Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 25-41

Birudaadi Addamu

25 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

(A)“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
    ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
(B)Amaggye ge gasobola okubalibwa?
    Ani atayakirwa musana gwe?
(C)Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
    Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
(D)Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
    n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
(E)Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,
    omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

Yobu Ayanukula

26 Awo Yobu n’addamu nti,

(F)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
    Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
    Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
    Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

(G)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
    n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
(H)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
    n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
(I)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
    awanika ensi awatali kigiwanirira.
(J)Asiba amazzi mu bire bye;
    ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
(K)Abikka obwenyi bw’omwezi,
    agwanjululizaako ebire bye.
10 (L)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
    ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
    zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (M)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
    n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (N)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
    omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (O)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
    Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
    Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”

27 (P)Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,

(Q)“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,
    oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
(R)gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,
    omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
(S)emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,
    era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
(T)Sirikkiriza nti muli batuufu;
    okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
(U)Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;
    omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.

“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,
    n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
(V)Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,
    nga Katonda amuggyeko obulamu?
(W)Katonda awulira okukaaba kwe
    ng’ennaku emujjidde?
10 (X)Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?
    Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
11 Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;
    ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
12 Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,
    lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?

Empeera y’abakozi b’ebibi

13 (Y)“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi,
    omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
14 (Z)Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala;
    ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
15 (AA)Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa,
    ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16 (AB)Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu,
    n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
17 (AC)ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,
    era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
18 (AD)Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo;
    ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
19 (AE)Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo,
    kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
20 (AF)Entiisa erimuzingako ng’amataba;
    kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
21 (AG)Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda;
    emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
22 (AH)Emukuba awatali kusaasira,
    ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
23 (AI)Erimukubira engalo zaayo,
    n’emusiiya okuva mu kifo kye.”
28 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
    n’ekifo gye balongooseza effeeza.
(AJ)Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
    n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
(AK)Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
    asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
    mu bifo eteyita bantu,
    ewala okuva abantu gye bayita.
(AL)Ensi evaamu emmere,
    naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
Safira eva mu mayinja gaayo,
    era enfuufu yaayo erimu zaabu.
Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
    wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
    tewali mpologoma yali eyiseeyo.
Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
    n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Asima ensalosalo ku njazi;
    n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11 Anoonya wansi mu migga,
    n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.

12 (AM)“Naye amagezi gasangibwa wa?
    Okutegeera kuva wa?
13 (AN)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
    tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
    ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 (AO)Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
    wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
    mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 (AP)Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
    so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 (AQ)Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
    omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 (AR)Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
    tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

20 (AS)“Kale amagezi gava ludda wa?
    N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
    era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 (AT)Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
    ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 (AU)Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
    era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 (AV)kubanga alaba enkomerero y’ensi
    era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 (AW)Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
    n’apima n’amazzi,
26 (AX)bwe yateekera enkuba etteeka
    era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
    n’agateekawo, n’agagezesa.
28 (AY)N’agamba omuntu nti,
    ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
    n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”

29 (AZ)Yobu n’ayongera okwogera nti,

(BA)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
    ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
(BB)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
    n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
(BC)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
    omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
    n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
(BD)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
    n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

(BE)“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
    ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
    abakadde ne basituka ne bayimirira;
(BF)abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
    ne bakwata ne ku mimwa;
10 (BG)ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
    ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,
    era n’abo abandabanga nga basiima
12 (BH)kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
    n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 (BI)Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
    ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 (BJ)Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
    obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 (BK)Nnali maaso g’abamuzibe
    era ebigere by’abalema.
16 (BL)Nnali kitaawe w’abanaku,
    ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 (BM)Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
    ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

18 (BN)“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange
    nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 (BO)Omulandira gwange gulituuka mu mazzi,
    era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 (BP)Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,
    n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ 

21 “Abantu beesunganga okumpuliriza,
    nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 (BQ)Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,
    ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’enkuba
    ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
    ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 (BR)Nabasalirangawo eky’okukola,
    ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;
    nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”
30 (BS)“Naye kaakano bansekerera;
    abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
    wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
    Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
    bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
    enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
    ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
    mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
    ne beekweka mu bikoola by’emiti.
Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
    baagobebwa mu nsi.
(BT)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
    nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (BU)abatanjagala abanneesalako,
    banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 (BV)Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
    beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 (BW)Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
    bategera ebigere byange emitego,
    ne baziba amakubo banzikirize.
13 (BX)Banzingiza
    ne banzikiriza,
    nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
    bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 (BY)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
    ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
    era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”

Okubonaabona kwa Yobu

16 (BZ)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
    ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
    era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
    n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (CA)Ansuula mu bitosi,
    ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.

