Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 23:40-35:15

40 (A)“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi. 41 (B)Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange.

42 (C)“Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe. 43 (D)Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olw’obwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’ 44 Ne beebaka naye. Ng’abasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka n’abakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba. 45 (E)Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi.

46 (F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage. 47 (G)Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema n’ebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya n’ennyumba zaabwe.’ 

48 (H)“Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ng’ekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola. 49 (I)Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda.”

Entamu Efumba

24 (J)Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (K)“Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero. (L)Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,
    musseemu amazzi.
Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,
    ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.
Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,
    (M)mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,
Oteeke ebisiki wansi w’entamu,
    mweseze ebigirimu,
    era ofumbe n’amagumba agalimu.

(N)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,
    ggwe entamu eriko enziro,
    eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.
Gyamu ekifi kimu kimu
    awatali kukuba kalulu.

(O)“ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,
    yaguyiwa ku lwazi olwereere;
teyaguyiwa wansi
    enfuufu ereme okugubikka.
Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga
    n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,
    guleme okubikkibwako.

“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!
    Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
10 Mutuume ebisiki,
    mukume omuliro,
ennyama mugifumbe bulungi,
    mugiteekemu ebirungo,
    n’amagumba gasiriire.
11 (P)Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,
    okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,
ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,
    n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.
12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,
    kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,
    n’omuliro nagwo tegubyokeza.

13 (Q)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.

14 (R)“ ‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Mukazi wa Ezeekyeri Afa

15 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 16 (S)“Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba. 17 (T)Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”

18 Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.

19 (U)Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”

20 Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira n’aŋŋamba nti, 21 (V)Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala. 22 (W)Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe. 23 (X)Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku. 24 (Y)Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze Mukama Katonda.’

25 (Z)“Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe, 26 (AA)ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire. 27 (AB)Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”

Obunnabbi eri Amoni

25 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (AC)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi. (AD)Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, (AE)kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe. (AF)Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama. (AG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri, (AH)kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”

Obunnabbi ku Mowaabu

(AI)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,” (AJ)kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo. 10 (AK)Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga, 11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

Obunnabbi ku Edomu

12 (AL)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo, 13 (AM)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala. 14 (AN)Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Obunnabbi ku Bafirisuuti

15 (AO)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda, 16 (AP)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza. 17 Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ”

Obunnabbi ku Ttuulo

26 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (AQ)“Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ (AR)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. (AS)Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. (AT)Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze Mukama.

(AU)“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. (AV)Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. 10 (AW)Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. 11 (AX)Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. 12 (AY)Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. 13 (AZ)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. 14 (BA)Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.’ 

15 (BB)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? 16 (BC)Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. 17 (BD)Balikukungubagira ne bakugamba nti,

“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,
    ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.
Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,
    watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
18 (BE)Kaakano olubalama lw’ennyanja
    lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,
era n’ebizinga ebiri mu nnyanja
    bitidde olw’okugwa kwo.’

19 (BF)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, 20 (BG)kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. 21 (BH)Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.”

Okukungubagira Ttuulo

27 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. (BI)Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,
    “Natuukirira mu bulungi.”
Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,
    era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
(BJ)Baakola embaawo zo zonna
    mu miberosi gya Seniri,
ne baddira emivule egy’e Lebanooni
    ne bakolamu omulongooti.
(BK)Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,
    n’emmanga zo, bazikola mu nzo,
ez’oku bizinga ebya Kittimu,
    nga bazaaliiridde n’amasanga.
(BL)Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,
    era lyakozesebwanga ebendera;
n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu
    ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
(BM)Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,
    n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
(BN)Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
    era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
    nga bagula ebyamaguzi byo.

10 (BO)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
    baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
    ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
    be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
    nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
    era be baakulabisanga obulungi.

