Old/New Testament
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 (B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
3 (C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
4 (D)Alikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
5 (E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
wadde akasaale akalasibwa emisana;
6 newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
7 Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
naye olumbe terulikutuukako.
8 (F)Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.
9 Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (G)tewali kabi kalikutuukako,
so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (H)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
bakukuume mu makubo go gonna.
12 (I)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (J)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (K)Anankowoolanga ne muyitabanga;
nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (L)Ndimuwangaaza n’asanyuka
era ndimulaga obulokozi bwange.”
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (M)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (N)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (O)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (P)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5 (Q)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6 (R)Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7 newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
9 (S)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (T)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 (U)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
12 (V)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (W)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (X)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (Y)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
93 (Z)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 (AA)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3 (AB)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 (AC)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5 (AD)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.
Temwesanyusa Mwekka
15 (A)Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka. 2 (B)Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza. 3 (C)Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.” 4 (D)Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
5 (E)Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, 6 (F)mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
7 (G)Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. 8 (H)Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe 9 (I)n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,
era ne ntendereza erinnya lyo.”
10 (J)Era n’ayongera n’agamba nti:
“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”
11 (K)Era nate nti,
“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,
era abantu bonna bamutenderezenga.”
12 (L)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,
“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
13 (M)Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.