Bible in 90 Days
Okukwatibwa kwa Suteefano
8 (A)Suteefano, ng’ajjudde ekisa kya Katonda n’amaanyi, n’akolanga ebyamagero bingi n’obubonero mu bantu. 9 (B)Naye abamu ku b’omu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, n’Abakuleene n’Abalegezanderiya, n’Abakirukiya n’Abasiya, ne bawakana ne Suteefano. 10 (C)Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi n’Omwoyo bye yayogeza.
11 (D)Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti twamuwulira ng’ayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.
12 (E)Abantu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka ne banyiiga nnyo. Ne bakwata Suteefano ne bamuleeta mu Lukiiko Olukulu. 13 (F)Abajulizi ab’obulimba ne boogera nti, “Omuntu ono buli kiseera avvoola ekifo kino ekitukuvu n’amateeka. 14 (G)Era twamuwulira ng’agamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino n’obulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”
15 (H)Ab’Olukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ng’amasamasa ng’aga malayika!
Okwogera kwa Suteefano mu Lukiiko
7 Awo Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”
2 (I)Suteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani. 3 (J)N’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’
4 (K)“Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano. 5 (L)Naye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana! 6 (M)Katonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina. 7 (N)Era Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’ 8 (O)Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.
9 (P)“Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye, 10 (Q)n’amuwonya mu kubonaabona kwonna era n’amuwa ekisa n’amagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Falaawo n’amuwa okufuga Misiri yonna era n’amukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.
11 (R)“Awo enjala n’egwa mu Misiri yonna ne mu nsi ya Kanani, n’ereetera bajjajjaffe okubonaabona ennyo kubanga baali tebalina we baggya mmere. 12 (S)Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo eŋŋaano n’atumayo bajjajjaffe, omulundi gwabwe ogwasooka. 13 (T)Ku mulundi ogwokubiri Yusufu ne yeeyanjulira baganda be era n’ayanjulira Falaawo baganda be. 14 (U)Bw’atyo Yusufu n’atumya kitaawe, Yakobo, era n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna be bantu nsanvu mu bataano. 15 (V)Bw’atyo Yakobo n’ajja e Misiri era n’afiira eyo ne bajjajjaffe. 16 (W)Oluvannyuma baaleetebwa e Sekemu mu ntaana Ibulayimu gye yali aguze omuwendo gw’effeeza, ku batabani ba Kamoli mu Sekemu.
17 (X)“Ekiseera ky’ekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri. 18 (Y)Awo kabaka omulala eyali tamanyi Yusufu n’atandika okufuga Misiri. 19 (Z)Kabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.
20 (AA)“Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu. 21 (AB)Bwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo n’amulonda n’amutwala n’amulera nga mutabani we. 22 (AC)Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.
23 “Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri. 24 N’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa. 25 Musa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera. 26 Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
27 “Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe? 28 Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ 29 (AD)Musa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.
30 “Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka. 31 (AE)Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti, 32 (AF)‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.
33 (AG)“Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu. 34 (AH)Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’
35 (AI)“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe. 36 (AJ)Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu[a], n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
37 (AK)“Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’ 38 (AL)Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.
39 (AM)“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri. 40 (AN)Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’ 41 (AO)Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe. 42 (AP)Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti,
“ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana,
ggw’ennyumba ya Isirayiri?
43 (AQ)Muzimbye essabo lya Moloki,
ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani,
nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze.
Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.
44 (AR)“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. 45 (AS)Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. 46 (AT)Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. 47 Naye Sulemaani ye yagizimba.
48 (AU)“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,
49 (AV)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50 (AW)Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’
51 (AX)“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli. 52 (AY)Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. 53 (AZ)Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
Suteefano Akubwa Amayinja
54 (BA)Awo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji. 55 (BB)Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. 56 (BC)N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
57 Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako. 58 (BD)Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.
59 (BE)Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” 60 (BF)N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.
Ekkanisa Eyigganyizibwa
8 (BG)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.
Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya. 2 Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi. 3 (BH)Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
Firipo Abuulira mu Samaliya
4 (BI)Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. 5 (BJ)Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo. 6 Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. 7 (BK)Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa; 8 ekibuga ne kijjula essanyu.
Simooni Omufumu
9 (BL)Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa. 10 (BM)Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ” 11 Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga. 12 (BN)Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa. 13 (BO)Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
14 (BP)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (BQ)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (BR)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (BS)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
18 Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. 19 N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
20 (BT)Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. 21 (BU)Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22 Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. 23 Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
24 (BV)Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
25 (BW)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
Firipo n’Omwesiyopya
26 (BX)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (BY)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (BZ)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (CA)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (CB)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 (CC)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (CD)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (CE)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
Okukyuka kwa Sawulo
9 (CF)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, 2 (CG)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. 3 (CH)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. 4 N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
5 Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”
Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! 6 (CI)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
7 (CJ)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. 8 Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. 9 N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
10 (CK)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 (CL)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (CM)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 (CN)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (CO)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 (CP)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (CQ)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 (CR)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (CS)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 (CT)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (CU)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (CV)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (CW)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (CX)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
26 (CY)Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 (CZ)Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 (DA)Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 (DB)Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
31 (DC)Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
Ayineya ne Doluka
32 (DD)Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. 33 Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. 34 (DE)Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. 35 (DF)Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.
