Old/New Testament
Zabbuli ya Asafu.
79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
ne kifuuka entuumo.
2 (B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
3 (C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
okwetooloola Yerusaalemi,
so nga abafudde tewali muntu abaziika.
4 (D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 (E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
6 (F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga bazikirizza Yakobo,
ne basaanyaawo ensi ye.
8 (G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
tukusaba oyanguwe okutusaasira
kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
9 (H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
okozese omukono gwo ogw’amaanyi
owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.
80 (L)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
2 (M)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
ojje otulokole.
3 (N)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
otutunuulize amaaso ag’ekisa,
otulokole.
4 Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
5 (O)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
6 (P)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
n’abalabe baffe ne batuduulira.
7 Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulokolebwe.
8 (Q)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (R)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
12 (S)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (T)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (U)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.
16 (V)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
11 (A)Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. 2 (B)Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri? 3 (C)Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.” 4 (D)Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” 5 (E)Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa. 6 (F)Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.
7 (G)Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima, 8 (H)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,
n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,
n’amatu gaabwe obutawulira
okutuusa leero.”
9 Ne Dawudi yagamba nti,
“Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba,
eky’okubatega era empeera ebasaanira.
10 (I)Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba.
Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”
11 (J)Kale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olw’okwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya. 12 (K)Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!
13 (L)Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange, 14 (M)singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa. 15 (N)Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu? 16 (O)Kale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.
17 (P)Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 18 (Q)teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.