The Daily Audio Bible
Today's audio is from the CSB. Switch to the CSB to read along with the audio.
Emikisa Eri Abawulize
28 (A)Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. 2 (B)Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:
3 (C)Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.
4 (D)Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.
5 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.
6 (E)Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.
7 (F)Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.
8 Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.
9 (G)Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 10 (H)Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. 11 (I)Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
12 (J)Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. 13 Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. 14 (K)Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.
Ebikolimo olw’Obutawulira
15 (L)Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:
16 Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo.
17 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga.
18 Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.
19 Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma.
20 (M)Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse. 21 (N)Mukama alikulwaza olumbe olutawona olw’olukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogirye. 22 (O)Mukama alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira. 23 (P)Eggulu waggulu w’omutwe gwo liribeera ng’ekikomo, n’ettaka wansi wo liriba ng’ekyuma. 24 Mukama alifuula enkuba y’omu nsi yo olufufugge, n’enfuufu yokka y’eneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lw’olizikirizibwa.
25 (Q)Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi. 26 (R)Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, n’eri ensolo ez’oku nsi, era tewaabeerengawo n’omu anaazigugobangako. 27 (S)Mukama anaakulwazanga amayute g’e Misiri, n’ebizimba, n’amabwa, n’obuwere, by’otoowonyezebwenga. 28 Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso, n’okukutabulatabulanga mu ndowooza yo. 29 (T)Mu ttuntu onoowammantanga ng’omuzibe w’amaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli ky’onookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira.
30 (U)Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu. 31 Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza. 32 (V)Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola. 33 (W)Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera. 34 Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu. 35 (X)Mukama anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo k’omutwe.
36 (Y)Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja. 37 (Z)Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna Mukama gy’anaabanga akulazizza. 38 (AA)Onoosiganga ensigo nnyingi mu nnimiro yo, kyokka onookungulangamu katono, kubanga enzige zinaalyanga ebibala byo byonna. 39 (AB)Onoosimbanga essamba z’emizabbibu n’ogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku nvinnyo wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga. 40 (AC)Onoobeeranga n’emiti egy’emizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi. 41 (AD)Olizaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe. 42 Enzige zineefuganga emiti gyo gyonna n’ebibala eby’omu ttaka lyo.
43 (AE)Bannamawanga b’onoobeeranga nabo bagenda kukulaakulananga balinnye waggulu okukusinganga, nga ggwe weeyongeranga kukka bussi wansi. 44 (AF)Banaakuwolanga, naye ggwe toobawolenga. Be banaabanga omutwe naye ggwe onoobanga mukira.
45 (AG)Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olw’obutagonderanga Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga. 46 (AH)Binaabeeranga mu ggwe ng’akabonero era ekyewuunyisa gy’oli n’eri bazzukulu bo emirembe gyonna. 47 (AI)Kubanga bwe wabeeranga obulungi n’ebintu ebingi, tewaweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima ogujjudde essanyu. 48 (AJ)Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala.
49 (AK)Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera. 50 (AL)Liribeera eggwanga erijjudde obukambwe mu maaso, eritassaamu kitiibwa bantu bakulu wadde okusaasira abato. 51 (AM)Balirya abaana b’ebisolo by’omu malundiro go, n’ebibala eby’omu ttaka lyo okutuusa lw’olizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku nvinnyo oba ku mafuta, wadde ku nnyana ez’ebiraalo byo, oba ku baana b’endiga ab’ebisibo byo, okutuusa lw’olizikirira. 52 (AN)Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gy’akuwa.
53 (AO)Olw’okubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala by’olubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo Mukama Katonda wo b’anaabanga akuwadde. 54 Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo; 55 taawengako n’omu ku nnyama y’abaana be b’anaabanga alya. Kubanga nga takyalina ky’asigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kw’anaabanga akutuusizzaako ng’akuzingirizza mu bibuga byo byonna. 56 (AP)Omukazi asinga obuntubulamu n’eggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we, 57 ku mwana gw’anaabanga y’akazaala ow’omu lubuto lwe, n’abaana b’anaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olw’okubulwako ekyokulya ekirala mu biseera eby’okuzingizibwa era eby’ennaku enzibu ennyo, omulabe wo by’anaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo.
58 (AQ)Bw’otoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, n’ototya era n’otossaamu kitiibwa erinnya lino ery’ettendo era ery’entiisa, eriyitibwa: Mukama Katonda wo, 59 kale nno, Mukama anaakuweerezanga endwadde enkambwe ennyo, eri ggwe n’eri ezzadde lyo; endwadde ez’olutentezi era enkambwe ennyo ez’olukonvuba. 60 (AR)Anaakuleeteranga endwadde zonna ez’e Misiri, ezaakutiisa ennyo, ne zikwezingangako. 61 (AS)Era Mukama anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, n’ebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka gano, okutuusa lw’olizikirizibwa. 62 (AT)Era mulisigala ng’omuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ng’emmunyeenye ez’oku ggulu olw’obungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wo. 63 (AU)Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya.
64 (AV)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako. 65 (AW)Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi. 66 Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa. 67 (AX)Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga. 68 Mukama anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ng’oli eyo oneewangayo weetunde ng’omuddu omusajja oba ng’omuddu omukazi, naye toofunengayo muntu n’omu akugula.
Yesu ne Beeruzebuli
14 (A)Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya. 15 (B)Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!” 16 (C)Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
17 (D)Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika. 18 (E)Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli. 19 Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango. 20 (F)Naye obanga ngoba baddayimooni mu buyinza bwa Katonda, ekyo kikakasa nti obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
21 “Kubanga omuntu ow’amaanyi bw’akuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa eby’amaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye. 22 Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.
23 (G)“Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
24 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’ 25 Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke. 26 (H)Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
27 (I)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”
28 (J)Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
Akabonero ka Yona
29 (K)Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona. 30 Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno. 31 (L)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano. 32 (M)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
Ettaala y’Omubiri
33 (N)“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba. 34 Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza. 35 Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe. 36 Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2 (B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3 (C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4 Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5 (D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6 Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
7 (E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
8 (F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9 (G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
18 (A)Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,
naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.