. Bw’otyo n’oddamu okugonderanga Mukama Katonda ng’okwata amateeka ge, ge nkulagira leero. (H)Bw’atyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo, 10 (I)ng’ogondeddenga Mukama Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri Mukama Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna.

Okweronderawo ku Bulamu n’Okufa

11 (J)Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. 12 (K)Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?” 13 So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?” 14 Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere. 15 (L)Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. 16 Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna.

17 Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga, 18 (M)mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna.

19 (N)Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo: 20 (O)ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’owuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo n’okuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.

Musa Alaamiriza Yoswa

31 Awo Musa n’agenda n’abuulira Isirayiri yonna ebigambo bino, n’agamba nti, (P)“Olwa leero mpezezza emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; sikyalina maanyi kusobola kufuluma na kuyingira nga bwe njagala. Sikyasobola kubakulembera. Mukama Katonda antegeezezza nti, ‘Togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.’ (Q)Mukama Katonda wo yennyini y’ajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga Mukama bwe yagambye. Era nga Mukama Katonda bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b’Abamoli n’ensi yaabwe, n’abazikiriza, ne bano bw’alibakola. (R)Mukama Katonda agenda kubagabula gye muli, era kiribagwanira okubakolako nga mugobererera ddala ebiragiro byange bye mbawadde nga bwe biri. (S)Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.” (T)Awo Musa n’atumya Yoswa n’amugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gw’ojja okugenda n’abantu bano mu nsi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gw’ogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obw’enkalakkalira. (U)Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Amateeka Ganaasomwanga Buli Mwaka ogw’Omusanvu

(V)Awo Musa n’awandiika amateeka ago, n’agakwasa batabani ba Leevi, bakabona, abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda, era n’awaako n’abakadde bonna abakulembeze b’abaana ba Isirayiri. 10 (W)Musa n’abalagira bw’ati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga y’Embaga ey’Ensiisira, 11 (X)Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira. 12 (Y)Okuŋŋaanyanga[a] abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano. 13 (Z)Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”

Ebiragiro bya Mukama Ebyasembayo eri Musa

14 (AA)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Obudde bwo obw’okufa busembedde. Yita Yoswa, mujje mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.”

15 (AB)Awo Mukama Katonda n’alabikira mu Weema ng’ali mu mpagi ey’ekire; empagi ey’ekire n’eyimirira waggulu w’omulyango gw’Eweema. 16 (AC)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Mu bbanga ttono ojja kugalamira ne bajjajjaabo. Olwo abantu bano nga batandika okusinzanga bakatonda abalala abalibeera mu bo, nga be bakatonda ab’omu nsi eyo mwe bajja okuyingira. Bagenda kunvaako bamenye endagaano gye nakola nabo. 17 (AD)Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’ 18 Ku lunaku olwo ndikwekera ddala amaaso gange olw’ebibi byonna bye banaabanga bakoze nga bakyukidde bakatonda abalala.

19 “Kale nno kaakano wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isirayiri, olubayimbisenga, lulyoke lubeerenga omujulizi wange ku baana ba Isirayiri. 20 (AE)Kubanga bwe ndimala okubaleeta mu nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, gye nasuubiza bajjajjaabwe nga ngibalayirira, ne balya ne bakkuta ne bagejja, balikyukira bakatonda abalala ne babasinza nga babaweereza, ne bannyooma ne bamenya endagaano yange. 21 (AF)Obubenje obw’akabi bwe bunaabajjiranga, oluyimba luno lunaabasoomozanga ng’omujulizi nga lubalumiriza, kubanga bazzukulu baabwe banaabanga bakyalulina mu kamwa kaabwe nga tebannalwerabira. Kubanga mmanyi bye balowooza okukola nga n’okubatuusa sinnaba kubatuusa mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira.” 22 (AG)Bw’atyo, ku lunaku olwo, Musa n’awandiika oluyimba luno n’aluyigiriza abaana ba Isirayiri.

23 (AH)Awo Mukama n’awa Yoswa mutabani wa Nuuni ekiragiro kino ng’agamba nti, “Beera wa maanyi era guma omwoyo, kubanga ggw’oliyingiza abaana ba Isirayiri mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira; era nange nnaabeeranga naawe.”

24 Musa bwe yamala okuwandiika mu Kitabo ebigambo eby’amateeka gano, okubiggya ku ntandikwa okubituusa ku nkomerero, 25 Musa n’alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama, ng’agamba nti, 26 (AI)“Mutwale Ekitabo ky’Amateeka kino mukiteeke awali Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga awo ng’omujulirwa gy’oli. 27 (AJ)Kubanga nkumanyi nga bw’oli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo! 28 (AK)Munkuŋŋaanyize wano abakadde b’ebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu n’ensi bibeere abajulirwa okubalumiriza. 29 (AL)Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”

Oluyimba Mukama lwe yalagira Musa

30 Awo Musa n’ayogera, ebigambo by’oluyimba luno okuluggya ku ntandikwa yaalwo n’okulutuusa ku nkomerero ng’ekibiina kya Isirayiri yenna kiwulira.

Makko 15:1-25

Yesu Atwalibwa eri Piraato

15 (A)Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.

(B)Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”

(C)Naye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.

Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye. Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo. Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.

(D)N’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?” 10 Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya. 11 (E)Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.

12 Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”

13 Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”

14 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”

15 (F)Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.

Abaserikale baduulira Yesu

16 (G)Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. 17 Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. 18 (H)Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!” 19 Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. 20 (I)Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.

Yesu akomererwa ku musaalaba

21 (J)Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,[a] kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 22 Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 23 (K)Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.[b] 24 (L)Awo ne bamukomerera ku musaalaba.

Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 25 Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.