12 (BP)“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

13 (BQ)“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

14 (BR)“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

15 (BS)“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

16 (BT)“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

17 (BU)“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

18 (BV)“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

21 (BW)“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

22 (BX)“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

23 (BY)“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
    bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
    wakati mu nnyanja.
26 (BZ)Abakubi b’enkasi bakutwala
    awali amayengo amangi.
Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera
    wakati mu nnyanja.
27 (CA)Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
    n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
    n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
    wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 (CB)Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,
    kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 Abakubi b’enkasi bonna
    balyabulira ebyombo byabwe;
n’abagoba n’abalunnyanja bonna
    baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 (CC)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
    ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
    ne beevulunga mu vvu.
31 (CD)Balikumwera emitwe gyabwe,
    era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
    nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 (CE)Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe
    nga boogera nti,
Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo
    eyeetooloddwa ennyanja?
33 (CF)Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,
    amawanga mangi gamalibwanga;
era ne bakabaka b’ensi
    baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 (CG)Kaakano ennyanja ekumazeewo,
    mu buziba bw’amazzi;
ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo
    bonna babbidde naawe.
35 (CH)Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
    bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
    tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 (CI)Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;
    otuuse ku nkomerero embi,
    so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo

28 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (CJ)“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
    Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
    era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
    newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
(CK)Oli mugezi okusinga Danyeri?
    Tewali kyama kikukwekeddwa?
(CL)Mu magezi go ne mu kutegeera kwo
    weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
    n’obitereka mu mawanika go.
(CM)Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
    oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
    gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”

Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
    ng’oli mugezi nga katonda,
(CN)kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
    ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
    ne boonoona okumasamasa kwo.
(CO)Balikusuula mu bunnya
    n’ofiira eyo okufa okubi
    wakati mu gayanja.
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
    mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
    mu mikono gy’abo abakutta.
10 (CP)Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
    nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”

11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 (CQ)“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
    era nga watuukirira mu bulungi.
13 (CR)Wali mu Adeni,
    ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
    sadio, topazi, alimasi, berulo,
    onuku, yasipero, safiro,
    ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
    Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 (CS)Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
    nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
    n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
    okuva ku lunaku lwe watondebwa,
    okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 (CT)Mu bikolwa byo ebingi,
    wajjula empisa embi,
    era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
    mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
    okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 (CU)Omutima gwo gwalina amalala
    olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
    olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
    eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 (CV)Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
    oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
    ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
    wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 (CW)Amawanga gonna agaakumanya
    gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
    so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Obunnabbi eri Sidoni

20 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 21 (CX)“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, 22 (CY)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,
    era ndyegulumiza mu ggwe.
Balimanya nga nze Mukama
    bwe ndimubonereza,
    ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23 (CZ)Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa
    omusaayi mu nguudo ze.
Abafu baligwa wakati mu ye,
    ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.
Olwo balimanya nga nze Mukama.

24 (DA)“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.

25 (DB)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 26 (DC)Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”

Obunnabbi eri Misiri

29 (DD)Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (DE)“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. (DF)Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,
    ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,
ogwogera nti, “Kiyira wange,
    era nze nnamwekolera.”
(DG)Nditeeka amalobo mu mba zo,
    era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.
Ndikusikayo mu migga gyo
    ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
(DH)Ndikutwala mu ddungu,
    ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.
Oligwa ku ttale,
    so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.
Ndikuwaayo okuba emmere
    eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.

(DI)Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. (DJ)Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.

(DK)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. (DL)Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” 10 (DM)kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 11 (DN)Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12 (DO)Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

13 “ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14 (DP)era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15 (DQ)Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16 (DR)Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”

17 (DS)Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (DT)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19 (DU)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 (DV)Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.

21 (DW)“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe[b] ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”

Okukungubagira Misiri

30 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (DX)“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,
    “Zibasanze ku lunaku olwo”
(DY)kubanga olunaku luli kumpi,
    olunaku lwa Mukama luli kumpi,
olunaku olw’ebire
    eri bannaggwanga.
(DZ)Ekitala kirirumba Misiri,
    n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
    obugagga bwe bulitwalibwa
    n’emisingi gyayo girimenyebwa.’

(EA)Obuwesiyopya, ne Puuti[c], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.

