Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 4

Kayini ne Aberi

Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” (A)Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi.

Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. (B)Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. (C)Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.

Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? (D)Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”

Kayini atta Aberi

(E)Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.

Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”

N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”

10 (F)Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. 11 Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. 12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”

13 Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 14 (G)Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”

15 (H)Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” 16 (I)Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.

Abaana ba Kayini

17 (J)Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. 18 Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.

19 Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. 20 Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. 21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. 22 Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.

23 (K)Lameka n’agamba bakazi be nti,

“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;
    mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;
nzise omusajja olw’okunfumita,
    nga muvubuka, olw’okunkuba.
24 (L)Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,
    mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”

Okuzaalibwa kwa Seezi

25 (M)Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” 26 (N)Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi.

Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.

Matayo 4

Okukemebwa kwa Yesu

Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. (A)N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. (B)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”

(C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

(D)Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. (E)N’amugamba nti,

“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi
    kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”

(F)Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”

Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”

10 (G)Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”

11 (H)Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

Yesu Atandika Okubuulira

12 (I)Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 13 (J)Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14 Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,

15 “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,
    n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani,
    n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
16 (K)abantu abaatuulanga mu kizikiza,
    balabye Omusana mungi.
Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,
    omusana gubaakidde.”

17 (L)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”

Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka

18 (M)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 (N)Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

21 (O)Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

Yesu Awonya Abalwadde

23 (P)Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 24 (Q)Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 25 (R)Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[a] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.

Ezera 4

Abalabe ba Yuda

Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini[a] bwe baawulira ng’abaana ba Isirayiri abaali mu buwaŋŋanguse batandise okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, (A)ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ebika ne boogera nti, “Mutukkirize tubayambeko okuzimba, kubanga tuli nga mmwe, era tusinza Katonda wammwe, era okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli, eyatuleeta wano tuwaayo ssaddaaka eri Katonda wammwe.”

(B)Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.”

(C)Awo abantu be baalimu ne bamalirira okulemesa abantu ba Yuda, ne babatiisatiisa okuzimba. Ne bagulirira abantu okubawakanya n’okulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka w’e Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka. (D)Awo ku mirembe gya Akaswero[b] nga ky’ajje alye obwakabaka, abalabe baabwe ne baawandiika ebintu eby’obulimba ne baloopa abantu ba Yuda ne Yerusaalemi. (E)Awo mu biro bya Alutagizerugizi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa mu nnukuta ez’Aramayika ne mu lulimi Olwaramayika. Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa ekwata ku Yerusaalemi.

(F)Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi awamu ne bannaabwe abalala, abalamuzi n’abakungu, n’Abaperusi, n’Abalukevi, n’Abababulooni, n’Abasusanuki, n’Abaweramu, 10 (G)n’amawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, n’abateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w’omugga Fulaati ne bawandiika nti:

11 Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti,

Eri kabaka Alutagizerugizi,

Okuva eri abaddu bo abasajja ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati.

12 (H)Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gy’oli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu eky’abantu abakozi b’ebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi n’okuzaawo bbugwe.

13 (I)Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ng’ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa. 14 Kale nno, olw’okuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka, 15 (J)banoonye mu bitabo eby’okujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka n’abaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ng’ekijeemu okuva mu biro eby’edda. Era kyekyava kizikirizibwa. 16 Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo n’azzibwawo, tolibaako ne ky’osigaza emitala w’omugga Fulaati.

17 (K)Awo kabaka n’abaddamu bw’ati nti:

Eri Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaabeeranga mu Samaliya, ne mu bifo ebirala ebiri mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati,

Mbalamusizza.

18 Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera. 19 (L)Nalagira, okunoonyereza ne kukolebwa, era ne kizuulibwa ng’ekibuga ekyo, okuva edda kijeemera bakabaka[c], era ng’obujeemu n’ekyejo byakolebwanga omwo. 20 (M)Yerusaalemi kyalina bakabaka ab’amaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala w’omugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, n’empooza okuva mu kitundu ekyo. 21 Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogw’okuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira. 22 (N)Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka?

23 (O)Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo n’amaanyi okugenda mu maaso.

24 (P)Awo omulimu ku nnyumba ya Katonda mu Yerusaalemi ne guyimirira okutuusa omwaka ogwokubiri ogw’omulembe gwa Daliyo kabaka w’e Buperusi.

Ebikolwa by’Abatume 4

Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu

(A)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, (B)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. (C)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. (D)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!

(E)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. (F)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”

(G)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, (H)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (I)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.

11 (J)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

12 (K)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

13 (L)Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14 Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 15 (M)Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 16 (N)Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17 Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”

18 (O)Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 (P)Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”

21 (Q)Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.

Okusaba kw’Abakkiriza

23 Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba. 24 Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, 25 (R)ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:

“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,
    n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
26 (S)Bakabaka b’ensi
    n’abakulembeze,
beegatta okulwanyisa Mukama
    n’okulwanyisa Kristo we.’

27 (T)Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, 28 (U)ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. 29 (V)Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, 30 (W)golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”

31 (X)Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.

Abakkiriza Okugabanira Awamu Ebyabwe

32 (Y)Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. 33 (Z)Awo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. 34 (AA)Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze 35 (AB)ne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.

36 (AC)Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti atereeza emitima gy’abantu) eyazaalibwa e Kupulo, 37 (AD)n’atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n’azireeta ku bigere by’abatume.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.