36 (DG)Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. 37 (DH)Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 38 (DI)Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.
39 (DJ)N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.
40 (DK)Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. 41 Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. 42 Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. 43 (DL)Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.
Koluneeriyo Atumya Peetero
10 (DM)Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole ky’abaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano. 2 (DN)Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo. 3 (DO)Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”
4 (DP)Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?”
Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira. 5 (DQ)Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire. 6 (DR)Abeera wa Simooni omuwazi w’amaliba, era enju ye eri ku lubalama lw’ennyanja.”
7 Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza, 8 (DS)n’abannyonnyola byonna ebibaddewo, n’abatuma e Yopa.
Peetero Alabikirwa
9 (DT)Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 10 (DU)Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11 N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12 Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13 Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”
14 (DV)Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
15 (DW)Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”
16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.
17 (DX)Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18 nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.
19 (DY)Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 20 (DZ)Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”
21 Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”
22 (EA)Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 23 (EB)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.
Peetero mu maka ga Koluneeriyo
24 (EC)Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25 Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 26 (ED)Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
27 N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 28 (EE)Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29 Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
30 Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31 N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32 Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ 33 Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
34 (EF)Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 (EG)wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 36 (EH)Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37 Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 38 (EI)Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 (EJ)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 40 (EK)Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 41 (EL)Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 42 (EM)N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 43 (EN)Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! 45 (EO)Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. 46 (EP)Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.
Awo Peetero n’agamba nti, 47 (EQ)“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” 48 (ER)Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.
Peetero Annyonnyola
11 (ES)Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. 2 (ET)Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, 3 (EU)nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”
4 Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba 5 (EV)nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. 6 Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. 7 Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’
8 “Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
9 (EW)“Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ 10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.
11 “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! 12 (EX)Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. 13 N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, 14 (EY)ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’
15 (EZ)“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! 16 (FA)Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ 17 (FB)Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
18 (FC)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”
Ekkanisa mu Antiyokiya
19 (FD)Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka. 20 (FE)Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. 21 (FF)Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.
22 (FG)Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza. 23 (FH)Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna. 24 (FI)Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.
25 (FJ)Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo, 26 (FK)bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
Balunabba ne Sawulo Batumibwa mu Yerusaalemi
27 Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi. 28 (FL)Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo. 29 (FM)Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola, 30 (FN)ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.
Peetero Aggyibwa mu Kkomera
12 Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode n’atandika okuyigganya abamu ku bakkiriza ab’omu Kkanisa. 2 (FO)N’atta Yakobo muganda wa Yokaana n’ekitala. 3 (FP)Bwe yalaba nga ky’akoze kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata Peetero mu kiseera eky’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa 4 n’amusiba mu kkomera, ng’amutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina eby’abaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ng’Embaga y’Okuyitako ewedde.
5 (FQ)Peetero n’akuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa n’enyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.
6 (FR)Ekiro ekyo, ng’enkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati w’abaserikale babiri, ng’asibiddwa n’enjegere bbiri, nga ne ku mulyango gw’ekkomera kuliko abakuumi. 7 (FS)Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.
8 Malayika n’amugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale n’engatto zo.” Peetero n’akola nga bw’agambiddwa. Malayika n’amugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” 9 (FT)Awo Peetero n’agoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ng’alowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. 10 (FU)Ne bayita ku bakuumi abasooka n’abookubiri ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika n’amuleka.
11 (FV)Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”
12 (FW)Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, n’atambula n’alaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. 13 (FX)Awo Peetero n’akonkona ku luggi olunene olw’ebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda n’ajja okuggulawo. 14 (FY)Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”
15 (FZ)Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti ky’agamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.”
16 Naye Peetero n’ayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo. 17 (GA)N’abakomako basirike, n’alyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. N’abagamba nti, “Mutegeeze Yakobo n’abooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo n’afuluma n’alaga mu kifo ekirala.
18 Enkeera ekkomera ne lijjula akagugumuko ng’abaserikale beebuuza nti, “Peetero abulidde wa?” 19 (GB)Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya n’ababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa n’alagira babafulumye babatte.
Okufa kwa Kerode
Oluvannyuma Kerode n’ava e Buyudaaya n’agenda abeera e Kayisaliya. 20 (GC)Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era n’abayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.
21 Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode n’ayambala eminagiro gye egy’obwakabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ayogera eri ababaka n’abantu bonna. 22 Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!” 23 (GD)Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.
