Bible in 90 Days
Birudaadi Ayogera
8 Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,
2 (A)“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?
Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
3 (B)Katonda akyusakyusa mu nsala ye?
Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
4 (C)Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,
n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
5 (D)Kyokka bw’onoonoonya Katonda,
ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
6 (E)bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,
ddala ddala anaakuddiramu
n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
7 (F)Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,
embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
8 (G)Buuza ku mirembe egy’edda,
era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
9 (H)kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,
era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
10 Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe
oba by’okutegeera kwabwe?
11 Ebitoogo biyinza okumera
awatali bitosi?
12 (I)Biba bikyakula nga tebinnasalibwa,
bikala mangu okusinga omuddo.
13 (J)Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,
essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
14 (K)Ebyo bye yeesiga byatika mangu,
ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
15 (L)Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka
azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
16 (M)Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,
nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
17 emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,
nga ginoonya ekifo mu mayinja.
18 (N)Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,
ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
19 (O)Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,
ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
20 (P)Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,
era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
21 (Q)Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,
n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
22 (R)Abalabe bo balijjula obuswavu,
era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”
Yobu Ayanukula
9 Yobu n’alyoka addamu nti,
2 (S)“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3 (T)Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4 (U)Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5 (V)Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6 (W)Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7 (X)Ayogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8 (Y)Ye yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9 (Z)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 (AA)Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 (AB)Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 (AC)Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 (AD)Katonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 (AE)Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 (AF)Yandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 (AG)Teyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
21 (AH)“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22 (AI)Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 (AJ)Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 (AK)Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 (AL)Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 (AM)Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo[a] agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 (AN)Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 (AO)ne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 (AP)Omusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30 (AQ)Ne bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31 era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 (AR)Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 (AS)Tewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 (AT)eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 (AU)Olwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
10 (AV)“Obulamu bwange mbukyayidde ddala,
noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,
njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
2 (AW)Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,
ntegeeza ky’onvunaana.
3 (AX)Kikusanyusa okunnyigiriza,
okunyooma omulimu gw’emikono gyo,
n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
4 (AY)Amaaso go ga mubiri?
Olaba ng’omuntu bw’alaba?
5 (AZ)Ennaku zo zisinga ez’omuntu,
n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
6 (BA)olyoke onoonye ebisobyo byange
era obuulirize ekibi kye nkoze,
7 newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?
8 (BB)“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
9 (BC)Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,
ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
10 Tewanzitulula ng’amata
n’onkwasa ng’omuzigo?”
11 (BD)Tewannyambaza omubiri n’olususu,
n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
12 (BE)Kale wampa okuganja mu maaso go,
era walabirira, n’omwoyo gwange.
13 (BF)Naye bino wabikweka mu mutima gwo,
era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
14 (BG)Singa nyonoona, ondaba
era tewandindese n’otombonereza.
15 (BH)Bwe mba nga nsingibbwa omusango,
zinsanze nze!
Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,
kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16 (BI)Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,
era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
17 (BJ)Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,
era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;
amayengo ne gajja okunnumba olutata.
18 (BK)“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19 Singa satondebwa,
oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
20 (BL)Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko?
Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
21 (BM)nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22 y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
era n’okutabukatabuka,
ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”
Zofali Ayogera
11 Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,
2 (BN)“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?
Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
3 (BO)Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
4 (BP)Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
era ndi mutukuvu mu maaso go.’
5 Naye, singa Katonda ayogera,
singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
6 (BQ)n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.
Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
7 (BR)“Osobola okupima ebyama bya Katonda?
Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
8 (BS)Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
9 Obuwanvu bwabyo businga ensi
era bugazi okusinga ennyanja.
10 (BT)“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
ani ayinza okumuwakanya?
11 (BU)Mazima ddala amanya abantu abalimba.
Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
13 (BV)“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14 (BW)singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15 (BX)olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 (BY)Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 (BZ)Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 (CA)Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 (CB)Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20 (CC)Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,
era tebalisobola kuwona,
essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”
Yobu Ayanukula
12 Awo Yobu n’amuddamu nti,
2 (CD)“Awatali kubuusabuusa muli bantu.
Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
3 (CE)Naye nange nnina amagezi ntegeera,
temunsinga.
Ani atabimanyi ebyo byonna?
4 (CF)Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
5 Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,
ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
6 (CG)Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana,
era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe
abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
7 Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,
oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
8 Oba yogera n’ettaka linaakusomesa
oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 (CH)Biki ku bino ebitamanyi nti,
omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 (CI)Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 (CJ)Okutu tekugezesa bigambo
ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 (CK)Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 (CL)Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;
y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 (CM)Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;
ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 (CN)Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,
bw’agata gazikiriza ensi.
