Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 23

Okufa n’Okuziikibwa kwa Saala

23 Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu. (A)N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.

Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti[a] n’abagamba nti, (B)“Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.” Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti, (C)“Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”

Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi. (D)N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali, anguze empuku ey’e Makupeera, gy’alina, eri ku nkomerero y’ennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange eky’okuziikangamu mu mmwe.” 10 (E)Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti, 11 (F)“Nedda mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro n’empuku erimu, ng’abantu bange balaba, ziika omuntu wo.”

12 Awo Ibulayimu n’avuunama mu maaso gaabwe bonna. 13 N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.” 14 Efulooni n’addamu Ibulayimu nti, 15 (G)“Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”

16 (H)Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.

17 (I)Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya 18 Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba. 19 Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. 20 (J)Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.

Matayo 22

Olugero olw’Embaga ey’Obugole

22 Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. (B)N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.

(C)“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. (D)Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.

“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. (E)Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10 (F)Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.

11 “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12 (G)Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.

13 (H)“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

14 (I)“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Okuwa Kayisaali Omusolo

15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 (J)Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 (K)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[a]

18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

21 (L)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

22 (M)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

Obufumbo mu Kuzuukira

23 (N)Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24 (O)“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25 Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26 Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28 Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”

29 (P)Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30 (Q)Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31 Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32 (R)‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

33 (S)Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.

Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka

34 (T)Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35 (U)Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36 “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”

37 (V)Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38 Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39 (W)N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40 (X)Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42 (Y)“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”

43 Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,

44 (Z)“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:
    “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’

45 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46 (AA)Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Nekkemiya 12

Bakabona n’Abaleevi

12 (A)Bano be bakabona n’Abaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa:

Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera,[a]

ne Amaliya, ne Malluki, ne Kattusi,

ne Sekaniya, ne Lekumu, ne Meremoosi,

(B)ne Iddo, ne Ginnesoyi, ne Abiya,

ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biruga,

(C)ne Semaaya, ne Yoyalibu, ne Yedaya,

ne Sallu, ne Amoki, ne Kirukiya ne Yedaya.

Abo be baali abakulembeze ba bakabona ne baganda baabwe mu biro bya Yesuwa.

(D)Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ez’okwebaza mu kusinza. Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera eby’okusinza.

10 (E)Yesuwa yali kitaawe wa Yoyakimu,

ate Yoyakimu nga ye kitaawe wa Eriyasibu,

ne Eriyasibu nga ye kitaawe wa Yoyaada,

11 Yoyaada nga ye kitaawe wa Yonasaani,

ate Yonasaani nga ye kitaawe wa Yadduwa.

12 Mu biro bya Yoyakimu, bano be baali abakulu b’ennyumba za bakabona:

eya Seraya, yali Meraya;

eya Yeremiya, yali Kananiya;

13 eya Ezera, yali Mesullamu,

eya Amaliya, yali Yekokanani;

14 eya Malluki, yali Yonasaani;

eya Sebaniya, yali Yusufu;

15 eya Kalimu, yali Aduna;

eya Merayoosi, yali Kerukayi;

16 (F)eya Iddo, yali Zekkaliya;

eya Ginnesoni, yali Mesullamu;

17 eya Abiya, yali Zikuli;

eya Miniyamini ne Mowadiya, yali Pirutayi;

18 eya Biruga, yali Sammuwa;

eya Semaaya, yali Yekonasaani;

19 eya Yoyalibu, yali Mattenayi;

eya Yedaya, yali Uzzi;

20 eya Sallayi, yali Kallayi;

eya Amoki, yali Eberi;

21 eya Kirukiya, yali Kasabiya;

n’eya Yedaya, yali Nesaneeri.

22 Abakulu b’ennyumba z’Abaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi. 23 Abakulu b’enju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo. 24 (G)Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.

25 Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika g’oku miryango. 26 Baaweerereza mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa, mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi.

Okutukuza Bbugwe wa Yerusaalemi

27 (H)Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba n’okukuba ebitaasa n’entongooli n’ennanga. 28 (I)Abayimbi nabo ne bajja okuva mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, nga bava mu byalo by’Abanetofa, 29 n’okuva mu Besugirugaali, n’okuva mu bitundu by’e Geba n’e Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi. 30 (J)Bakabona n’Abaleevi bwe baamala okwetukuza olw’emikolo egyo, ne balyoka batukuza abantu, n’emiryango ne bbugwe.