24 (GE)Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna wonna.
Balunabba ne Sawulo Baddayo mu Antiyokiya
25 Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.
Balunabba ne Sawulo batumibwa
13 (GF)Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. 2 (GG)Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” 3 (GH)Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
4 (GI)Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. 5 (GJ)Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
6 (GK)Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. 7 (GL)Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8 (GM)Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. 9 (GN)Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, 10 (GO)n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? 11 (GP)Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”
Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono. 12 (GQ)Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.
Balunabba ne Pawulo mu Antiyokiya eky’e Pisidiya
13 (GR)Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi. 14 (GS)Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro. 15 (GT)Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”
16 (GU)Awo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize! 17 (GV)Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi, 18 (GW)n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu. 19 (GX)N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe, 20 (GY)okumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano.
“Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri. 21 (GZ)Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana. 22 (HA)Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’
23 (HB)“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. 24 Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya. 25 Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’
26 (HC)“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 27 (HD)Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 28 (HE)Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 29 (HF)Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 30 (HG)Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 31 (HH)Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32 “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33 yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,
“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
34 (HI)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 (HJ)Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 (HK)“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37 Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 (HL)“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 (HM)Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40 Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 (HN)“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
42 (HO)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 43 (HP)Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
44 Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45 (HQ)Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 46 (HR)Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 47 (HS)Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,
“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
48 Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
49 Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50 (HT)Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 51 (HU)Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.
14 (HV)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. 2 Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. 3 (HW)Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. 4 (HX)Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. 5 (HY)Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. 6 (HZ)Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, 7 (IA)era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.
Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube
8 (IB)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. 9 (IC)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (ID)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (IE)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
14 (IF)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (IG)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (IH)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (II)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.
19 (IJ)Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. 20 (IK)Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.
Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya
21 (IL)Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, 22 (IM)ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” 23 (IN)Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. 24 Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, 25 bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.
26 (IO)Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. 27 (IP)Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. 28 Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.
Olukiiko lw’Abakristaayo mu Yerusaalemi
15 (IQ)Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.” 2 (IR)Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi. 3 (IS)Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda. 4 (IT)Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.
5 Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.
6 Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo. 7 Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize. 8 (IU)Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa. 9 (IV)Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza. 10 (IW)Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka? 11 (IX)Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”
12 (IY)Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga. 13 (IZ)Bwe baamala okwogera, Yakobo n’agamba nti, “Abasajja abooluganda, mumpulirize. 14 Simooni abategeezezza ng’okusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo ab’okuweesa erinnya lye ekitiibwa. 15 Era kino kituukiriza bannabbi bye baayogera ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,
16 “ ‘Oluvannyuma lwa bino ndikomawo,
ne nziddaabiriza ennyumba ya Dawudi eyagwa.
Ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa. Ndigizaawo,
17 (JA)n’abantu abalala
basobole okunoonya Mukama,
era n’abamawanga be nayita okuba abantu bange.
18 Bw’atyo bw’ayogera Mukama, alaga entegeka ye okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.’
19 “Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya. 20 (JB)Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi. 21 (JC)Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”
Ebbaluwa y’Olukiiko eri Abaamawanga Abakkiriza
22 (JD)Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira. 23 (JE)Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti:
Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa,
Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya:
Abooluganda tubalamusizza.
24 (JF)Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima. 25 Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu n’abaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo, 26 (JG)abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe. 27 Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola n’akamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno. 28 (JH)Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino: 29 (JI)Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi.
Mweraba.
30 Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo. 31 Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olw’ebyo ebyagirimu. 32 Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe. 33 (JJ)Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza. 34 Naye Siira n’asalawo okusigalayo. 35 (JK)Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.
Pawulo ne Balunabba Baawukana
36 (JL)Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali. 37 (JM)Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo. 38 (JN)Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza. 39 Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo. 40 (JO)Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe. 41 Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.
Timoseewo Yeegatta ku Pawulo ne Siira
16 (JP)Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani, 2 (JQ)abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere. 3 (JR)Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani. 4 (JS)Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga. 5 (JT)Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
Okwolesebwa kwa Pawulo
6 (JU)Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. 7 (JV)Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza. 8 (JW)Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa. 9 (JX)Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” 10 (JY)Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi
11 (JZ)Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli, 12 n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13 (KA)Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo. 14 (KB)Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. 15 (KC)Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
Pawulo ne Siira Basibwa mu Kkomera
16 (KD)Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi. 17 (KE)N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.” 18 (KF)Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
19 (KG)Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza. 20 (KH)Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe 21 (KI)nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”
22 (KJ)Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. 23 (KK)Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri. 24 (KL)Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.
25 (KM)Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, 26 (KN)amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! 27 (KO)Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! 28 Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”
29 Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. 30 (KP)Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
31 (KQ)Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32 Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 (KR)Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 34 (KS)Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
35 Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 36 (KT)Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”
37 (KU)Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.