(EB)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Abawagira Misiri baligwa,
    n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.
Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene
    baligwa n’ekitala,
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(EC)Balirekebwawo
    wakati mu nsi endala ezalekebwawo,
n’ebibuga byabwe
    biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
Olwo balimanya nga nze Mukama
    bwe ndikuma ku Misiri omuliro,
    n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.

(ED)“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.

10 (EE)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri
    nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
11 (EF)Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
    balireetebwa okuzikiriza ensi.
Baligyayo ebitala byabwe
    ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 (EG)Ndikaza emigga gya Kiyira,
    ne ntunda ensi eri abantu ababi;
nga nkozesa bannaggwanga,
    ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.

Nze Mukama nkyogedde.

13 (EH)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
    ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
    era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 (EI)Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
    ne Zowani ndikikumako omuliro
    ne mbonereza n’ab’omu No.
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
    ekigo kya Misiri eky’amaanyi,
    era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
    ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,
ne No balitwalibwa omuyaga,
    ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 (EJ)Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
    baligwa n’ekitala,
    n’ebibuga biriwambibwa.
18 (EK)Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
    bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,
    era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.
Alibikkibwa n’ebire
    era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
    bategeere nga nze Mukama.’ ”

20 (EL)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 21 (EM)“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 22 (EN)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 23 (EO)Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 24 (EP)Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 26 (EQ)Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni

31 (ER)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,

“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
(ES)Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
    nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
    nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
Amazzi gaaguliisanga,
    n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
    ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
    eri emiti gyonna egy’omu ttale.
(ET)Kyegwava gukula ne guwanvuwa
    okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,
n’amatabi gaagwo amanene
    ne geeyongera obunene,
n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa
    ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
(EU)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
    ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
    ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
    ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,
    n’amatabi gaagwo amanene,
kubanga emirandira gyagwo
    gyasima awali amazzi amangi.
(EV)Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda
    tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
    n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
    matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
    ogugwenkana mu bulungi.
(EW)Nagulungiya n’amatabi amangi,
    emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
    ne gigukwatirwa obuggya.

10 (EX)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 (EY)kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 (EZ)Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 13 (FA)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 14 (FB)Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.

15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 (FC)Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 (FD)Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.

18 (FE)“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.

“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Okukungubagira Falaawo

32 (FF)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (FG)“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:

“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
    ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
    era ng’otabangula amazzi,
    n’osiikuula n’emigga.

(FH)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
    ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
    era balikuvuba n’akatimba kange.
(FI)Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale,
    era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako,
n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya
    ne zikkusibwa.
(FJ)Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi,
    era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
(FK)Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo
    okutuukira ddala ku nsozi,
    era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
(FL)Bwe ndikusaanyaawo,
    ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
    okubaako ekizikiza;
Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.
    Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza;
    era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.
Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi,
    bwe ndikuzikiriza mu mawanga,
    ne mu nsi z’otomanyangako.
10 (FM)Amawanga mangi galijjula entiisa
    era bakabaka baabwe balisasamala,
    ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe.
Ku lunaku olw’okugwa kwo,
    buli omu ku bo alikankana,
    era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.

11 (FN)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni
    kirikutabaala.
12 (FO)Nditta enkuyanja y’abantu bo
    n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira,
    abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna.
Balimalawo amalala ga Misiri,
    n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa.
13 (FP)Ndizikiriza amagana ge gonna ag’ente
okuva awali amazzi amangi,
era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula
    newaakubadde ente okulinnyirirayo.
14 N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge,
    n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta,
    bw’ayogera Mukama Katonda.
15 (FQ)Bwe ndizisa ensi ey’e Misiri,
    ne ngiggyamu buli kantu akalimu,
ne nzita bonna ababeeramu,
    balimanya nga nze Mukama.’

16 (FR)“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera Mukama Katonda.

17 (FS)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (FT)“Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya. 19 (FU)Babuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’ 20 (FV)Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be. 21 (FW)Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’ 

22 “Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala. 23 (FX)Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.

24 (FY)“Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi. 25 Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.

26 (FZ)“Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. 27 Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu.

28 “Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu n’abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.

29 (GA)“Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.

30 (GB)“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.

