The Daily Audio Bible
Today's audio is from the GW. Switch to the GW to read along with the audio.
6 (A)Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,
ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.
Mmwe abakoowoola Mukama
temuwummula.
7 (B)Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi
era ng’agifudde ettendo mu nsi.
8 (C)Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo
era n’omukono gwe ogw’amaanyi:
“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,
era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
9 Naye abo abagikungula be baligirya
ne batendereza Mukama,
n’abo abanoga emizabbibu
be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”
10 (D)Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!
Muzimbe oluguudo,
mulugyemu amayinja.
Muyimusize amawanga ebbendera.
11 (E)Laba Mukama alangiridde
eyo yonna ensi gy’ekoma,
nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,
‘Laba omulokozi wo ajja,
Laba aleeta n’ebirabo bingi,
n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
12 (F)Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,
Abanunule ba Mukama,
ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,
Ekibuga Ekitakyali ttayo.
Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be
63 (G)Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula
anekaanekanye mu ngoye emyufu.
Ani ono ali mu ngoye za bakabaka
akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye?
“Ye nze alangirira obutuukirivu,
ow’amaanyi okulokola.”
2 Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu
ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
3 (H)“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu,
tewali n’omu yajja kunnyambako.
Nabalinnyiririra mu busungu
era omusaayi gwabwe
ne gusammukira ku ngoye zange,
era guyiise ku byambalo byange.
4 Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse,
olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
5 (I)Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba,
newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako.
Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi,
era obusungu bwange ne bunnyweza.
6 (J)Mu busungu bwange nalinnyirira abantu,
mu kiruyi kyange ne mbatamiiza,
omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7 (K)Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,
ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,
okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;
weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,
okusinziira ku kisa kye,
okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
8 (L)Yagamba nti, “Ddala bantu bange,
abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”
era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
9 (M)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
yabayimusa
n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
10 (N)Naye baajeema
ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu,
kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe
era ye kennyini n’abalwanyisa.
11 (O)Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,
ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;
aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.
Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 (P)eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa
ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,
eyayawulamu amazzi nga balaba,
yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 (Q)Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?
Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 (R)Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,
ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.
Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?
Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
16 (S)Ggwe Kitaffe,
wadde nga Ibulayimu tatumanyi
era nga Isirayiri tatutegeera,
Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe
okuva edda n’edda lye linnya lyo.
17 (T)Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,
n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?
Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo
amawanga g’omugabo gwo.
18 (U)Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono,
naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19 Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda;
naye bo tobafuganga,
tebayitibwanga linnya lyo.
Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama
64 (V)Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,
ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 (W)Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,
oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,
ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,
n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3 (X)Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,
wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4 (Y)Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde
oba kutu kwali kutegedde,
oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,
alwanirira abo abamulindirira.
5 (Z)Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,
abo abajjukira amakubo go.
Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.
Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,
ddala tulirokolebwa?
6 (AA)Ffenna twafuuka batali balongoofu
era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu[a].
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7 (AB)Tewali n’omu akoowoola linnya lyo
oba eyewaliriza okukukwatako,
kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,
era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
8 (AC)Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 (AD)Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,
tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.
Weewaawo, tutunuulire, tusaba,
kubanga tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 (AE)Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa
bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,
era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 (AF)Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?
Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?
Omusango n’Obulokozi
65 (AG)Mukama n’alyoka agamba nti,
“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 (AH)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 (AI)abantu bulijjo
abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
4 (AJ)abatuula mu malaalo
ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 (AK)Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
omuliro ogwaka olunaku lwonna.
6 (AL)“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 (AM)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama:
“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu
abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,
gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.
Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 (AN)Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo
era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;
abantu bange abalonde balizigabana,
era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 (AO)Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
olw’abantu bange abannoonya.
11 (AP)“Naye mmwe abava ku Mukama
ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu
ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,
ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
12 (AQ)ndibawaayo eri ekitala
era mwenna mukutaamirire musalibwe,
kubanga nabayita naye temwayitaba,
nayogera naye temwampuliriza.
Mwakola ebitasaana
era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 (AR)Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 (AS)Abaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 (AT)Ekikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 (AU)Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa
anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima
buli anaalayiranga mu ggwanga
anaalayiranga Katonda ow’amazima.
Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa
gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Eggulu Epya n’Ensi Empya
17 (AV)“Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 (AW)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 (AX)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
20 (AY)“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
anaaberawo ennaku obunaku,
oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 (AZ)Balizimba ennyumba bazisulemu,
balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 (BA)Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
emirimu gy’emikono gyabwe.
23 (BB)Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 (BC)Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 (BD)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
era empologoma erye omuddo ng’ennume,
era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Timoseewo ne Epafuladito
19 (A)Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. 20 (B)Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, 21 (C)kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. 22 (D)Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. 23 (E)Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 24 (F)Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.
25 (G)Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 (H)ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 (I)Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 (J)kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Obutuukirivu obwa Nnama ddala
3 Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza. 2 (K)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. 3 (L)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli ya Asafu.
73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 (B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4 Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 (C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 (D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 (E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 (F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.
18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 (A)Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.