The Daily Audio Bible
Today's audio is from the EHV. Switch to the EHV to read along with the audio.
Amateeka Ekkumi
5 Awo Musa n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’abagamba nti, Wulira, Ayi Isirayiri, amateeka n’ebiragiro bye nkutegeeza ng’owulira ku lunaku lwa leero.
Mubiyige era mubigobererenga n’obwegendereza. 2 (A)Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano nga tuli e Kolebu. 3 (B)Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero. 4 (C)Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ng’asinziira mu muliro ku lusozi olunene. 5 (D)Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene.
N’abagamba nti:
6 “Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
7 “Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
8 Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 9 (E)Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 10 (F)Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
11 (G)Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
12 (H)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. 13 Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 14 (I)naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, oba ente yo eya sseddume, oba endogoyi yo, oba ku nte zo endala zonna, oba omugenyi ali omumwo, abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, nabo balyoke bawummuleko nga ggwe. 15 (J)Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti.
16 (K)Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
17 (L)Tottanga.
18 (M)Toyendanga.
19 Tobbanga.
20 Towaayirizanga muntu munno.
21 (N)Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
Katonda ne Musa ku Lusozi Sinaayi
22 (O)Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.
23 Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna. 24 (P)Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro. 25 (Q)Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe. 26 (R)Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu? 27 Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe by’anaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”
28 (S)Mukama yawulira ebigambo byammwe, bwe mwayogera nange, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebigambo abantu abo bye bakugambye mbiwulidde. Byonna bye boogedde bibadde birungi. 29 (T)Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu n’abaana baabwe emirembe gyonna! 30 Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe. 31 (U)Naye ggwe sigala wano nange, ndyoke nkutegeeze amateeka gonna n’ebiragiro, by’ojja okubayigiriza babikolerengako nga bali mu nsi gye mbawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
32 (V)“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bw’abalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono. 33 (W)Mutambulirenga mu kkubo Mukama Katonda wammwe ly’abalagidde, mulyoke mubenga balamu, mugaggawale, era muwangaalenga nga muli mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.”
Yagalanga Mukama Katonda wo
6 “Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 2 (X)Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga. 3 (Y)Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Etteeka ly’Okwagala
4 (Z)“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu. 5 (AA)Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. 6 (AB)Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. 7 (AC)Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. 8 (AD)Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. 9 (AE)Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
10 (AF)“Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 11 (AG)n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.
13 (AH)“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga. 14 Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde; 15 (AI)kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi. 16 (AJ)Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. 17 (AK)Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde. 18 (AL)Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, 19 ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.
Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka
20 (AM)“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? 21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22 Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 24 (AN)Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. 25 (AO)Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”
Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu
11 Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini. 12 Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. 13 (A)Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”
14 (B)N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!” 15 Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.
16 (C)Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.” 17 (D)Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.
Yesu ne Yokaana Omubatiza
18 (E)Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri, 19 n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
20 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21 (F)Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso. 22 (G)Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge[a] balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri. 23 Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
24 Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 25 Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri. 26 (H)Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 27 (I)Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti,
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera,
y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ ”
28 (J)“Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
29 (K)Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. 30 (L)Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
Yesu Anenya ab’omu Biseera bye
31 Awo Yesu n’abuuza nti, “Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya? 32 Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti,
“ ‘Bwe twabafuuyira omulere,
temwazina,
Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga,
temwakungubaga.’
33 (M)Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’ 34 (N)Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’ 35 Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna.”
19 (A)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (B)Katonda waffe ye Katonda alokola;
era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (C)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (D)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (E)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”
24 (F)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (G)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (H)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (I)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.
28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (J)Bakabaka balikuleetera ebirabo
olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (K)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (L)Ababaka baliva e Misiri,
ne Kuusi aligondera Katonda.
32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
Mutendereze Mukama.
33 (M)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (N)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
obuyinza bwe buli mu bire.
35 (O)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.
Katonda atenderezebwe.
29 (A)Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
30 (B)Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,
era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.
31 (C)Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,
oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.