16 (CO)Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,
abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 (CP)Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,
abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 (CQ)Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,
n’abasibamu obukete.[b]
19 (CR)Bakabona abatwala nga tebalina kantu,
n’asuula abasajja abaanywera.
20 (CS)Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,
era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21 Ayiwa ekivume ku bakungu,
era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 (CT)Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,
n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 (CU)Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;
agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 (CV)Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;
n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 (CW)Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;
abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”
13 “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
2 (CX)Kye mumanyi nange kye mmanyi;
siri wa wansi ku mmwe.
3 (CY)Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
4 (CZ)Naye mmwe mumpayiriza;
muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
5 (DA)Kale singa musirika!
Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
6 Muwulire kaakano endowooza yange,
muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
7 (DB)Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
Munaamwogerera eby’obulimba?
8 (DC)Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,
munaamuwoleza ensonga ze.
9 (DD)Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?
Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10 Tayinza butakunenya,
singa osaliriza mu bubba.
11 (DE)Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
Entiisa ye teyandikuguddeko?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13 Musirike nze njogere;
kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana,
obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 (DF)Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 (DG)Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 (DH)Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 (DI)Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,
mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 (DJ)Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
20 Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,
awo sijja kukwekweka.
21 (DK)Nzigyako omukono gwo,
olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
22 (DL)Kale nno ompite nzija kukuddamu,
oba leka njogere ggwe onziremu.
23 (DM)Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?
Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
24 (DN)Lwaki okweka amaaso go,
n’onfuula omulabe wo?
25 (DO)Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?
Onooyigga ebisasiro ebikaze?
26 (DP)Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma,
n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
27 (DQ)Oteeka ebigere byange mu nvuba,
era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
28 (DR)Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”
14 (DS)“Omuntu azaalibwa omukazi,
abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
2 (DT)Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;
abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
3 (DU)Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?
Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
4 (DV)Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?
Tewali n’omu!
5 (DW)Ennaku z’omuntu zaagererwa,
wagera obungi bw’emyezi gye
era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
6 (DX)Kale tomufaako muleke yekka,
okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.
7 “Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:
Bwe gutemebwa, guloka nate,
era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
8 Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka
era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
9 naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa
ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
10 (DY)Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,
assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 (DZ)Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 (EA)bw’atyo omuntu bw’agalamira,
era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.
13 (EB)“Singa kale onkweka emagombe
era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!
Singa ongerera ekiseera
n’onzijukira!
14 Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
Ennaku zange zonna ez’okuweereza
nnaalindanga okuwona kwange kujje.
15 (EC)Olimpita nange ndikuyitaba;
olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
16 (ED)Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange,
naye tolyekaliriza bibi byange.
17 (EE)Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;
olibikka ku kibi kyange.
18 “Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,
era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
19 (EF)ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja
era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;
bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
20 Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;
okyusa enfaanana ye n’omugoba.
21 (EG)Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,
bwe bagwa, takiraba.
22 Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira
ne yeekungubagira yekka.”
Erifaazi Ayogera
15 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 (EH)“Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu,
oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
3 Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,
oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
4 Naye onyooma Katonda
n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
5 (EI)Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,
era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
6 (EJ)Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze,
emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.
7 (EK)“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
8 (EL)Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda?
Olowooza gwe mugezi wekka?
9 (EM)Kiki ky’omanyi kye tutamanyi?
Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
10 (EN)Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe,
abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
11 (EO)Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala,
ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
12 (EP)Lwaki omutima gwo gukubuzizza,
amaaso go ne gatemereza
13 n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda,
n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?
14 (EQ)“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,
oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
15 (ER)Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be,
n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
16 (ES)oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu,
anywa obutali butuukirivu nga amazzi!
17 “Mpuliriza nnaakunnyonnyola,
leka nkubuulire kye ndabye:
18 (ET)abasajja ab’amagezi kye bagambye
nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
19 abo bokka abaweebwa ensi
nga tewali mugwira agiyitamu.
20 (EU)Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna,
n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
21 (EV)Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge;
byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
22 (EW)Atya okuva mu kizikiza adde,
ekitala kiba kimulinze okumusala.
23 (EX)Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya,
amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
24 Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira,
bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
25 (EY)Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde,
ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
26 n’agenda n’ekyejo amulumbe,
n’engabo ennene enzito.
27 (EZ)“Wadde nga yenna yagejja amaaso
ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
28 (FA)wakubeera mu bibuga eby’amatongo,
ne mu bifulukwa,
ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
29 (FB)Taddeyo kugaggawala,
n’obugagga bwe tebulirwawo,
n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
30 (FC)Taliwona kizikiza,
olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge,
era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
31 (FD)Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,
kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
32 (FE)Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,
n’amatabi ge tegalikula.
