Bible in 90 Days
Ensalo ez’ensi
13 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri, ng’ekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri. 14 (B)Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe.
15 (C)“Ensalo z’ensi eyo ziriba bwe ziti:
“Ku luuyi olw’Obukiikakkono, eriva ku Nnyanja Ennene ku mabbali g’ekkubo ery’e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, ng’ogenda e Zedadi, 16 (D)Berosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani. 17 (E)Era ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono.
18 Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba.
19 (F)Ku luuyi olw’Obukiikaddyo eriva e Tamali okutuukira ddala ku mazzi ag’e Meribosukadesi, ne ku kagga ak’e Misiri okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikaddyo.
20 (G)Ku luuyi olw’ebugwanjuba, Ennyanja Ennene, ye Meditereeniya y’eriba ensalo okutuuka awayolekera awayingirirwa e Kamasi, era eyo y’eriba ensalo ey’Ebugwanjuba.
21 “Muligabana ensi eno ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. 22 (H)Muligigabana ng’omugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ng’abazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri. 23 Era mu buli kika munnaggwanga mw’anaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Okugabana kw’Ettaka
48 (I)“Gano ge mannya g’ebika:
“Ku nsalo ey’Obukiikakkono, okuva ku nnyanja n’okuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi n’okutuuka Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ku luuyi olw’Obukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani.
2 (J)N’okuliraana Ddaani okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri.
3 (K)N’okuliraana Aseri okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Nafutaali.
4 (L)N’okuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase.
5 (M)N’okuliraana Manase okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Efulayimu.
6 (N)N’okuliraana Efulayimu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Lewubeeni.
7 (O)N’okuliraana Lewubeeni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Yuda.
8 (P)“Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu.
9 (Q)“Omugabo ogw’enjawulo gwe muligabira Mukama guliba obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. 10 (R)Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama. 11 (S)Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako. 12 Kiriba kirabo kyabwe eky’enjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu ky’Abaleevi.
13 (T)“Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. 14 (U)Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka eby’omu nsi kubanga kitukuvu eri Mukama.
15 “Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo, 16 (V)era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu. 17 Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga. 18 (W)Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga. 19 Abakola mu kibuga baliva mu bika byonna ebya Isirayiri. 20 Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu n’obugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo eky’enjawulo eky’omugabo omutukuvu, awamu n’ettaka ly’ekibuga.
21 (X)“Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo. 22 Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga biriba wakati mu kitundu ky’omulangira. Ekifo ky’omulangira kiriba wakati w’ensalo ya Yuda n’ensalo ya Benyamini.
23 (Y)“N’ebika ebirala birigabana bwe biti:
“Okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
24 (Z)N’okuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni.
25 (AA)N’okuliraana ensalo ya Simyoni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Isakaali.
26 (AB)N’okuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni.
27 (AC)N’okuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi.
28 (AD)N’okuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olw’Obukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali n’etuuka ku mazzi ag’e Meribasukadeesi, n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani.
29 “Obwo bwe butaka bw’oligabanya ng’omugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Emiryango egy’Ekibuga
30 “Gino gye giriba emiryango egy’ekibuga egifulumirwamu:
“Okuva ku luuyi olw’Obukiikakkono, obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, 31 emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi.
32 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani.
33 Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni.
34 Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali.
35 (AE)“Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu.
“N’erinnya ly’ekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: ‘Mukama Katonda ali omwo.’ ”
Okutendekebwa kwa Danyeri mu Babulooni
1 (AF)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba Yerusaalemi. 2 (AG)Mukama n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n’ebintu ebimu eby’omu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza n’abiggyamu n’abitwala e Babulooni n’abiteeka mu ggwanika ery’omu ssabo lya lubaale we.
3 (AH)Nebukadduneeza n’alagira Asupenaazi omukulu w’abalaawe be alonde mu Bayisirayiri ab’omu lulyo olulangira, ne mu bakungu, 4 abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu by’amagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obw’okubayigirizanga amagezi g’Abakaludaaya, n’olulimi lwabwe. 5 (AI)Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.
6 (AJ)Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya. 7 (AK)Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.
8 (AL)Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa. 9 (AM)Mu biro ebyo Katonda n’akozesa Asupenaazi okulaga ekisa n’okusaasira eri Danyeri. 10 Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.” 11 Awo Danyeri n’agamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti, 12 “Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa n’amazzi ag’okunywa. 13 N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.” 14 N’akkiriziganya nabo ku nsonga eyo, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 15 (AN)Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka. 16 (AO)Awo omusigire n’alekayo okubawa emmere yaabwe ey’enjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, n’abawa enva endiirwa.
