Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 27-28

Ekyoto

27 (A)“Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. (B)Era ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo. Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo. Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo. Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka. Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo. Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa. (C)Ekyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi.

Oluggya

“Eweema ya Mukama gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa, 10 n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.

12 “Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13 Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15 ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.

16 “Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17 Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18 Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo. 19 Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.

Amafuta g’Ettaala

20 “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira. 21 (D)Mu kisenge kya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”

Ebyambalo by’Obwakabona

28 (E)“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona. (F)Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi. (G)Yogera n’abo bonna abasobola, be nawa ekirabo eky’amagezi mu mirimu egyo, bakolere Alooni ebyambalo mw’anaayawulirwa okubeera kabona wange. (H)Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. Abakozi baweebwe ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange.

Ekkanzu eyitibwa Efodi

“Abakozi abakugu bakole ekkanzu ey’obwakabona ennyimpi etaliiko mikono n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.

“Oddire amayinja ga onuku abiri, ogalambeko amannya ga batabani ba Isirayiri, 10 amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana. 11 Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu. 12 Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali Mukama ng’ekijjukizo. 13 Okole fuleemu eza zaabu, 14 n’enjegere bbiri eza zaabu omuka, ozirange ng’emiguwa; olyoke osibire enjegere ez’oku fuleemu.

Ekyomukifuba

15 “Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 16 Kijja kwenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri, okiwetemu wakati. 17 Otungireko ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka osseemu amayinja saasiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 18 ne mu lunyiriri olwokubiri osseemu emalada, ne safiro ne dayamandi; 19 ne mu lunyiriri olwokusatu osseemu jasinta; ne ageti, ne ametisita, 20 ne mu lunyiriri olwokuna osseemu berulo, ne onuku, ne yasipero, ogateeke mu fuleemu ya zaabu. 21 Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.

22 “Ekyomukifuba kikolere enjegere ennange ng’emiguwa gya zaabu omuka. 23 Era ekyomukifuba kikolere empeta za zaabu bbiri, oteeke empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 24 Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 25 Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 26 Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27 Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28 Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.

29 (I)“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama. 30 (J)Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu[a], era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama.

Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala

31 “Onookola ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, nga kyonna kya bbululu. 32 Waggulu mu makkati gaakyo munaabaamu ekituli omw’okuyisa omutwe; okwetooloola ekituli ekyo kunaabaako omuge omuyonde obulungi ng’omuleera ku kituli ky’omutwe eky’ekkanzu ey’obwakabona, kireme okuyulika. 33 Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu. 34 Ng’otunga amajjolobera n’ozzaako akade, ate n’oddiriza amajjolobera n’ozzaako akade; bw’otyo okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo. 35 Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali Mukama, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.

36 (K)“Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti,

Mutukuvu wa Mukama.

37 Akapande okasibeko akaguwa aka bbululu, okanywereze ku kitambaala ky’oku mutwe ku ludda olw’omu maaso olw’ekitambaala. 38 (L)Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.

39 “Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. 40 (M)Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo. 41 (N)Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.

42 (O)“Bakolere empale ez’omunda eza linena, nga ziva mu kiwato okukoma mu bisambi, zibikke omubiri gwabwe. 43 (P)Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.

“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”

Matayo 21:1-22

Yesu ayingira n’Ekitiibwa mu Yerusaalemi

21 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

(B)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”

Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. (C)Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. (D)Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

“Ozaana Omwana wa Dawudi!”

“Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ozaana waggulu ennyo!”

10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”

11 (E)Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”

Yesu mu Yeekaalu

12 (F)Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 (G)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’[a]

14 (H)Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya. 15 (I)Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

16 (J)Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?”

Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti,

“ ‘Abaana abato n’abawere abayonka
    balimutendereza!’ ”

17 (K)N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.

Omuti Ogwawotoka

18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 (L)n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.

20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”

21 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 (N)Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.