33 (FF)Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera,
ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
34 (FG)Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba,
era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
35 (FH)Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu,
embuto zaabwe zizaala obulimba.”
Yobu Ayanukula
16 Yobu n’addamu nti,
2 (FI)“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;
mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
3 (FJ)Ebigambo byammwe bingi, tebiikome?
Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
4 (FK)Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe[c] gwange.
5 Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;
ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.
6 “Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,
bwe nsirika era busigalawo.
7 (FL)Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;
osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
8 (FM)Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,
obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
9 (FN)Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,
annumira emba;
omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
10 (FO)Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;
bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11 (FP)Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,
era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
12 (FQ)Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
13 (FR)abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
14 (FS)Annumba, emirundi n’emirundi,
n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.
15 (FT)“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,
ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
16 Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 (FU)newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
n’okusaba kwange nga kutukuvu.
18 (FV)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
19 (FW)Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 (FX)Mikwano gyange bansekerera,
amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 (FY)Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
22 (FZ)“Emyaka mitono eginaayitawo
nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”
17 (GA)Omutima gwange gwennyise,
ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2 (GB)Ddala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.
3 (GC)“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4 Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 (GD)Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6 (GE)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 (GF)Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 (GG)Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 (GH)Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10 (GI)“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 (GJ)Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 (GK)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 (GL)ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 (GM)kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 (GN)Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Birudaadi Ayanukula
18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,
2 “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3 (GO)Lwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4 (GP)Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5 (GQ)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6 Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 (GR)Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 (GS)Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9 Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 (GT)Entiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 (GU)Emitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 (GV)Kirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 (GW)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 (GX)Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 (GY)Emirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 (GZ)Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 (HA)Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 (HB)Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 (HC)Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 (HD)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Yobu Amuddamu
19 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Mulikomya ddi okunnyigiriza
ne mummenya n’ebigambo?
3 Emirundi kkumi nga munvuma;
temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4 (HE)Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,
obukyamu bwange, bwange nzekka.
5 (HF)Bwe muba munneegulumiririzaako
ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6 (HG)mumanye nga Katonda ankoze bubi
era anzingizza mu kitimba kye.
7 (HH)“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8 (HI)Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
amakubo gange agalese mu kizikiza.
9 (HJ)Anziggyeeko ekitiibwa kyange
n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 (HK)Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 (HL)Obusungu bwe bumbubuukirako;
ambala ng’omu ku balabe be.
12 (HM)Amaggye ge galumba n’amaanyi;
ganzimbako enkomera
ne gagumba okwetooloola weema yange.
13 (HN)“Anziggyeeko baganda bange;
abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
mikwano gyange ginneerabidde.
15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
ne bandaba nga munnagwanga.
16 Mpita omuddu wange naye tawulira,
wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 (HO)N’obulenzi obuto bunsekerera;
buli lwe bundaba bunvuma.
19 (HP)Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 (HQ)Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
nsigazzaawo bibuno byokka.
21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 (HR)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
Omubiri gwe mufunye tegumala?
23 (HS)“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 (HT)Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 (HU)Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,
kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 (HV)nze mwene ndimulaba,
n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 (HW)nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
Zofali Addamu
20 Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti,
2 “Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu
kubanga nteganyizibbwa nnyo.
3 (HX)Mpulidde nga nswadde olw’okunenya,
okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.
4 “Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda,
okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
5 (HY)nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono,
era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
6 (HZ)Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu
n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
7 (IA)alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye:
abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
8 (IB)Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika;
abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
9 (IC)Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba,
taliddayo kulaba kifo kye nate.
10 (ID)Abaana be basaana bakolagane n’abaavu,
emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
11 (IE)Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge,
ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.
12 “Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke
era akukweka wansi w’olulimi lwe,
13 (IF)tayagala kukuleka,
wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
14 Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
15 Aliwandula eby’obugagga bye yamira;
Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
16 (IG)Alinywa obutwa bw’ensweera;
amannyo g’essalambwa galimutta.
17 (IH)Alisubwa obugga,
n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
18 Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde;
talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
19 (II)kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba,
yawamba amayumba g’ataazimba.
20 (IJ)“Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe,
wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
21 (IK)Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya;
obugagga bwe tebujja kusigalawo.
22 Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira;
alibonaabonera ddala nnyo.
23 (IL)Ng’amaze okujjuza olubuto lwe,
Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
24 (IM)Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
25 (IN)Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe,
omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba.
Entiisa erimujjira.
26 (IO)Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe.
Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo,
gwokye ebisigadde mu weema ye.
27 (IP)Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe;
ensi erimusitukirako n’emujeemera.
28 (IQ)Ebintu by’ennyumba biritwalibwa,
biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
29 (IR)Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi,
nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”
Yobu Ayanukula
21 Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
2 “Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,
era kino kibazzeemu amaanyi.
3 (IS)Mungumiikirizeeko nga njogera,
oluvannyuma museke.
4 (IT)“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?
Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5 (IU)Muntunuulire mwewuunye,
mujja kukwata ne ku mumwa.
6 Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;
omubiri gwange ne gukankana.
7 (IV)Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
8 (IW)Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
ezzadde lyabwe nga balaba.
9 (IX)Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10 (IY)Ennume zaabwe teziremererwa,
ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11 Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;
obuto ne bubeera mu kuzina.
12 (IZ)Bayimbira ku bitaasa n’ennanga,
ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
13 (JA)Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
mangwago ne bakka mu ntaana.
14 (JB)Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!
Tetwegomba kumanya makubo go.
15 (JC)Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?
Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16 Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,
noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.
17 (JD)“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
Ennaku ebajjira emirundi emeka?
Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18 (JE)Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19 (JF)Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20 (JG)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21 (JH)Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
22 (JI)“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24 (JJ)omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25 Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26 (JK)Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
envunyu ne zibabikka bombi.
27 “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
enkwe ze mwagala okunsalira.
28 (JL)Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29 Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
Temukkiriza bye babagamba,
30 (JM)nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31 Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
ani amusasula ebyo by’akoze?
32 Atwalibwa ku ntaana,
era amalaalo ge gakuumibwa.
33 (JN)Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
abantu bonna bamugoberera,
n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
34 (JO)“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?
Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
Erifaazi Addamu
22 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 (JP)“Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
3 Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
4 (JQ)“Akukangavvula lwa kumutya
era kyava akuvunaana?
5 (JR)Okwonoona kwo si kunene nnyo?
Ebibi byo si bingi nnyo?
6 (JS)Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
7 (JT)Tewawa bakoowu mazzi,
abaagala wabamma emmere,
8 (JU)wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9 (JV)Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
10 Emitego kyegivudde gikwetooloola.
Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
11 (JW)Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
era lwaki amataba gakubikkako?
12 (JX)“Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13 (JY)Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14 (JZ)Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
15 Onoosigala mu kkubo ery’edda
abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
16 (KA)Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17 (KB)Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18 (KC)Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
19 (KD)Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20 (KE)‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
21 (KF)“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
22 Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23 (KG)Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24 (KH)n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
25 (KI)awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
era ffeeza esingayo obulungi.
26 (KJ)Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27 (KK)Olimusaba, alikuwulira,
era olituukiriza obweyamo bwo.
28 Ky’olisalawo kirikolebwa,
era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29 (KL)Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
Olwo alirokola abagudde.
30 (KM)Alinunula n’oyo aliko omusango,
alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”
Yobu Ayanukula
23 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (KN)“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala,
omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3 Singa nnali mmanyi aw’okumusanga
nandisobodde okulaga gy’abeera!
4 (KO)Nanditutte empoza yange gy’ali,
akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5 Nanditegedde kye yandinzizeemu,
ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6 (KP)Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi?
Nedda, teyandinteeseko musango.
7 (KQ)Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye,
era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
8 “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo;
ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9 (KR)Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba,
bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
10 (KS)Naye amanyi amakubo mwe mpita,
bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11 (KT)Ebigere byange bimugoberedde;
ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12 (KU)Saava ku biragiro by’akamwa ke.
Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13 (KV)“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya?
Akola kyonna ekimusanyusa.
14 (KW)Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza,
era bingi byategese by’akyaleeta.
15 Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge;
bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16 (KX)Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange,
Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17 (KY)Naye ekizikiza tekinsirisizza,
ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”
24 (KZ)“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2 (LA)Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
ne balunda ebisolo bye babbye.
3 (LB)Batwala endogoyi ya mulekwa
ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
4 (LC)Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5 (LD)Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
6 Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
7 (LE)Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
tebalina kye beebikka mu mpewo.
8 (LF)Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
9 (LG)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 (LH)Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
13 (LI)“Waliwo abo abajeemera omusana,
abatamanyi makubo ge,
abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 (LJ)Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
ekiro abbira ddala.
15 (LK)Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
n’abikka ne ku maaso ge.
16 (LL)Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
kyokka emisana baba beggalidde.
Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 (LM)Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 (LN)Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 (LO)Olubuto lunaamwerabiranga;
envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 (LP)Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 (LQ)Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 (LR)Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 (LS)Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
25 (LT)“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.