17 (AP)Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
18 (AQ)Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza. 19 (AR)Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka. 20 (AS)Buli nsonga ey’amagezi n’ey’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo n’abafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.
21 (AT)Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.
Ekirooto kya Nebukadduneeza
2 (AU)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’aloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, n’otulo ne tumubula. 2 (AV)Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka. 3 (AW)N’abagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze n’amakulu gaakyo.”
4 (AX)Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”
5 (AY)Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe. 6 (AZ)Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”
7 Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”
8 Awo kabaka n’addamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola, 9 (BA)era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”
10 (BB)Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo. 11 (BC)Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”
12 (BD)Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa. 13 (BE)Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.
14 Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba, 15 n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo. 16 Awo Danyeri n’alaga eri kabaka, n’asaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu g’ekirooto.
17 (BF)Awo Danyeri n’addayo ewuwe, n’ategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya, 18 (BG)n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni. 19 (BH)Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu. 20 (BI)N’ayogera nti,
“Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,
kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
21 (BJ)Ategeera ebiseera n’ebiro;
assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka;
awa amagezi abagezigezi,
era n’okumanyisa abo abategeevu.
22 (BK)Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;
amanyi ebifa mu nzikiza,
n’ekitangaala kibeera naye.
23 (BL)Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”
Danyeri Ategeeza Amakulu ag’Ekirooto
24 (BM)Awo Danyeri n’alaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, n’amugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu g’ekirooto kye.”
25 (BN)Amangwago, Aliyooki n’atwala Danyeri eri kabaka, n’ategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu g’ekirooto kye.”
26 (BO)Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”
27 (BP)Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. 28 (BQ)Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.
29 “Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo. 30 (BR)Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.
31 (BS)“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa. 32 Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza, n’olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo, 33 n’amagulu gaakyo nga ga kyuma. N’ebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, n’ekitundu ekirala nga kya bbumba. 34 (BT)Awo bwe wali ng’okyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo eby’ekyuma n’ebbumba, ne libyasaayasa. 35 (BU)Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.
36 “Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo. 37 (BV)Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa; 38 (BW)era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.
39 “Bw’olivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. N’oluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna. 40 (BX)Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. 41 Nga bwe walaba ebigere n’obugere ekitundu nga kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala n’amaanyi ag’ekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. 42 Ng’obugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma n’ekitundu ekirala nga kya bbumba, n’obwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga ky’amaanyi n’ekitundu ekirala nga kinafu. 43 Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo n’abantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ng’ekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.
44 (BY)“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna. 45 (BZ)Gano ge makulu ag’okwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu.
“Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso. Ekirooto kituufu n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
46 (CA)Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri n’amuwa ekitiibwa, n’alagira okuwaayo obubaane n’ebiweebwayo eri Danyeri. 47 (CB)Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”
48 (CC)Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni. 49 (CD)Awo Danyeri n’asaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka n’abafuula abakulembeze n’abawa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu ssaza ery’e Babulooni, Danyeri ye n’asigala awali kabaka.
Ekibumbe kya Zaabu n’Ekikoomi ky’Omuliro
3 (CE)Kabaka Nebukadduneeza n’abumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu n’obugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, n’alagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ly’e Babulooni. 2 (CF)N’atumya abaamasaza, n’abaamagombolola, n’abemiruka, n’abawi b’amagezi, n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, bajje ku mukolo ogw’okuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 3 Awo abaamasaza, n’abafuzi, n’abamateeka, n’abawi b’amagezi n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, ne bakuŋŋaana ku mukolo ogw’okuwonga ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
4 (CG)Awo omulanzi n’ayogerera waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, n’amawanga, n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, 5 (CH)bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 6 (CI)Omuntu yenna atalivuunama n’akisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
7 (CJ)Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, amawanga gonna n’ensi n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
8 (CK)Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya. 9 (CL)Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka! 10 (CM)Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, ateekwa okuvuunama n’asinza ekifaananyi kya zaabu, 11 era buli atalivuunama n’akisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 12 (CN)Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ez’essaza ery’e Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
13 (CO)Awo Nebukadduneeza n’asunguwala nnyo n’alagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gy’ali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka. 14 (CP)Nebukadduneeza n’ababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa? 15 (CQ)Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, mwetegeke okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.” 16 (CR)Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo. 17 (CS)Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka. 18 (CT)Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
19 (CU)Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’amaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ng’ajjudde obuswandi. N’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. 20 N’alagira abamu ku baserikale be ab’amaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’oluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. 21 Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe eby’ekitiibwa, ne seruwale zaabwe, n’eminagiro gyabwe n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 22 (CV)Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. 23 Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24 Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?”
Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
25 N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
26 (CW)Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”
Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27 (CX)Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
28 (CY)Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. 29 (CZ)Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
30 (DA)Awo kabaka n’akuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza ery’e Babulooni.
Ekirooto kya Nebukadduneeza eky’Omuti
4 (DB)Kabaka Nebukadduneeza n’alangirira eri abantu, n’amawanga n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bw’ati nti:
Emirembe gibeere nammwe!
2 (DC)Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo eby’amagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.
3 (DD)Obubonero bwe nga bukulu,
n’eby’amagero bye nga byewuunyisa!
Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe;
N’okufuga kwe tekuliggwaawo.
4 (DE)Nze Nebukadduneeza, nnali mpumulidde mu maka gange wakati mu bugagga nga mpumuliddeko mu lubiri lwange. 5 (DF)Ne ndoota ekirooto ekyantiisa; bwe nnali nga ngalamidde ku kitanda kyange, ne ndaba ebifaananyi mu kwolesebwa, ebyantiisa. 6 (DG)Kyennava ndagira abasajja bonna abagezigezi ab’e Babulooni baleetebwe mu maaso gange bantegeeze amakulu g’ekirooto. 7 (DH)Abalogo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo. 8 (DI)Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.
9 (DJ)Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo. 10 (DK)Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini. 11 Omuti ne gukula ne guba gwa maanyi, n’entikko yaagwo n’etuuka ku ggulu era nga gulengerwa okuva ku nkomerero y’ensi zonna. 12 (DL)Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.
13 (DM)“Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa, ne ndaba omubaka omutukuvu ng’ava mu ggulu. 14 (DN)N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Tema omuti, otemeko n’amatabi gaagwo; okunkumule amalagala gaagwo, osaasaanye n’ebibala byagwo, n’ennyonyi zibuuke zive ku matabi gaagwo. 15 Naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omuto ku ttale.
“ ‘Muleke abisiwale n’omusulo ogw’omu ggulu, era muleke agabanire wamu omuddo, n’ensolo ez’omu nsiko. 16 (DO)Era n’amagezi ge ag’obuntu gakyusibwe, afuuke ng’ensolo enkambwe ey’omu nsiko okumala emyaka musanvu.
17 (DP)“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’asiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’
18 (DQ)“Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadduneeza kye naloose. Kaakano ggwe Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo kubanga tewali n’omu ku basajja abagezigezi mu bwakabaka bwange ayinza okuntegeeza amakulu gaakyo. Naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.”
Danyeri Avvuunula Ekirooto
19 (DR)Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.”
Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo! 20 Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwa maanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna, 21 ogwaliko amalagala amalungi n’ebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko n’emmere emala bonna, nga n’ensolo ez’omu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga n’ennyonyi ez’omu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo, 22 (DS)ye ggwe, ayi kabaka! Okuze n’oba mukulu era n’oba w’amaanyi; n’obukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, n’obuyinza bwo butuuse ku nkomerero y’ensi.
23 (DT)“Ggwe ayi kabaka walabye omubaka, era omutukuvu ng’akka okuva mu ggulu, n’ayogera nti, ‘Tema omuti oguzikirize, naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka ng’okisibye n’ekyuma n’ekikomo mu muddo omuto ogw’oku ttale; era muleke abisiwazibwe omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeere n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, emyaka musanvu.’
24 (DU)“Gano ge makulu, ayi kabaka, era lino lye tteeka Oyo Ali Waggulu Ennyo ly’alangiriridde mukama wange kabaka. 25 (DV)Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera n’ensolo ez’omu nsiko; olirya omuddo ng’ente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abugabira buli gw’asiima. 26 (DW)Ekiragiro eky’okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olitegeera ng’eggulu lye lifuga. 27 (DX)Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole eby’obutuukirivu, era n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bw’oli kaakano.”
Ekirooto Kituukirira
28 (DY)Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza. 29 Bwe wayitawo emyezi kkumi n’ebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya k’olubiri lwe olwa Babulooni, 30 (DZ)n’ayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba n’amaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu eky’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange?”
31 Awo bwe yali ng’akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako. 32 Oligobebwa mu bantu era olibeera n’ensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu ennyo y’afuga obwakabaka obw’abantu era abuwa buli gw’asiima.”
33 (EA)Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. N’agobebwa mu bantu era n’alya omuddo ng’ente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ng’ebyoya by’empungu n’enjala ze ng’enjala z’ennyonyi.
34 (EB)Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe.