20 (CB)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
    nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (CC)Onkyukira n’obusungu;
    onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (CD)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
    n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (CE)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
    mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.

24 (CF)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
    ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (CG)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
    Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (CH)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
    bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (CI)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
    ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (CJ)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
    nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (CK)Nfuuse muganda w’ebibe,
    munne w’ebiwuugulu.
30 (CL)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
    n’omubiri gwange gwokerera.
31 (CM)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
    n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”

Obutukuvu bwa Yobu

31 (CN)“Nakola endagaano n’amaaso gange;
    obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
(CO)Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,
    omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
(CP)Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,
    n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
(CQ)Amakubo gange gonna tagalaba,
    era tamanyi ntambula yange?
(CR)Obanga natambulira mu bulimba
    era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
(CS)leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda
    amanye obutuukirivu bwange.
(CT)Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,
    n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,
    engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
(CU)kale nsige, omulala abirye,
    weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
(CV)Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
    oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10 (CW)kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
    n’abasajja abalala beebake naye.
11 (CX)Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
    ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12 (CY)Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,
    ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”

Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo

13 (CZ)“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,
    bwe banninaako ensonga,
14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
    Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
15 (DA)Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?
    Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?

16 (DB)“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
    era obanga nakaabya nnamwandu;
17 (DC)obanga nnali ndidde akamere kange nzekka
    atalina kitaawe n’atalyako,
18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
    era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19 (DD)Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
    oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
    olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21 (DE)obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
    kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22 (DF)kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
    leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23 (DG)Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
    nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.

24 (DH)“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
    oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25 (DI)obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
    oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26 (DJ)obanga nnali ntunuulidde enjuba,
    oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27 omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
    ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28 (DK)era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
    olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”

Abalabe n’abagwira Okubassaako Omwoyo

29 (DL)“Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana
    oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,
30 sakkiriza kamwa kange kwonoona
    nga nkolimira obulamu bwe.
31 (DM)Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,
    ‘Ani atakkuse nnyama?’
32 (DN)Tewali mutambuze yasula ku kkubo,
    kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
33 (DO)Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,
    nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
34 (DP)olw’okutya ekibiina,
    nga ntya okuswala mu kika,
    ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
35 (DQ)so nga waliwo ayinza okumpulira,
    leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;
    n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.

36 “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,
    nandibyambadde ku mutwe ng’engule.
37 (DR)Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,
    nandimusemberedde ng’omulangira.

38 (DS)“Singa ettaka lyange linkaabirira,
    n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;
39 (DT)obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,
    era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
40 (DU)leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,
    n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”

Ebigambo bya Yobu byakoma wano.

Eriku Ayogera

32 (DV)Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. (DW)Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.

(DX)Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,

“Nze ndi muto mu myaka,
    mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
    okubabuulira kye ndowooza.
Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
    n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
(DY)Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
    nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
(DZ)Abakadde si be bokka abalina amagezi,
    wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.

10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
    nange mbabuulire kye mmanyi.
11 Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
    nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
12 Nabawulirizza bulungi.
Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;
    tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
13 (EA)Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
    muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
14 Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
    era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.

