Bible in 90 Days
Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama
13 (A)Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,
aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14 Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi,
endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika,
era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15 (B)bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;
bakabaka balibunira ku lulwe;
kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,
era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.
53 (C)Ani akkiriza ebigambo byaffe,
era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2 (D)Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
3 (E)Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
4 (F)Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
5 (G)Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.
6 Ffenna twawaba ng’endiga;
buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
7 (H)Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
bw’atyo bwe yasirika.
8 (I)Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
9 (J)Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.
10 (K)Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 (L)Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 (M)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.
Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma
54 (N)“Yimba ggwe omugumba
atazaalanga;
tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala
ggwe atalumwanga kuzaala.
Kubanga ggwe eyalekebwa
ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”
bw’ayogera Mukama.
2 (O)“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,
tokwata mpola;
nyweza enkondo zo.
3 (P)Kubanga olisaasaanira
ku mukono gwo ogwa ddyo
era n’ogwa kkono,
n’ezzadde lyo lirirya amawanga,
era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
4 (Q)“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.
Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.
Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,
n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 (R)Kubanga Omutonzi wo ye balo,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,
Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
6 (S)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
bw’ayogera Katonda wo.
7 (T)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 (U)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
9 (V)“Kubanga gye ndi,
bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.
Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,
bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 (W)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
teriggyibwawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja
11 (X)Mukama agamba nti,
“Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;
laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,
emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,
n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,
ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 (Y)N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 (Z)Olinywezebwa mu butuukirivu
era toojoogebwenga,
kubanga tolitya,
onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 (AA)Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi.
Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 Laba nze natonda omuweesi,
awujja amanda agaliko omuliro
n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo.
Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17 (AB)Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,
era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.
Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,
n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
Abalumwa Ennyonta Bayitibwa
55 (AC)“Kale mujje,
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
ebitaliiko miwendo gya kusasula.
2 (AD)Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
3 (AE)Mumpulirize mujje gye ndi.
Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
4 (AF)Laba namufuula omujulirwa eri abantu,
omukulembeze era omugabe w’abantu.
5 (AG)Laba oliyita amawanga g’otomanyi,
era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo
era Omutukuvu wa Isirayiri
kubanga akugulumizza.”
6 (AH)Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
7 (AI)Omubi aleke ekkubo lye,
n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe
kubanga anaamusonyiyira ddala.
8 (AJ)“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe
era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,”
bw’ayogera Mukama.
9 (AK)“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,
bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,
n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
10 (AL)Era ng’enkuba bwetonnya
n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu
n’ebitaddayo,
wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula,
ne bimerusa ensigo z’omusizi,
era ne biwa omuli emmere,
11 (AM)bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
12 (AN)Kubanga mulifuluma n’essanyu
ne mugenda mirembe,
ensozi n’obusozi nabyo
ne bitandika okuyimba nga bibalabye,
n’emiti gyonna
ne gitendereza n’essanyu.
13 (AO)Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya,
ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi.
Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe
era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo
ak’emirembe n’emirembe.”
Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna
56 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,
kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n’obutuukirivu bwange
bunatera okubikkulibwa.
2 (AQ)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 (AR)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
“Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
“Ndi muti mukalu.”
4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
ne bakuuma endagaano yange,
5 (AS)amannya gaabwe galijjukirwa
mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
ery’emirembe n’emirembe.
6 (AT)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
7 (AU)bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
eri amawanga gonna.”
8 (AV)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe
9 (AW)Mukama agamba amawanga amalala okujja
ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 (AX)Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,
bonna tebalina magezi,
bonna mbwa
ezitasobola kuboggola,
zibeera mu kuloota nakugalaamirira
ezaagala okwebaka obwebasi.
11 (AY)Embwa ezirina omululu omuyitirivu
ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 (AZ)Bagambagana nti,
“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
oba n’okusingawo.”
57 (BA)Abantu abatuukirivu bazikirira,
naye tewali akirowoozako n’akatono.
Abantu abeewaddeyo eri Katonda
batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.
Kubanga omutuukirivu aggyibwawo
olw’akabi akagenda okujja.
2 (BB)Ayingira mu mirembe
n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,
ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.
3 (BC)“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu
ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
4 Muzannyira ku ani?
Ani gwe mukongoola
ne mumusoomooza?
