Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the Gospels in 40 Days

Read through the four Gospels--Matthew, Mark, Luke, and John--in 40 days.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 21-22

Yesu ayingira n’Ekitiibwa mu Yerusaalemi

21 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

(B)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”

Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. (C)Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. (D)Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

“Ozaana Omwana wa Dawudi!”

“Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ozaana waggulu ennyo!”

10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”

11 (E)Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”

Yesu mu Yeekaalu

12 (F)Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 (G)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’[a]

14 (H)Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya. 15 (I)Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

16 (J)Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?”

Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti,

“ ‘Abaana abato n’abawere abayonka
    balimutendereza!’ ”

17 (K)N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.

Omuti Ogwawotoka

18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 (L)n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.

20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”

21 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 (N)Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

Yesu Abuuzibwa gy’aggya Obuyinza

23 (O)Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”

24 Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’  26 (P)Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”

27 Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”

Olugero olw’Abaana Ababiri

28 (Q)“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’

29 “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.

30 “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.

31 (R)“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?”

Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.”

Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32 (S)Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”

Olugero olw’Abalimi

33 (T)“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo. 34 (U)Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.

35 (V)“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36 (W)Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka. 37 Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’

38 (X)“Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ 39 Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta. 40 Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”

41 (Y)Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”

42 (Z)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino kyava eri Mukama
    era kya kyewuunyo.’

43 (AA)“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 (AB)Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

45 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako. 46 (AC)Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.

Olugero olw’Embaga ey’Obugole

22 Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, (AD)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. (AE)N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.

(AF)“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. (AG)Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.

“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. (AH)Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10 (AI)Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.

11 “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12 (AJ)Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.

13 (AK)“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

14 (AL)“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Okuwa Kayisaali Omusolo

15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 (AM)Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 (AN)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[b]

18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

21 (AO)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

22 (AP)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

Obufumbo mu Kuzuukira

23 (AQ)Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24 (AR)“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25 Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26 Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28 Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”

29 (AS)Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30 (AT)Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31 Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32 (AU)‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

33 (AV)Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.

Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka

34 (AW)Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35 (AX)Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36 “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”

37 (AY)Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38 Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39 (AZ)N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40 (BA)Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42 (BB)“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”

43 Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,

44 (BC)“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:
    “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’

45 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46 (BD)Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.