15 “Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
    ebigambo bibaweddeko.
16 Kaakano nsirike busirisi,
    nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
17 Nange nnina eky’okwogera,
    era nnaayogera kye mmanyi,
18 kubanga nzijjudde ebigambo,
    era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
    ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
    nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 (EB)Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
    era sijja na kuwaana muntu yenna.
22 Kubanga singa mpaaniriza,
    Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
33 (EC)“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
    ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
    ebigambo byange bindi ku lulimi.
(ED)Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
    olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
(EE)Omwoyo wa Katonda ye yankola,
    era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
(EF)Onnyanukule nno bw’oba osobola,
    teekateeka ebigambo byo onjolekere.
(EG)Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
    Nange nava mu bbumba.
(EH)Tobaako ky’otya,
    sijja kukunyigiriza.
Ddala ddala oyogedde mpulira,
    ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
(EI)Ndi mulongoofu sirina kibi,
    siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 (EJ)Kyokka Katonda anteekako omusango,
    anfudde omulabe we.
11 (EK)Asiba ebigere byange mu nvuba,
    antwala okuba omulabe we.

12 (EL)“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
    Katonda asinga omuntu.
13 (EM)Lwaki omwemulugunyiza nti,
    taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 (EN)Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
    wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 (EO)Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
    ng’otulo tungi tukutte abantu
    nga beebase ku bitanda byabwe,
16 (EP)aggula amatu g’abantu,
    n’abalabula n’ebyekango,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
    n’amalala,
18 (EQ)aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
    n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.

19 (ER)“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
    n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 (ES)obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
    emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 (ET)Omubiri gwe gugwako ku magumba,
    n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 (EU)emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
    obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 (EV)Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
    amuwolereza, omu ku lukumi,
    okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 (EW)yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
    ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
    mmusasulidde omutango,’
25 (EX)omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
    era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 (EY)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
    Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
    Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (EZ)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
    Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
    naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (FA)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
    kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

29 (FB)“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
    emirundi ebiri oba esatu,
30 (FC)okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
    ekitangaala eky’obulamu kimwakire.

31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
    siriikirira nkubuulire.
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
    yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 (FD)Bwe kitaba kityo, mpuliriza;
    sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”

34 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
    mumpulirize mmwe abayivu.
(FE)Kubanga okutu kugezesa ebigambo
    ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
(FF)Leka twesalirewo ekituufu;
    muleke tulondewo ekisaanidde.

(FG)“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
    naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
(FH)Wadde nga ndi mutuufu,
    ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
    akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
(FI)Musajja ki ali nga Yobu,
    anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
(FJ)Atambula n’abakozi b’ebibi,
    mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
(FK)Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
    bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10 (FL)Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
    Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
    wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11 (FM)Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
    n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12 (FN)Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
    Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13 (FO)Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
    Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14 (FP)Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
    awamu n’omukka gwe,
15 (FQ)abantu bonna bandizikiriridde wamu,
    era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.

16 “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
    wuliriza kye ŋŋamba.
17 (FR)Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
    Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18 (FS)Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
    n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19 (FT)atattira balangira ku liiso
    era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
    kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20 (FU)Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
    Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
    Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.

21 (FV)“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
    atunuulira buli kigere kye batambula.
22 (FW)Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
    ababi gye bayinza okwekweka.
23 (FX)Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
    okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24 (FY)Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
    n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25 Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
    abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26 Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
    abantu bonna nga balaba,
27 (FZ)kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
    ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28 (GA)Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
    era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29 Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
    Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30     (GB)aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
    aleme okutega abantu emitego.

31 “Singa omuntu agamba Katonda nti,
    gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32 (GC)kye sitegeera kinjigirize,
    bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33 (GD)olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
    akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
    noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.

34 “Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
    abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35 (GE)‘Yobu ayogeza butamanya
    ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36 (GF)Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
    olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37 (GG)Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
    n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
    n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”

35 Eriku n’ayongera okwogera nti,

“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
    Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
(GH)Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
    Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

“Nandyagadde okukuddamu
    ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
(GI)Tunula eri eggulu olabe;
    tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
(GJ)Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
    Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
(GK)Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
    oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
    era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
(GL)Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
    balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 (GM)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
    atuwa ennyimba ekiro,
11 (GN)atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
    era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 (GO)Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
    n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 (GP)Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
    Ayinzabyonna takufaako.
14 (GQ)Kale kiba kitya
    bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
    era oteekwa okumulindirira;
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
    era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 (GR)Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
    obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”

36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
    nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
(GS)Amagezi ge nnina gava wala,
    era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
(GT)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
    oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

(GU)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
    w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
(GV)Talamya bakozi ba bibi,
    era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
(GW)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
    abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
    n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
(GX)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
    nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
(GY)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
    nti, beewaggudde,
10 (GZ)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
    n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (HA)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
    ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
    era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (HB)Naye bwe batamugondera,
    baalizikirizibwa n’ekitala,
    bafe nga tebalina magezi.