Temuli baana ba bujeemu,
ezzadde eryobulimba?
5 (BD)Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti
na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
ne wansi w’enjatika z’enjazi.
6 (BE)Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu[a] gosinziza mu biwonvu,
abo be babo, obusika bwo;
abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa
era n’ebiweebwayo eby’empeke.
Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7 (BF)Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda
nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8 (BG)Emabega w’enzigi zammwe
we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.
Mwandeka ne mukola eby’obuwemu
mu bitanda byammwe ebigazi.
Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano
n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
9 (BH)Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu
ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
kumpi batuuke n’emagombe.
10 (BI)Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo
naye teweegamba nako nti,
‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’
Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
11 (BJ)“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,
n’olyoka olimba,
nze n’otonzijukira n’akatono
wadde okundowoozaako?
Olw’okubanga nsirise n’esikunyega
ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
12 (BK)Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,
naye tebigenda kukugasa.
13 (BL)Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,
leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;
naye empewo eribatwala,
omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.
Naye oyo anfuula ekiddukiro kye
alirya ensi
era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
Ekisa eri Abeenenya
14 (BM)Era kiryogerwa nti,
“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!
Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 (BN)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
era n’ogw’abo ababoneredde.
16 (BO)Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe
era siribasunguwalira bbanga lyonna.
Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,
emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 (BP)Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.
Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi
naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 (BQ)Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.
Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 (BR)Mirembe, era mirembe,
eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,
era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 (BS)Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,
eteyinza kutereera,
ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 (BT)“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
Okusiiba okw’Amazima
58 (BU)Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,
tokisirikira.
Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,[b]
obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 (BV)Kubanga bannoonya buli lunaku
era beegomba okumanya amakubo gange,
nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu
so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.
Bambuuza ensala ennuŋŋamu,
ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 (BW)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 (BX)Njagala mulabe.
Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,
n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.
Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 (BY)Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?
Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?
Kukutamya bukutamya mutwe,
kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?
Okwo kwe muyita okusiiba,
olunaku olusiimibwa Mukama?
6 (BZ)Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
n’okumenya buli kikoligo?
7 (CA)Si kugabira bayala ku mmere yo,
n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 (CB)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 (CC)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.
“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 (CD)bw’olyewaayo okuyamba abayala
n’odduukirira abali mu buzibu,
olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,
ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 (CE)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 (CF)N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika
era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.
Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,
omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
13 (CG)“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,
obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,
bw’onooluyitanga olw’essanyu
era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,
singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe
oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
14 (CH)awo olifuna essanyu eriva eri Mukama
era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu
era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”
Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa
59 (CI)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
era si muzibe wa matu nti tawulira.
2 (CJ)Naye obutali butuukirivu bwammwe
bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
n’atawulira.
3 (CK)Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
4 (CL)Tewali awaaba bya nsonga
so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
5 (CM)Baalula amagi ag’essalambwa
ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
6 (CN)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
7 (CO)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
8 (CP)Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi
wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.
9 (CQ)Amazima gatuli wala,
n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (CR)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
ne tuba ng’abafu.
11 (CS)Ffenna tuwuluguma ng’eddubu
ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
n’obulokozi butuliwala.
12 (CT)Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 (CU)obujeemu n’enkwe eri Mukama
era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 (CV)Obwenkanya buddiridde
n’obutuukirivu ne bubeera wala.
Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
era oyo ava ku kibi asuulibwa.
Mukama yakiraba n’atasanyuka
kubanga tewaali bwenkanya.
16 (CW)N’alaba nga tewali muntu,
ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.
Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini
okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 (CX)Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,
era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;
n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga
era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri
bwalisasula ekiruyi ku balabe be,
n’abamukyawa
alibawa empeera yaabwe,
n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 (CY)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
omukka gwa Mukama gwe gutwala.
20 (CZ)“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,
eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”
bw’ayogera Mukama.
21 (DA)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.
Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja
60 (DB)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 (DC)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 (DD)Amawanga galijja eri omusana gwo
ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 (DE)“Yimusa amaaso go olabe;
abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
abasituliddwa mu mikono.
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 (DF)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[c]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
okulangirira ettendo lya Katonda.
7 (DG)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
8 (DH)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 (DI)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri,
kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
10 (DJ)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (DK)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 (DL)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
13 (DM)“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 (DN)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
15 (DO)“Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa,
nga tewali n’omu akuyitamu,
ndikufuula ow’ettendo,
essanyu ery’emirembe gyonna.
