Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the GW. Switch to the GW to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 18

Eriya ne Obadiya Basisinkana

18 (A)Awo nga wayiseewo ebbanga lya myaka essatu kasookedde enkuba ebula, ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nti, “Genda weerage eri Akabu, omutegeeze nti nditonnyesa enkuba ku nsi.” Awo Eriya n’agenda okweyanjula eri Akabu. (B)Mu biro ebyo enjala ng’ennyinnyitidde nnyo mu Samaliya, Akabu n’ayita Obadiya omukulu w’olubiri eyali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa. (C)Olwali olwo nga Yezeberi atandika okutta bannabbi bonna aba Mukama, Obadiya n’addira bannabbi kikumi n’abakweka mu mpuku bbiri buli emu ng’erimu amakumi ataano ataano, n’abaweeranga omwo emmere n’amazzi. Akabu n’amugamba nti, “Tuuka buli wantu awali enzizi ez’amazzi n’awali obugga bwonna, oboolyawo tunaafuna omuddo ne tuwonya embalaasi zaffe n’ennyumbu okufa, tuleme okufiirwa ensolo zonna.” Ne beeyawulamu bombi okubuna ensi, Akabu n’akwata ekkubo lye ne Obadiya n’akwata erirye.

(D)Awo Obadiya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, Eriya n’amusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera n’avuunama wansi n’agamba nti, “Ddala ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?” N’addamu nti, “Ye nze. Genda ogambe mukama wo nti, ‘Eriya ali wano.’ ” Obadiya n’amugamba nti, “Kiki kye nkusobezza, okutuma omuddu wo eri Akabu ajja okunzita? 10 (E)Mukama Katonda wo nga bw’ali omulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gy’atatumye mubaka kukunoonya. Era buli ggwanga, oba bwakabaka obwagambanga nti toliiyo, yabalayizanga okukakasa nti tobangayo. 11 Kaakano oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange njogere nti, ‘Eriya ali wano.’ 12 (F)Simanyi Mwoyo wa Mukama gy’anaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu n’atakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama. 13 Mukama wange totegeezebwanga, kye nakola nga Yezeberi atta bannabbi ba Mukama? Nakweka kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, era ne mbawa emigaati okulya n’amazzi okunywa. 14 Kaakano, oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange mugambe nti, ‘Eriya ali wano.’ Ajja kunzita!”

15 (G)Eriya n’amugamba, “Nga Mukama ow’Eggye bw’ali omulamu, gwe mpeereza, siireme kweraga eri Akabu leero.”

Eriya ku Lusozi Kalumeeri

16 Awo Obadiya n’agenda okusisinkana Akabu, n’amutegeeza; Akabu n’ajja okusisinkana Eriya. 17 (H)Akabu bwe yalaba Eriya, n’amubuuza nti, “Ggwe wuuyo, gwe ateganya Isirayiri?”

18 (I)Eriya n’addamu nti, “Sinnateganya Isirayiri, naye ggwe n’ennyumba ya kitaawo, muvudde ku biragiro bya Mukama ne mugoberera ba Baali. 19 (J)Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.” 20 Awo Akabu n’atumira abantu ba Isirayiri bonna, era n’akuŋŋaanya ne bannabbi bonna ku lusozi Kalumeeri. 21 (K)Awo Eriya n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.”

Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu.

22 (L)Eriya n’abagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano. 23 Kale mutuwe ente ennume bbiri, bo beerobozeeko emu, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebagikumamu. Nange naalongoosa eyookubiri, ne ngiteeka ku nku naye sijja kuzikumamu muliro. 24 (M)Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Ky’oyogedde kirungi.”

25 Eriya n’agamba bannabbi ba Baali[a] nti, “Mmwe musooke okweroboza ente emu ennume nga bwe muli abangi, mugiteeketeeke. Mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, naye temukoleeza muliro.” 26 (N)Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka.

Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze.

