Read the Gospels in 40 Days
Yesu Asalirwa ogw’Okufa
19 (A)Awo Piraato n’atwala Yesu n’amukuba embooko. 2 Abaserikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, 3 (B)ne bajja w’ali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.
4 (C)Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.” 5 (D)Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”
6 (E)Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!”
Piraato n’abagamba nti, “Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango.”
7 (F)Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”
8 Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya. 9 (G)N’azzaayo Yesu mu lubiri, n’amubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu n’atamuddamu kigambo. 10 Piraato n’amugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?”
11 (H)Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga.”
12 (I)Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.” 13 (J)Bwe baayogera batyo Piraato n’azza Yesu ebweru gye bali, n’atuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14 (K)Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.
Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!”
15 Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere!”
Piraato n’ababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?”
Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”
16 (L)Piraato n’abawa Yesu okumukomerera.
Awo ne batwala Yesu; 17 (M)n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa. 18 (N)Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n’abalala babiri, omu eruuyi n’omulala eruuyi, Yesu n’abeera wakati waabwe.
19 (O)Piraato n’akola ekiwandiiko n’akiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti:
“Yesu Omunnazaaleesi, Kabaka w’Abayudaaya.”
20 (P)Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. 21 (Q)Awo bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka w’Abayudaaya.’ ”
22 Piraato n’addamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”
23 Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, 24 (R)abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.”
Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:
“Baagabana ebyambalo byange,
n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.”
Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.
25 (S)Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. 26 (T)Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.” 27 Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.
Okufa kwa Yesu
28 (U)Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.” 29 (V)Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. 30 (W)Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.
31 (X)Olunaku nga bwe lwali olw’okweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze b’Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo. 32 (Y)Awo abaserikale ne bajja ne bamenya amagulu g’abasajja abaakomererwa ne Yesu. 33 Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu. 34 (Z)Naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. 35 (AA)Oyo eyakirabira ddala nga kibaawo ye yakyogera, era kye yayogera kya mazima, era oyo amanyi ng’ayogera mazima mulyoke mukkirize. 36 (AB)Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.” 37 (AC)Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”
Okuziikibwa kwa Yesu
38 Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala. 39 (AD)Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo. 40 (AE)Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41 Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 42 (AF)Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.
Okuzuukira kwa Yesu
20 (AG)Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana. 2 (AH)N’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo n’abagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”
3 (AI)Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. 4 Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana. 5 (AJ)N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana. 6 Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo. 7 (AK)N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali. 8 (AL)N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza. 9 (AM)Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu. 10 Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene
11 (AN)Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba, 12 (AO)n’alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
13 (AP)Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?”
N’abaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!” 14 (AQ)Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.
15 (AR)Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?”
Maliyamu n’alowooza nti, Ye nannyini nnimiro n’amugamba nti, “Ssebo, obanga gw’omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”
16 (AS)Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!”
Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.”
17 (AT)Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”
18 (AU)Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.
Yesu Alabikira Abayigirizwa be
19 (AV)Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 20 (AW)Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.
21 (AX)N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” 22 (AY)Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu. 23 (AZ)Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”
Yesu Alabikira Tomasi
24 (BA)Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 25 (BB)Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”
Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
26 (BC)Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 27 (BD)Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”
28 Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”
29 (BE)Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”
30 (BF)Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. 31 (BG)Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.