M’Cheyne Bible Reading Plan
Abaleevi Bakabona
18 (A)Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. 2 Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.
3 (B)Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. 4 (C)Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’ebya wayini wo, n’amafuta go, n’ebyoya ebisooka eby’endiga zo. 5 (D)Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe. 6 (E)Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo Mukama Katonda ky’aneeronderanga, 7 anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo. 8 (F)Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze.
Okuwera Empisa ez’Obulogo n’Obusamize
9 (G)Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. 10 (H)Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, 11 oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. 12 (I)Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira. 13 Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo. 14 Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.
Okusuubizibwa Nnabbi Omuggya
15 (J)Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga. 16 (K)Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.”
17 Mukama Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu. 18 (L)Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga. 19 (M)Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako. 20 (N)Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”
21 Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’anaabanga abyogedde?” 22 (O)Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
12 (J)Bwe baali bakyali batono,
nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
16 (M)Yaleeta enjala mu nsi,
emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (N)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (O)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (P)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (Q)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (R)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
23 (S)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (T)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (U)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (V)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
27 (W)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (X)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (Y)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (Z)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (AA)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (AB)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (AC)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (AD)Yalagira, enzige ne zijja
ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (AE)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (AF)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (AG)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (AH)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (AI)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (AJ)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (AK)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (AL)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (AM)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (AN)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
45 (A)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
emiryango eminene gireme kuggalwawo.
2 (B)Ndikukulembera
ne ntereeza ebifo ebigulumivu.
Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo
ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
3 (C)Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu
era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama
olyoke omanye nga nze Mukama,
Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
4 (D)Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange
kyenvudde nkuyita erinnya,
ne nkuwa ekitiibwa
wadde nga tonzisaako mwoyo.
5 (E)Nze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
6 (F)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
tewali mulala.
7 (G)Nze nteekawo ekitangaala
ne ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.
8 (H)“Mmwe eggulu eriri waggulu,
mutonnyese obutuukirivu.
Ebire bitonnyese obutuukirivu.
Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,
ereete obutuukirivu.
Nze Mukama nze nagitonda.
9 (I)“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,
‘Wazaala ki?’
Oba nnyina nti,
‘Kiki ky’ozadde?’
11 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
oba ebikwata ku baana bange,
oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 (K)Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 (L)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
14 (M)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
15 (N)Ddala oli Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 (O)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 (P)Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama
n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswalenga emirembe gyonna.
18 (Q)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 (R)Soogereranga mu kyama,
oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo eby’ensonga.
20 (S)“Mwekuŋŋaanye mujje,
mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 (T)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.
22 (U)“Mudde gye ndi, mulokoke,
mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 (V)Neerayiridde,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
na buli lulimi lulirayira!
24 (W)Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
balijja gy’ali nga baswadde.
25 (X)Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu
15 (A)Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 2 (B)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 3 (C)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,
“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
4 (D)Ani ataakutye Ayi Mukama,
n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
5 (E)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. 6 (F)Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. 7 (G)Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. 8 (H)Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.