27 (O)Mu ssaawa ez’omu ttuntu Eriya n’atandika okubaduulira, ng’ayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.” 28 (P)Ne baleekaana nnyo nga bwe beesala n’obwambe ne beefumita n’amafumu ng’empisa yaabwe bwe yali, okutuusa omusaayi lwe gwabakulukuta. 29 (Q)Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.

30 (R)Awo Eriya n’alyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, n’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. 31 (S)N’addira amayinja kkumi n’abiri, buli limu n’aliteeka ku linnaalyo ng’ebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.” 32 (T)N’azimba ekyoto mu linnya lya Mukama n’amayinja ago, n’asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ng’alugyamu lita kkumi na ttaano ez’amazzi. 33 (U)N’atindikira enku, n’atemaatema ente, n’agiteekako. N’alyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” 34 N’abagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era n’abagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. 35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, n’okujjula ne gajjula olusalosalo.

36 (V)Mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi, nnabbi Eriya n’asembera mu maaso n’asaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olw’ekigambo kyo. 37 Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”

38 (W)Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, n’enku, n’amayinja, n’ettaka, ne gumalirawo ddala n’amazzi mu lusalosalo. 39 (X)Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!” 40 (Y)Eriya n’alyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba n’omu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga Kisoni, n’abattira eyo.

Ekyeya Kikoma

41 Eriya n’agamba Akabu nti, “Genda olye, n’okunywa onywe; kubanga waliwo okubwatuka kw’enkuba ey’amaanyi.” 42 (Z)Awo Akabu n’agenda okulya n’okunywa, naye Eriya n’alinnya ku ntikko y’olusozi Kalumeeri, n’akutama, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.

43 N’agamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.”

Omuweereza n’agenda n’alaba n’akomawo n’amugamba nti, “Teri kye ndabyewo.”

Eriya n’amugamba addeyo emirundi musanvu.

44 (AA)Ku mulundi ogw’omusanvu omuweereza n’akomawo n’agamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ng’omukono gw’omuntu kyambuka okuva mu nnyanja.”

Eriya n’amugamba nti, “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba nga tennakuziyiza.’ ”

45 Mu kiseera kyekimu, eggulu ne libindabinda, kibuyaga ne yeeyongera, enkuba ey’amaanyi n’ejja, Akabu n’ayolekera e Yezuleeri. 46 (AB)Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.

Ebikolwa by’Abatume 11

Peetero Annyonnyola

11 (A)Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. (B)Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, (C)nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”

Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba (D)nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’

“Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’

(E)“Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ 10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.

11 “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! 12 (F)Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. 13 N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, 14 (G)ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’ 

15 (H)“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! 16 (I)Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ 17 (J)Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”

18 (K)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”

Ekkanisa mu Antiyokiya

19 (L)Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka. 20 (M)Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. 21 (N)Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.

22 (O)Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza. 23 (P)Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna. 24 (Q)Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.

25 (R)Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo, 26 (S)bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.

Balunabba ne Sawulo Batumibwa mu Yerusaalemi

27 Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi. 28 (T)Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo. 29 (U)Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola, 30 (V)ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.

Zabbuli 135

135 (A)Mutendereze Mukama.

Mutendereze erinnya lya Mukama.
    Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
(B)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
    mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.

(C)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
    mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
(D)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
    ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.

(E)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
    era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
(F)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
    mu ggulu ne ku nsi;
    mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
(G)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
    atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
    n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.

(H)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
    ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
(I)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
    eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (J)Ye yakuba amawanga amangi,
    n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (K)Sikoni kabaka w’Abamoli,
    ne Ogi kabaka w’e Basani
    ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (L)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
    okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.

13 (M)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
    era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (N)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
    era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
    ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
    so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
    na buli abyesiga alibifaanana.

19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
    mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
    mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (O)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
    yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.

Engero 17:12-13

12 Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,
    kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.

Ebbeeyi y’Amagezi

13 (A)Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,
    ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.