31 (GC)“Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda. 32 Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Ezeekyeri Omukuumi wa Isirayiri

33 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nate n’aŋŋamba nti, (GD)“Omwana w’omuntu yogera eri abantu obategeeze nti, ‘Bwe ndirumba ensi n’ekitala, abantu ab’omu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe, (GE)n’alaba ekitala nga kijja eri ensi, n’afuuwa ekkondeere ng’alabula abantu, (GF)awo omuntu yenna bw’aliwulira ekkondeere n’atalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. Kubanga yawulira ekkondeere n’atalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe. (GG)Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bw’omu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.’

(GH)“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi ow’ennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule. (GI)Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe. (GJ)Naye bw’olabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, n’ajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo.

10 (GK)“Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’ 11 (GL)Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’

12 (GM)“Kale nno, omwana w’omuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obw’omutuukirivu tebulimuwonyesa bw’alijeema, era n’obutali butuukirivu bw’atalina butuukirivu tebulimuzikiriza bw’alikyuka n’abuleka. Omuntu omutuukirivu, bw’aliyonoona, taliba mulamu olw’obutuukirivu bwe obw’emabega.’ 13 (GN)Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’ayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa eby’obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bw’akoze omwo mw’alifiira. 14 (GO)Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu, 15 (GP)era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 16 (GQ)Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu.

17 “Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya. 18 (GR)Omuntu omutuukirivu bw’alikyuka okuva mu butuukirivu bwe n’akola ebibi, alifa olw’ebibi bye. 19 Ate omukozi w’ebibi bw’alikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe n’akola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olw’ebyo by’akoze. 20 Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”

Okugwa kwa Yerusaalemi Kunnyonnyolwa

21 (GS)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo n’ava e Yerusaalemi n’ajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.” 22 (GT)Naye akawungeezi nga kaawonawo tannatuuka, omukono gwa Mukama gwali gunziseeko, ng’asumuludde akamwa kange, omusajja n’alyoka atuuka enkeera. Nnali ntandise okwogera nga sikyali kasiru.

23 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 24 (GU)“Omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu n’agabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’ 25 (GV)Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi? 26 (GW)Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’

27 (GX)“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli. 28 Era ensi ndigifuula amatongo era etaliimu mugaso, era n’amaanyi ge yeewaana nago galikoma, era n’ensozi za Isirayiri ziryabulirwa, ne wataba n’omu azitambulirako. 29 Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, bwe ndifuula ensi okuba amatongo era etaliimu mugaso olw’ebikolwa eby’ekivve bye bakoze.’ 

30 “Naawe ggwe omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ez’amayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri Mukama Katonda,’ 31 (GY)abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe, 32 (GZ)laba gye bali oli ng’omuntu ayimba oluyimba olw’okwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola.

33 (HA)“Bino byonna bwe birituukirira, era bijja kutuukirira, kale balimanya nga nnabbi abadde mu bo.”

Abasumba n’Endiga

34 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (HB)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? (HC)Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. (HD)Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. (HE)Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. (HF)Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

“ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama. 10 (HG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.

11 “ ‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. 12 (HH)Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. 13 (HI)Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi. 14 (HJ)Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. 15 (HK)Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 (HL)Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.

17 (HM)“ ‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi. 18 Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe! 19 Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira n’okunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula n’ebigere byammwe?

20 “ ‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu. 21 (HN)Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera n’amayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, 22 (HO)ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati w’endiga n’endiga. 23 (HP)Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe. 24 (HQ)Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.

25 (HR)“ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa. 26 (HS)Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa. 27 (HT)Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu. 28 (HU)Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa. 29 (HV)Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga. 30 (HW)Era zirimanya nga nze Mukama Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bw’ayogera Mukama Katonda. 31 (HX)Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Obunnabbi ku Edomu

35 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, (HY)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. (HZ)Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’

(IA)“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, (IB)nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. (IC)Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. (ID)Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.

10 (IE)“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe, 11 (IF)era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. 12 (IG)Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” 13 (IH)Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. 14 (II)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. 15 (IJ)Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.