Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 28-29

Emikisa Eri Abawulize

28 (A)Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. (B)Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:

(C)Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.

(D)Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.

Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.

(E)Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.

(F)Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.

Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.

(G)Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 10 (H)Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. 11 (I)Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.

12 (J)Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. 13 Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. 14 (K)Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.

Ebikolimo olw’Obutawulira

15 (L)Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:

16 Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo.

17 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga.

18 Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.

19 Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma.

20 (M)Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse. 21 (N)Mukama alikulwaza olumbe olutawona olw’olukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogirye. 22 (O)Mukama alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira. 23 (P)Eggulu waggulu w’omutwe gwo liribeera ng’ekikomo, n’ettaka wansi wo liriba ng’ekyuma. 24 Mukama alifuula enkuba y’omu nsi yo olufufugge, n’enfuufu yokka y’eneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lw’olizikirizibwa.

25 (Q)Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi. 26 (R)Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, n’eri ensolo ez’oku nsi, era tewaabeerengawo n’omu anaazigugobangako. 27 (S)Mukama anaakulwazanga amayute g’e Misiri, n’ebizimba, n’amabwa, n’obuwere, by’otoowonyezebwenga. 28 Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso, n’okukutabulatabulanga mu ndowooza yo. 29 (T)Mu ttuntu onoowammantanga ng’omuzibe w’amaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli ky’onookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira.

30 (U)Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu. 31 Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza. 32 (V)Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola. 33 (W)Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera. 34 Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu. 35 (X)Mukama anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo k’omutwe.

36 (Y)Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja. 37 (Z)Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna Mukama gy’anaabanga akulazizza. 38 (AA)Onoosiganga ensigo nnyingi mu nnimiro yo, kyokka onookungulangamu katono, kubanga enzige zinaalyanga ebibala byo byonna. 39 (AB)Onoosimbanga essamba z’emizabbibu n’ogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku nvinnyo wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga. 40 (AC)Onoobeeranga n’emiti egy’emizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi. 41 (AD)Olizaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe. 42 Enzige zineefuganga emiti gyo gyonna n’ebibala eby’omu ttaka lyo.

43 (AE)Bannamawanga b’onoobeeranga nabo bagenda kukulaakulananga balinnye waggulu okukusinganga, nga ggwe weeyongeranga kukka bussi wansi. 44 (AF)Banaakuwolanga, naye ggwe toobawolenga. Be banaabanga omutwe naye ggwe onoobanga mukira.

45 (AG)Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olw’obutagonderanga Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga. 46 (AH)Binaabeeranga mu ggwe ng’akabonero era ekyewuunyisa gy’oli n’eri bazzukulu bo emirembe gyonna. 47 (AI)Kubanga bwe wabeeranga obulungi n’ebintu ebingi, tewaweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima ogujjudde essanyu. 48 (AJ)Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala.

49 (AK)Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera. 50 (AL)Liribeera eggwanga erijjudde obukambwe mu maaso, eritassaamu kitiibwa bantu bakulu wadde okusaasira abato. 51 (AM)Balirya abaana b’ebisolo by’omu malundiro go, n’ebibala eby’omu ttaka lyo okutuusa lw’olizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku nvinnyo oba ku mafuta, wadde ku nnyana ez’ebiraalo byo, oba ku baana b’endiga ab’ebisibo byo, okutuusa lw’olizikirira. 52 (AN)Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gy’akuwa.

53 (AO)Olw’okubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala by’olubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo Mukama Katonda wo b’anaabanga akuwadde. 54 Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo; 55 taawengako n’omu ku nnyama y’abaana be b’anaabanga alya. Kubanga nga takyalina ky’asigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kw’anaabanga akutuusizzaako ng’akuzingirizza mu bibuga byo byonna. 56 (AP)Omukazi asinga obuntubulamu n’eggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we, 57 ku mwana gw’anaabanga y’akazaala ow’omu lubuto lwe, n’abaana b’anaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olw’okubulwako ekyokulya ekirala mu biseera eby’okuzingizibwa era eby’ennaku enzibu ennyo, omulabe wo by’anaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo.

58 (AQ)Bw’otoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, n’ototya era n’otossaamu kitiibwa erinnya lino ery’ettendo era ery’entiisa, eriyitibwa: Mukama Katonda wo, 59 kale nno, Mukama anaakuweerezanga endwadde enkambwe ennyo, eri ggwe n’eri ezzadde lyo; endwadde ez’olutentezi era enkambwe ennyo ez’olukonvuba. 60 (AR)Anaakuleeteranga endwadde zonna ez’e Misiri, ezaakutiisa ennyo, ne zikwezingangako. 61 (AS)Era Mukama anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, n’ebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka gano, okutuusa lw’olizikirizibwa. 62 (AT)Era mulisigala ng’omuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ng’emmunyeenye ez’oku ggulu olw’obungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wo. 63 (AU)Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya.

64 (AV)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako. 65 (AW)Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi. 66 Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa. 67 (AX)Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga. 68 Mukama anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ng’oli eyo oneewangayo weetunde ng’omuddu omusajja oba ng’omuddu omukazi, naye toofunengayo muntu n’omu akugula.

Okuzza Obuggya Endagaano

29 (AY)Bino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.

(AZ)Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. (BA)Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. (BB)Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. (BC)Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. (BD)Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.

(BE)Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. (BF)Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.

(BG)Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. 10 Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, 11 (BH)n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. 12 Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero; 13 (BI)alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. 14 (BJ)Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, 15 (BK)sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.

16 Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano. 17 (BL)Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu. 18 (BM)Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.

19 Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. 20 (BN)Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu. 21 Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.

22 (BO)Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi. 23 (BP)Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi. 24 (BQ)Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”

25 Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26 Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. 27 (BR)Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. 28 (BS)Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”

29 Ebintu eby’ekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

Makko 14:54-72

54 (A)Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.

55 (B)Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna,[a] baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula. 56 Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.

57 Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti, 58 (C)“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’ ” 59 Naye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.

60 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?” 61 (D)Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”

62 (E)Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”

63 (F)Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi? 64 (G)Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?”

Bonna ne bamusalira gwa kufa. 65 (H)Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.

Peetero Yeegaana Yesu

66 (I)Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja. 67 (J)Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”

68 (K)Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.

69 Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.” 70 (L)Peetero n’ayongera okwegaana.[b]

Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”

71 (M)Peetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”

72 (N)Amangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.