31 (K)Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira n’ebibinja bibiri eby’abayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, n’ekirala ne kiraga ku Mulyango gw’Obusa. 32 Kosaaya ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ba Yuda ne babagoberera, 33 nga bali wamu ne Azaliya, ne Ezera, ne Mesullamu, 34 (L)ne Yuda, ne Benyamini, ne Semaaya, ne Yeremiya, 35 (M)ne bakabona abamu nga bakutte amakondeere, ne Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Semaaya, muzzukulu wa Mikaaya, muzzukulu wa Zakkuli, muzzukulu wa Asafu; 36 (N)ne banne abaamuyambangako nga be bano: Semaaya, ne Azuleeri, ne Miralayi, ne Giralayi, ne Maayi, ne Nesaneeri, ne Yuda, ne Kanani, nga balina ebivuga ebyalagirwa Dawudi omusajja wa Katonda, era Ezera omuwandiisi, ye yabakulemberangamu. 37 (O)Bwe baatuuka ku Mulyango gw’Oluzzi, ne bambuka amadaala g’Ekibuga kya Dawudi okutuukira ddala ku bbugwe; ne bayita ku lubiri lwa Dawudi ne batuuka ku Mulyango ogw’Amazzi, oguli ku luuyi olw’ebuvanjuba.

38 (P)Ekibinja ekyokubiri eky’abayimbi, ne kiraga ku luuyi olwolekedde luli bali gye baali balaze. Nze ne kimu kyakubiri eky’abantu ne tubagoberera okutuukira ddala waggulu ku bbugwe, ne tuyita ku Munaala gw’Ebikoomi ne tutuuka ku Bbugwe Omugazi, 39 (Q)ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja, n’okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gw’Ekikumi, n’okutuukira ddala ku Mulyango gw’Endiga, ne tuyimirira ku Mulyango gw’Abambowa.

40 Ebibinja byombi eby’abayimbi ne batuula mu bifo byabwe mu nnyumba ya Katonda; nange ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ne tutuula, 41 awamu ne bakabona bano: Eriyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eriwenayi, ne Zekkaliya, ne Kananiya nga balina amakondeere; 42 Maaseya, ne Semaaya, ne Eriyazaali, ne Uzzi, ne Yekokanani, ne Malukiya, ne Eramu, ne Ezera nabo baaliwo. Abayimbi ne bayimba, Yekulakiya nga ye mukulu waabwe. 43 Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi n’abaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo eby’ewala.

44 (R)Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona n’Abaleevi. Yuda baali basanyufu olw’obuweereza bwa bakabona awamu n’obw’Abaleevi. 45 (S)Bakabona n’Abaleevi ne bakwata embaga ya Katonda waabwe era ne bagitukuza, n’abayimbi awamu n’abakuumi ba wankaaki nabo ne bakola bwe batyo, ng’ekiragiro kya Dawudi ne Sulemaani mutabani we bwe kyali. 46 (T)Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda. 47 (U)Noolwekyo mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya, Isirayiri kyeyava ewaayo ebibinja by’abayimbi n’abakuumi ba wankaaki. Ne balonda n’ekibinja ky’Abaleevi abalala, n’Abaleevi nabo ne balondayo ekibinja ekyava mu bazzukulu ba Alooni.

Ebikolwa by’Abatume 22

22 (A)“Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.” (B)Bwe baawulira ng’ayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala. (C)Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero. (D)Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera. (E)Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.

(F)“Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola. Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’

“Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’

“N’anziramu nti, ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’ (G)Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi ly’oyo eyayogera nange tebaaliwulira.

10 (H)“Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’

“Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’ 11 (I)Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa ky’ekitangaala kiri eky’amaanyi kyali kinzibye amaaso.

12 (J)“Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ng’atya Katonda era ng’agondera amateeka gonna ag’Ekiyudaaya, n’Abayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa, 13 n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!

14 (K)“Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke. 15 (L)Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ng’obategeeza by’olabye era ne by’owulidde. 16 (M)Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’

17 (N)“Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ng’eyeebase, 18 ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’

19 (O)“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera. 20 (P)Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’

21 (Q)“Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’ ”

Pawulo Omuruumi

22 (R)Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!” 23 (S)Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga. 24 (T)Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. 25 (U)Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”

26 Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”

27 Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?”

Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”

28 Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.”

Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”

29 (V)Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.

30 (W)Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.