13 (HC)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
    Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (HD)Bafiira mu buvubuka bwabwe
    era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
    n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

16 (HE)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
    akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
    omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 (HF)Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
    okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 (HG)Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
    obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo
    oba okufuba kwo kwonna
    binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 (HH)Teweegomba budde bwa kiro
    olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 (HI)Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
    by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.

22 (HJ)“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
    ani ayigiriza nga ye?
23 (HK)Ani eyali amukubidde amakubo,
    oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 (HL)Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
    abantu gye bayimba mu nnyimba.
25 Abantu bonna baagiraba,
    omuntu agirengerera wala.
26 (HM)Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
    obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.

27 (HN)“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
    agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 (HO)ebire bivaamu amazzi gaabyo,
    enkuba n’ekuba abantu.
29 (HP)Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
    okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30 Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
    era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 (HQ)Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
    n’agawa emmere mu bungi.
32 (HR)Emikono gye agijjuza eraddu,
    n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33 Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
    n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
37 “Kino kikankanya omutima gwange,
    ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
(HS)Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,
    n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,
    n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,
    abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,
era eddoboozi lye bwe liwulirwa,
    tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
(HT)Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;
    akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
(HU)Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’
    ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
(HV)Emirimu gya buli muntu giyimirira,
    buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
(HW)Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,
    ne zigenda zeekukuma.
Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,
    n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10 (HX)Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda
    n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
11 (HY)Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,
    n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
12 (HZ)Byetooloolatooloola nga y’abiragira,
    ne bituukiriza byonna by’abiragira,
    ku nsi yonna okubeera abantu.
13 (IA)Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
    oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.

14 “Wuliriza kino Yobu;
    sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
15 Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,
    n’aleetera eggulu okumyansa?
16 (IB)Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,
amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
17 Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,
    ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
18 (IC)oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,
    eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?

19 “Tubuulire kye tunaamugamba;
    tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
20 Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?
    Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
21 Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,
    olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,
    ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
22 Mu bukiikakkono evaayo zaabu;
    Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
23 (ID)Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,
    mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
24 (IE)Noolwekyo abantu bamutya,
    takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”

Mukama Ayogera

38 (IF)Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,

(IG)“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
    n’ebigambo ebitaliimu magezi?
(IH)Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
    mbeeko bye nkubuuza
    naawe onziremu.

(II)“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
    Mbuulira bw’oba otegeera.
(IJ)Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
    Oba ani eyagipima n’olukoba?
(IK)Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
    era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
(IL)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
    bwe yava mu lubuto lwayo?

“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
    ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 (IM)bwe n’abiteekerawo we bikoma
    ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 (IN)bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
    era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?

12 “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
    oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13 (IO)eryoke ekwate ensi w’ekoma
    eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14 Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
    ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15 (IP)Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
    n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.

16 (IQ)“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
    oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
17 (IR)Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
    Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
18 (IS)Wali otegedde obugazi bw’ensi?
    Byogere, oba bino byonna obimanyi.

19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
    N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 (IT)Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
    Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 (IU)Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
    kubanga wali wazaalibwa dda!

22 (IV)“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
    oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 (IW)Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
    bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
    oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 (IX)Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
    oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 (IY)Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
    eddungu omutali muntu yenna,
27 (IZ)n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
    n’okulimezaako omuddo?
28 (JA)Enkuba erina kitaawe waayo?
    Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 (JB)Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
    Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 (JC)amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
    ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?

31 (JD)“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
    oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
    oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 (JE)Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
    Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?

34 (JF)“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
    olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 (JG)Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
    Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 (JH)Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
    oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
    Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
    era amafunfugu ne geegattira ddala?

