Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NLT. Switch to the NLT to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 22:1-23:20

Omusango eri Bakabaka Ababi

22 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda (A)olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. (C)Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. (D)‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”

(E)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,

“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
    ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
    ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
(F)Ndikusindikira abakuzikiriza,
    buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
    ne bagisuula mu muliro.

(G)“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ (H)Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

10 (I)Temukaabira kabaka afudde
    oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
    kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.

11 (J)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 (K)Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

13 (L)“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,
    ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya
abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere
    n’atabasasula mpeera yaabwe.
14 (M)Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene
    n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’
Kale nnaakola amadirisa amanene
    nnaateekamu emivule
    era nnaasiigako langi emyufu.

15 (N)“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?
    Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?
Yakola ebituufu eby’obwenkanya.
    Noolwekyo byonna
    byamugendera bulungi.
16 (O)Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu
    kale byonna ne bimugendera bulungi.
Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”
    bw’ayogera Mukama.
17 (P)“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe
    biri ku magoba ag’obukuusa,
ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango
    ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”

18 Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

“Tebalimukungubagira;
    ‘Kikafuuwe, mukama wange!’
Kikafuuwe,
    obugagga bwe!
19 (Q)Aliziikibwa
    nga bwe baziika endogoyi,
    akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”

20 (R)“Genda mu Lebanooni okaabe,
    leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
    kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21 (S)Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
    naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
    togonderanga ku ddoboozi lyange.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
    n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
    oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
23 (T)Mmwe abali mu Lebanooni,[a]
    abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
    Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

24 (U)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (V)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (W)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28 (X)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
    ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
    basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 (Y)Ayi ggwe ensi, ensi,
    wulira ekigambo kya Katonda!
30 (Z)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
    kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
    oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Ettabi Ettukuvu

23 (AA)“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. (AB)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. (AC)“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. (AD)Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.

(AE)“Ennaku zijja,
    lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
    akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
(AF)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
    ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
    Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

(AG)“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, (AH)naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Bannabbi Abalimba

(AI)Ebikwata ku bannabbi:

omutima gwange gwennyise mu nda yange
    amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
    ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
    n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 (AJ)Ensi ejjudde abenzi;
    olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
    era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
    era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.

11 (AK)“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
    ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
    bw’ayogera Mukama.
12 (AL)“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
    era bajja kusuulibwa mu kizikiza
    era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
    mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
    bw’ayogera Mukama.

13 (AM)“Mu bannabbi b’e Samaliya
    nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
    ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 (AN)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
    ndabye ekintu ekibi ennyo.
    Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
    ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
    abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

15 (AO)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,

“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
    banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
    obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”

16 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,

“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
    babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
    so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 (AQ)Bagamba abo abannyooma nti,
    Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
    babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18 Naye ani ku bo
    eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
    oba okuwulira ekigambo kye?
19 (AR)Laba, omuyaga gwa Mukama
    gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
    eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 (AS)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
    okutuusa ng’amaze okutuukiriza
    ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.

2 Basessaloniika 1

(A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.

Okwebaza n’Okusaba

(C)Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka, (D)ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza. (E)Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, (F)ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. (G)Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, (H)mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. (I)Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. 10 (J)Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.

11 (K)Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, 12 (L)erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.

Zabbuli 83

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
    Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
(B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
    abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
(C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
    basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
(D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

(E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
    beegasse wamu bakulwanyise.
(F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
    n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
(G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
    n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
(H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
    okuyamba bazzukulu ba Lutti.

(I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
    era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
    ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
    n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
    amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
    obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
    n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
    obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
    balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 (Q)Bajjule ensonyi n’okutya,
    bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (R)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
    gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

Engero 25:11-14

11 (A)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
    kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

12 (B)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
    bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.

13 (C)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
    bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
    aweweeza emmeeme ya bakama be.

14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
    omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.