Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the Gospels in 40 Days

Read through the four Gospels--Matthew, Mark, Luke, and John--in 40 days.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 15-16

Obulongoofu n’Obutali Bulongoofu

15 Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: (A)“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”

Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe? (B)Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’ Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa. Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe. Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,

“ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’
    Naye emitima gyabwe gindi wala.
(C)‘Okusinza kwabwe kwa bwereere.
    Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”

10 Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere. 11 (D)Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”

12 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”

13 (E)Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa. 14 (F)Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”

15 (G)Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”

16 (H)Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera? 17 Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo? 18 (I)Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu. 19 (J)Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20 (K)Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”

Okukkiriza kw’Omukanani

21 (L)Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 (M)Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”

23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”

24 (N)Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”

25 (O)Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

27 Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”

28 (P)Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.

Yesu Aliisa Enkumi Ennya

29 Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo. 30 (Q)Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya. 31 (R)Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

32 (S)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”

33 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”

34 Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”

35 Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, 36 (T)n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. 37 (U)Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. 38 Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana. 39 Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.

Okusaba Yesu Akabonero

16 (V)Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.

Naye Yesu n’abaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo. (W)Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro? (X)Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda.

Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo

Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati. (Y)Naye Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”

Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati.”

(Z)Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’ (AA)Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 10 (AB)Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 11 Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.” 12 (AC)Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.

Peetero Ayatula Kristo

13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”

14 (AD)Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.”

15 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?”

16 (AE)Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”

17 (AF)Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu. 18 (AG)Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. 19 (AH)Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.” 20 (AI)Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo.

21 (AJ)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.

22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”

23 (AK)Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”

24 (AL)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. 25 (AM)Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. 26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe? 27 (AN)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.

28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.