16 (DP)Olinywa amata ag’amawanga.
Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,
era olimanyira ddala nti,
Nze, nze Mukama,
nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu,
mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza,
mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,
ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma.
Emirembe gye girifuuka omufuzi wo
n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 (DQ)Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,
wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo.
Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,
Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 (DR)Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 (DS)Enjuba yo terigwa nate,
n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 (DT)Abantu bo babeere batuukirivu,
ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
omulimu gw’emikono gyange,
olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi,
n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.
Nze Mukama,
ndikyanguya mu biseera byakyo.”
Amawulire Amalungi ag’Obulokozi
61 (DU)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
n’abasibe bateebwe
bave mu makomera.
2 (DV)Okulangirira omwaka gwa Mukama
ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
3 (DW)Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
balyoke baweebwe ekitiibwa.
4 (DX)Baliddamu
bazimbe ebyali bizise,
balirongoosa ebibuga
ebyali byerabirwa edda.
5 (DY)Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,
abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
6 (DZ)Era muyitibwe bakabona ba Mukama,
abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama,
mulirya obugagga bw’amawanga,
era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
7 (EA)Mu kifo ky’ensonyi,
abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.
Mu kifo ky’okuswala
basanyuke olw’ebyo bye balifuna
era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,
essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
8 (EB)“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,
nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.
Mu bwesigwa bwange ndibasasula
era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
9 N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga
n’abaana baabwe eri abantu.
Abo bonna abalibalaba balibamanya,
nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
10 (EC)Nsanyukira nnyo mu Mukama,
emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.
Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi
era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,
ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,
ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
11 (ED)Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,
era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,
bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,
ensi zonna zikirabe.
Erinnya lya Sayuuni Eriggya
62 (EE)Ku lwa Sayuuni ssiisirike,
era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,
okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,
obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.
2 (EF)Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,
era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.
Oliyitibwa erinnya epya
akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
3 (EG)Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,
enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4 (EH)Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,
ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.
Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,
n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.
Kubanga Mukama akusanyukira
era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
5 (EI)Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto
bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.
Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,
bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
6 (EJ)Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,
ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.
Mmwe abakoowoola Mukama
temuwummula.
7 (EK)Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi
era ng’agifudde ettendo mu nsi.
8 (EL)Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo
era n’omukono gwe ogw’amaanyi:
“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,
era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
9 Naye abo abagikungula be baligirya
ne batendereza Mukama,
n’abo abanoga emizabbibu
be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”
10 (EM)Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!
Muzimbe oluguudo,
mulugyemu amayinja.
Muyimusize amawanga ebbendera.
11 (EN)Laba Mukama alangiridde
eyo yonna ensi gy’ekoma,
nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,
‘Laba omulokozi wo ajja,
Laba aleeta n’ebirabo bingi,
n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
12 (EO)Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,
Abanunule ba Mukama,
ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,
Ekibuga Ekitakyali ttayo.
Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be
63 (EP)Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula
anekaanekanye mu ngoye emyufu.
Ani ono ali mu ngoye za bakabaka
akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye?
“Ye nze alangirira obutuukirivu,
ow’amaanyi okulokola.”
2 Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu
ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
3 (EQ)“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu,
tewali n’omu yajja kunnyambako.
Nabalinnyiririra mu busungu
era omusaayi gwabwe
ne gusammukira ku ngoye zange,
era guyiise ku byambalo byange.
4 Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse,
olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
5 (ER)Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba,
newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako.
Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi,
era obusungu bwange ne bunnyweza.
6 (ES)Mu busungu bwange nalinnyirira abantu,
mu kiruyi kyange ne mbatamiiza,
omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7 (ET)Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,
ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,
okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;
weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,
okusinziira ku kisa kye,
okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
8 (EU)Yagamba nti, “Ddala bantu bange,
abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”
era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
9 (EV)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
yabayimusa
n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
10 (EW)Naye baajeema
ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu,
kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe
era ye kennyini n’abalwanyisa.
11 (EX)Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,
ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;
aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.
Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 (EY)eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa
ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,
eyayawulamu amazzi nga balaba,
yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 (EZ)Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?
Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 (FA)Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,
ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.
Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?
Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
16 (FB)Ggwe Kitaffe,
wadde nga Ibulayimu tatumanyi
era nga Isirayiri tatutegeera,
Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe
okuva edda n’edda lye linnya lyo.
17 (FC)Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,
n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?
Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo
amawanga g’omugabo gwo.
18 (FD)Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono,
naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19 Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda;
naye bo tobafuganga,
tebayitibwanga linnya lyo.
Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama
64 (FE)Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,
ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 (FF)Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,
oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,
ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,
n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3 (FG)Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,
wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4 (FH)Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde
oba kutu kwali kutegedde,
oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,
alwanirira abo abamulindirira.
5 (FI)Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,
abo abajjukira amakubo go.
Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.
Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,
ddala tulirokolebwa?
6 (FJ)Ffenna twafuuka batali balongoofu
era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu[d].
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7 (FK)Tewali n’omu akoowoola linnya lyo
oba eyewaliriza okukukwatako,
kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,
era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
8 (FL)Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 (FM)Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,
tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.
Weewaawo, tutunuulire, tusaba,
kubanga tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 (FN)Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa
bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,
era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 (FO)Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?
Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?
Omusango n’Obulokozi
65 (FP)Mukama n’alyoka agamba nti,
“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 (FQ)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 (FR)abantu bulijjo
abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
4 (FS)abatuula mu malaalo
ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 (FT)Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
omuliro ogwaka olunaku lwonna.
6 (FU)“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 (FV)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama:
“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu
abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,
gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.
Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 (FW)Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo
era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;
abantu bange abalonde balizigabana,
era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 (FX)Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
olw’abantu bange abannoonya.
11 (FY)“Naye mmwe abava ku Mukama
ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu
ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,
ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
12 (FZ)ndibawaayo eri ekitala
era mwenna mukutaamirire musalibwe,
kubanga nabayita naye temwayitaba,
nayogera naye temwampuliriza.
Mwakola ebitasaana
era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 (GA)Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 (GB)Abaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 (GC)Ekikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 (GD)Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa
anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima
buli anaalayiranga mu ggwanga
anaalayiranga Katonda ow’amazima.
Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa
gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Eggulu Epya n’Ensi Empya
17 (GE)“Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 (GF)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 (GG)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
20 (GH)“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
anaaberawo ennaku obunaku,
oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 (GI)Balizimba ennyumba bazisulemu,
balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 (GJ)Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
emirimu gy’emikono gyabwe.
23 (GK)Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 (GL)Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 (GM)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
era empologoma erye omuddo ng’ennume,
era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
66 (GN)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
2 (GO)Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
noolwekyo ebintu bino byonna byange?”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ono ye muntu gwe ntunulako;
oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,
oyo akankanira ekigambo kyange.
3 (GP)Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,
oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,
n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke
aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,
era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo
aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.
Abantu bakutte amakubo gaabwe,
era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.
4 (GQ)Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,
mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.
Kubanga bwe nayita,
teri n’omu yayanukula,
bwe nnaayogera
tebanfaako.
Bakola ebibi mu maaso gange
ne bagoberera ebitansanyusa.”
5 (GR)Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda
mmwe abakankanira ekigambo kye.
“Baganda bammwe abatabaagala
era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,
‘Leka Mukama alage obukulu bwe
abalokole tulabe bwe musanyuka!’
Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.
6 (GS)Muwulirize.
Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.
Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be
nga bwe kibagwanira.
7 (GT)“Ekibuga kyange ekitukuvu
kiri ng’omukazi azaala
nga tannatuusa kulumwa,
obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi.
8 (GU)Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?
Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo?
Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu
oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera?
Akaseera katono bwe kati,
Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.
9 (GV)Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa
ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ate olubuto ndusiba ntya
nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.
10 (GW)“Mujagulize wamu ne Yerusaalemi
era mumusanyukireko mwenna abamwagala,
mujaganye nnyo
mmwe mwenna abamukaabira.
11 (GX)Kubanga muliyonka
munywe n’essanyu
mukkutire ddala
ku kitiibwa kye ekingi.”
12 (GY)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,
obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.
Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi
era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.
13 (GZ)Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,
bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi
mu Yerusaalemi.”
14 (HA)Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,
era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.
Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be,
ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.
15 (HB)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
16 (HC)Omuliro n’ekitala
Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.
17 (HD)“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.