39 (JI)“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,
    oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,
40 (JJ)bwe zeezinga mu mpuku zaazo,
    oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
41 (JK)Ani awa namuŋŋoona emmere,
    abaana baayo bwe bakaabirira Katonda,
    nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”
39 (JL)“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?
    Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?
    Omanyi obudde mwe zizaalira?
Zikutama ne zizaala abaana baazo,
    ne ziwona obulumi bw’okuzaala.
Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,
    batambula ne bagenda obutadda.

(JM)“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?
    Ani eyasumulula emiguwa gyayo,
(JN)gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,
    n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?
(JO)Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga,
    tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.
Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,
    ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.

(JP)“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,
    n’esula ekiro mu kisibo kyo?
10 Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?
    Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.
11 Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?
    Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
12 Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,
    oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?

13 “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,
    naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.
14 Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,
    n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,
15 ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,
    era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.
16 (JQ)Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo
    gy’obeera nti, yazaalira bwereere.
17 (JR)Kubanga Katonda teyagiwa magezi
    wadde okutegeera.
18 Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke
    esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.

19 “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,
    oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
20 (JS)Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige
    n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
21 (JT)Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,
    n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.
22 Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.
    Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.
23 Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,
    awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.
24 (JU)Mu busungu obungi emira ettaka,
    tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.
25 (JV)Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’
    N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala,
    n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.

26 “Amagezi go ge gabuusa kamunye,
    n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?
27 (JW)Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,
    era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?
28 Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,
    ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
29 (JX)Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,
    eriiso lyayo ligulengerera wala.
30 (JY)Obwana bwayo bunywa omusaayi,
    era awali emirambo w’ebeera.”

40 (JZ)Awo Mukama n’agamba Yobu nti,

“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
    Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”

Awo Yobu n’addamu Mukama nti,

(KA)“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
    Emimwa kangibikkeko n’engalo.
(KB)Njogedde omulundi gumu, so siddemu;
    weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”

(KC)Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,

(KD)“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
    Ka nkubuuze,
    naawe onziremu.

(KE)“Onojjulula ensala yange ey’emisango;
    ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
(KF)Olina omukono ng’ogwa Katonda,
    eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10 (KG)Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
    weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11 (KH)Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
    otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 (KI)Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
    era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13 Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
    emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14 (KJ)Nange kennyini ndyoke nzikirize,
    ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”

Amaanyi g’envubu

15 “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
    kye natonda nga ggwe,
    erya omuddo ng’ente,
16 nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
    amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17 Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
    Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18 Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
    amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19 (KK)Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
    ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20 (KL)Weewaawo ensozi zikireetera emmere,
    eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21 Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
    ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22 (KM)Ebisiikirize by’emiti bikibikkako,
    emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23 Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
    kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24 (KN)Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,
    oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”

Amaanyi ga Lukwata

41 (KO)“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo,
    oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
(KP)Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo,
    oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa?
    Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
(KQ)Eneekola naawe endagaano
    ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi,
    oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
Abasuubuzi banaagiramuza,
    oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo,
    oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira,
    toliddayo kukikola!
Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu,
    okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
10 (KR)Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga.
    Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
11 (KS)Ani alina kye yali ampoze musasule?
    Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.

12 “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike,
    amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
13 Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu?
    Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
14 Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo?
    Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
15 Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo
    ezisibiddwa okumukumu.
16 Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
17     Zakwatagana,
    ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
18 (KT)Bw’eyasimula, ebimyanso bijja,
    n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka.
    Kavaamu ensasi ez’omuliro.
20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka
    ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
21 (KU)Omukka oguva mu nnyindo zaayo
    gukoleeza Amanda.
22 Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi,
    n’entiisa eri mu maaso gaayo.
23 Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse;
    gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
24 Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi,
    kigumu ng’olubengo.
25 Bwesituka ab’amaanyi batya.
    Badduka olw’okubwatuka kwayo.
26 Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako,
    oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
27 Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro,
    ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa,
    amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
29 Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri.
    Esekerera amafumu agakasukibwa.
30 (KV)Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa.
    Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
31 Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera.
    Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
32 Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru;
    ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
33 (KW)Tewali kigyenkana ku nsi;
    ekitonde ekitatya.
34 (KX)Enyooma buli kisolo.
    Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.