Okufuga kwe tekuliggwaawo,
n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
35 (EC)Abantu bonna ab’oku nsi
abalaba nga si kintu,
eggye ery’omu ggulu
n’abantu ab’oku nsi
abayisa nga bw’asiima.
Tewali ayinza okumuziyiza,
newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
36 (ED)Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, n’ekitiibwa n’obuyinza obw’obwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi b’amagezi bange n’abakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange ey’obwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina. 37 (EE)Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
Ekiwandiiko ku Kisenge
5 (EF)Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. 2 (EG)Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. 3 Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. 4 (EH)Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.
5 Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika. 6 (EI)Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.
7 (EJ)Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”
8 (EK)Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. 9 (EL)Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.
10 (EM)Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa. 11 (EN)Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 (EO)Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”
13 (EP)Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda? 14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu. 15 Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola. 16 Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”
17 (EQ)Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.
18 (ER)“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka; 19 (ES)era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga. 20 (ET)Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako. 21 (EU)N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.
22 (EV)“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya. 23 (EW)Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza. 24 Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.
25 “Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti:
Mene, Mene, Tekel, Ufarsin.
26 (EX)“N’amakulu gaabyo ge gano:
“Mene:[a] Katonda akendezezza ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.
27 (EY)“Tekel:[b] Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ng’obulako;
28 (EZ)“Peres:[c] Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.”
29 Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.
30 (FA)Ekiro ekyo Berusazza kabaka w’Abakaludaaya n’attibwa. 31 (FB)Daliyo Omumeedi n’alya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.
Danyeri asuulibwa mu Mpuku y’Empologoma
6 Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, 2 (FC)era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. 3 (FD)Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna. 4 Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu. 5 (FE)Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”
6 (FF)Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! 7 (FG)Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma. 8 (FH)Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”
9 Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe. 10 (FI)Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we. 12 (FJ)Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”
Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
13 (FK)Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” 14 (FL)Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.
15 (FM)Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”
16 (FN)Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”
17 (FO)Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. 18 (FP)Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.
19 Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma. 20 (FQ)Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”
21 (FR)Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. 22 (FS)Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”
23 (FT)Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.
24 (FU)Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
25 (FV)Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,
“Emirembe gibeere gye muli!
26 (FW)“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.
“Kubanga ye Katonda omulamu,
abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
n’okufuga kwe tekulikoma.
27 (FX)Alokola era awonya:
akola obubonero n’ebyamagero
mu ggulu ne ku nsi.
Yalokodde Danyeri
mu mannyo[d] g’empologoma.”
28 (FY)Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.
Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya
7 (FZ)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.
2 (GA)Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, 3 (GB)n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.
4 (GC)“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.
5 (GD)“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
6 (GE)“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.
7 (GF)“N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.
8 (GG)“Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.
9 (GH)“Era nga nkyali awo ne ndaba,
“entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,
n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,
n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.
Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,
ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
10 (GI)Omugga gw’omuliro nga gukulukuta,
nga gukulukutira awo mu maaso ge.
Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga,
n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge.
Okuwozesa emisango ne kutandika,
ebitabo ne bibikkulwa.
11 (GJ)“Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo eby’okwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa n’ettibwa, n’esuulibwa mu muliro, n’ezikirizibwa. 12 Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.
13 (GK)“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge. 14 (GL)N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
Amakulu g’Ekirooto
15 (GM)“Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza. 16 (GN)Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna.
“N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti, 17 ‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. 18 (GO)Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
19 “Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo. 20 Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo. 21 (GP)Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu ne lyagala okubawangula, 22 okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.
23 (GQ)“N’annyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ng’obwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta. 24 (GR)Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu. 25 (GS)Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.
26 “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n’obuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala. 27 (GT)N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
28 (GU)“Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”
Okwolesebwa kwa Danyeri okw’Endiga Ennume n’Embuzi Ennume
8 Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka. 2 (GV)Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi. 3 (GW)Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma. 4 (GX)Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.
5 Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka. 6 N’erumba n’obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga. 7 (GY)Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume. 8 (GZ)Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ez’omu ggulu.
9 (HA)Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’eri ensi ey’ekitalo ennungi. 10 (HB)Ne likula ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu, ne lisuula abamu ku b’eggye n’emmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira. 11 (HC)Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo. 12 Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.
13 (HD)Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”
14 (HE)N’aŋŋamba nti, “Okutuusa ng’ennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”
Amakulu g’Okwolesebwa
15 (HF)Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja. 16 (HG)Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.”
17 (HH)Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”
18 (HI)Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.
19 (HJ)N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero. 20 Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi. 21 (HK)N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye. 22 N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe.
23 “Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo. 24 (HL)Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 25 (HM)Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.
26 (HN)“Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”
27 (HO)Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.