The Daily Audio Bible
Today's audio is from the CSB. Switch to the CSB to read along with the audio.
Okufuga kwa Debola
4 (A)Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama. 2 (B)Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga. 3 (C)Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
4 Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. 5 (D)Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. 6 (E)N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. 7 (F)Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” 8 Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”
9 (G)Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. 10 (H)Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
Baraki awangula Sisera
11 (I)Keberi Omukeeni[a] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
12 Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, 13 (J)n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
14 (K)Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. 15 (L)Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. 16 (M)Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
Okuttibwa Kwa Sisera
17 Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. 19 (N)Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. 20 Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
21 (O)Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
22 Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
23 (P)Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani. 24 Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.
Oluyimba lwa Debola
5 (Q)Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:
2 (R)“Mutendereze Mukama
kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe
n’abantu ne beewaayo nga baagala.
3 (S)“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;
nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;
nze nnaayimbira Katonda w’Abayisirayiri.
4 (T)“Mukama, bwe wava e Seyiri,
bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
5 (U)Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,
ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.
6 (V)“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,
ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,
baatambuliranga mu mpenda.
7 Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo
okutuusa nze Debola lwe nayimuka,
nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
8 (W)Bwe beefunira abakulembeze[b] abalala,
entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.
Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena
kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
9 (X)Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,
n’eri abantu abeewaayo nga baagala.
Mutendereze Mukama.
10 (Y)“Mukyogereko mmwe,
abeebagala ku ndogoyi enjeru,
mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,
nammwe abatambulira mu kkubo. 11 (Z)Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,
nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,
ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.
“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,
ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
12 (AA)Zuukuka, zuukuka Debola
zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;
golokoka, Baraki okulembere
abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
13 “Awo abakungu abaasigalawo
ne baserengeta,
abantu ba Mukama,
ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
14 (AB)Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,
nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.
Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,
ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15 (AC)Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;
era Isakaali yali wamu ne Baraki.
Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16 (AD)Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,
okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17 (AE)Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?
Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,
ne babeera awali emyalo gyabwe.
18 (AF)Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,
era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.
19 (AG)“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
Naye tebaanyaga bintu.
20 (AH)Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 (AI)Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
22 Awo embalaasi ne zijja nga zirigita
era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
23 Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi[c].
Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;
kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.
Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’
24 (AJ)“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 (AK)Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 (AL)Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
mu kyenyi n’eyita namu.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
we yagwa we yafiira.
28 (AM)“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
ne yeddamu yekka.
30 (AN)‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
omuwala omu oba babiri buli musajja?
Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
31 (AO)“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”
Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.
35 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
36 Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 37 (B)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
38 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”
Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni
39 (C)Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 (D)Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 (E)Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 (F)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 (G)Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 (H)N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
Yesu Akwatibwa
47 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48 Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”
49 (I)Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50 Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51 Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!
52 (J)Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 53 (K)Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”
94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 (B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 (C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 (D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6 Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
7 (E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 (F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 (G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.
12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
3 (A)Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,
naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.
4 Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,
naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.