Bible in 90 Days
19 (A)“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli[a], n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,[b] mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 20 (B)Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda. 21 (C)Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
22 (D)“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 23 (E)Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda. 24 (F)“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”
1 (G)Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. 2 Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, 3 (H)ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Okuyitibwa kwa Yeremiya
4 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,
5 (I)“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
6 (J)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7 Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 8 (K)Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
9 (L)Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 (M)Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11 (N)Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”
12 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”
13 (O)Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”
14 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15 (P)Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
16 (Q)Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,
kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,
era ne basinza ebibajje bye beekolera
n’emikono gyabwe.
17 (R)“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 18 (S)Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 19 (T)Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Isirayiri eva ku Katonda
2 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, 2 (U)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
mu nsi etali nnime.
3 (V)Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
akabi nga kabatuukako,’ ”
bw’ayogera Mukama Katonda.
4 Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,
era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.
5 (W)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
6 (X)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
7 (Y)Ne mbaleeta mu nsi engimu,
mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
ne mufuula omugabo gwange ekivume.
8 (Z)Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”
Abo abakola ku mateeka tebammanya.
Abakulembeze ne banjeemera.
Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.
9 (AA)“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”
bw’ayogera Mukama,
“Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
10 Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;
era mutume e Kedali, mwetegereze.
Mujja kulaba nga tekibangawo.
11 (AB)Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
n’ebitagasa.
12 Wewuunye ggwe eggulu,
era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”
bw’ayogera Mukama.
13 (AC)“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”
Ebyava mu kubula kwa Isirayiri
14 (AD)“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?
Kale lwaki afuuse omuyiggo?
15 (AE)Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
16 (AF)Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi
bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
17 (AG)Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,
eyakukulemberanga
akulage ekkubo?
18 (AH)Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
19 (AI)Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,
n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.
Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,
n’oba nga tokyantya,”
bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.
Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala
20 (AJ)Mukama ow’eggye agamba nti,
“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
wakuba obwamalaaya
ng’ovuunamira bakatonda abalala.
21 (AK)Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
22 Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,
naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo
bisigala bikyalabika,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (AL)Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
ngeraga eno n’eri,
24 (AM)ng’endogoyi ey’omu nsiko
eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 (AN)Tokooya bigere byo,
era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
nteekwa okubanoonya.”
26 (AO)Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
era ne bannabbi baayo,
27 (AP)nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 (AQ)Kale bakatonda be weekolera baluwa?
Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.
Okubonerezebwa kutuuse
29 (AR)“Lwaki munneemulugunyiza?
Mwenna mwanneeddiimira,”
bw’ayogera Mukama.
30 (AS)Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
ng’empologoma bw’etta.
31 (AT)Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.
Mbadde nga ddungu gye muli
ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
“Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 (AU)Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35 (AV)ogamba nti, “Sirina musango,
ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 (AW)Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 (AX)Era n’eyo olivaayo
ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
tagenda kukuyamba.
Yuda Omukazi Atali Mwesigwa
3 (AY)“Omusajja bw’agoba mukazi we,
omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,
omusajja we alimukomyawo nate?
Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?
Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;
naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”
bw’ayogera Mukama.
2 (AZ)Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.
Waliwo ekifo we bateebakira naawe?
Ku mabbali g’ekkubo we watulanga
n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;
n’olyoka oyonoona ensi
n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
3 (BA)Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
tokwatibwa nsonyi.
4 (BB)Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange
okuva mu buto bwange,
5 (BC)onoonyiigira ddala emirembe gyonna,
olisunguwala emirembe gyonna?
Bw’otyo bw’oyogera,
naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
Isirayiri, Atali Mwesigwa
6 (BD)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. 7 (BE)Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. 8 (BF)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. 9 (BG)Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 10 (BH)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
11 (BI)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (BJ)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,
“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (BK)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
wansi wa buli muti oguyimiridde,
era ne mutaŋŋondera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
14 (BL)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 (BM)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 (BN)Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 17 (BO)Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 18 (BP)Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.
19 (BQ)“Nze kennyini nalowooza
“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,
era mbawe ensi eyeegombebwa,
nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.
Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’
ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,
bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”
bw’ayogera Mukama.
Okuyitibwa Okwenenya
21 (BR)Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri
kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu,
nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,
ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
22 (BS)“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,
nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”
Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,
kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
23 (BT)Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala
temuli kantu.
Ddala mu Mukama Katonda waffe
mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
24 (BU)Naye okuva mu buto bwaffe
bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala
bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe,
batabani baabwe ne bawala baabwe.
25 (BV)Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde
kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,
okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;
kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
4 (BW)“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,
“eri nze gy’olina okudda.
Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna
n’otosagaasagana,
2 (BX)era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya
era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’
olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa
era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
3 (BY)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,
“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,
temusiga mu maggwa.
4 (BZ)Mukoowoole Mukama,
mweweeyo mutukuze emitima gyammwe
mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,
obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,
ne wataba ayinza kubuzikiza.”
Yuda Erumbibwa
5 (CA)“Kirangirire mu Yuda
era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
6 (CB)Weereza obubaka eri Sayuuni nti,
Mudduke temulwa,
kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,
okuzikiriza okw’amaanyi.”
7 (CC)Empologoma evudde mu kisaka kyayo,
omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.
Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa
bibuleko abibeeramu.
8 (CD)Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
9 (CE)Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,
kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,
bakabona basamaalirire
ne bannabbi beewuunye.”
10 (CF)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
11 (CG)Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa 12 (CH)embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”
13 (CI)Laba ajja ng’ebire,
amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 (CJ)Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.
Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 (CK)Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,
nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 (CL)“Labula amawanga nti ajja:
kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,
‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo
nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 (CM)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
18 (CN)“Empisa zammwe,
n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
Nga kya bulumi!
Nga kifumita omutima.”
19 (CO)Obulumi, Ayi Obulumi!
Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
mpulidde enduulu z’olutalo.
20 (CP)Okuzikirizibwa kweyongeddeko
era ensi yonna eyonooneddwa.
Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,
n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
21 Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo
n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?
22 (CQ)“Kubanga abantu bange basirusiru,
tebammanyi.
Baana abatalina magezi;
abatategeera.
Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,
tebamanyi kukola birungi.”
23 (CR)Natunuulira ensi,
nga njereere,
ate ne ntunula ne ku ggulu,
ng’ekitangaala kigenze.
24 (CS)Natunuulira agasozi
nga gajugumira,
n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
25 (CT)Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,
era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,
era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,
olw’obusungu bwe obungi.
27 (CU)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Ensi yonna eriyonoonebwa,
wadde nga sirigizikiririza ddala.
28 (CV)Noolwekyo ensi erikungubaga
era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,
kubanga njogedde
era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
29 (CW)Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,
ebibuga byonna biribuna emiwabo,
abamu beesogge ebisaka;
n’abalala balinnye waggulu ku njazi.
Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;
tewali abibeeramu.
30 (CX)Okola ki ggwe,
ggwe eyayonoonebwa?
Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
31 (CY)Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”
Tewali n’Omu mugolokofu
5 (CZ)“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
tunulatunula olabe,
noonya wonna we bakuŋŋaanira,
bw’onoosanga omuntu omu bw’ati
omwesimbu ow’amazima,
nnaasonyiwa ekibuga kino.
2 (DA)Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
baba balayirira bwereere.”
3 (DB)Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
era bagaanyi okwenenya.
4 (DC)Ne njogera nti,
“Bano baavu abasirusiru.
Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,
amateeka ga Katonda waabwe.
5 (DD)Kale ndigenda eri abakulembeze
njogere nabo;
Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,
amateeka ga Katonda waabwe.”
Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo
nga baakutula ebisiba.
6 (DE)Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.
Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,
buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;
Kubanga ebibi byabwe bingi,
okudda ennyuma kunene.
7 (DF)“Mbasonyiwe ntya?
Abaana bammwe banvuddeko,
ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.
Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,
ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
8 (DG)Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
buli muntu ng’akaayanira muka munne.
9 (DH)Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
bw’ayogera Mukama,
Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi
efaanana bw’etyo?”
Ekiragiro ky’Okulumba Yuda
10 (DI)“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
naye togimalirawo ddala.
Giggyeeko amatabi gaagyo,
kubanga si bantu ba Mukama.
11 (DJ)Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda
zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
12 (DK)Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,
“Talina kyajja kukola,
tewali kabi kanaatugwako,
era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
13 (DL)Bannabbi mpewo buwewo
era ekigambo tekibaliimu;
noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”
14 (DM)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,
“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,
ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,
n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
15 (DN)Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,
ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
Ensi eyaguma ey’edda,
abantu ab’olulimi lwe mutamanyi
aboogera bye mutategeera
16 omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,
bonna balwanyi nnamige.
17 (DO)Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;
balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;
balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,
ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.
18 (DP)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. 19 (DQ)Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
20 “Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,
kirangirire mu Yuda.
21 (DR)Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,
abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
22 (DS)Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
“temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
23 (DT)Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.
Bajeemye banvuddeko.
24 (DU)Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,
eya ddumbi n’eya ttoggo,
mu ntuuko zaayo;
atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”
25 Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese
ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.
26 (DV)“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.
Batega abantu omutego.
27 (DW)Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.
Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,
ne bagejja era ne banyirira.
28 (DX)Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,
era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
29 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”
bw’ayogera Mukama.
“Nneme okwesasuza ku ggwanga
eriri nga eryo?
30 (DY)“Ekigambo eky’ekitalo
era eky’ekivve kigudde mu nsi:
31 (DZ)Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,
bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.
Naye ku nkomerero
munaakola mutya?”
Abeesigwa Bagambibwa Okudduka
6 (EA)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
okuzikirira okw’entiisa.
2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
omulungi oyo omubalagavu.
3 (EB)Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
buli omu yeezimbire w’ayagala.
4 (EC)“Mwetegeke mumulwanyise!
Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
5 Tugende, tulumbe kiro
tuzikirize amayumba ge.”
6 (ED)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,
“Muteme emiti mukole entuumo
muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
7 (EE)Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
bye ndaba buli bbanga.
8 (EF)Nkulabula,
ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
9 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
10 (EG)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
tebakisanyukira n’akamu.
11 (EH)Kyenva nzijula ekiruyi
sikyasobola kukizibiikiriza.
“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (EI)Enju zaabwe
ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
bw’ayogera Mukama.
13 (EJ)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
boogera eby’obulimba.
14 (EK)Ekiwundu ky’abantu bange
bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
So nga tewali mirembe.
15 (EL)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
16 (EM)Kino Mukama ky’agamba nti,
“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (EN)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
mmwe amawanga
era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (EO)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
20 (EP)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
21 (EQ)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
22 (ER)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,
“Laba, eggye lijja
eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23 (ES)Bakutte omutego n’effumu,
abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
24 (ET)Tuwulidde ettutumu lyabwe;
era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25 (EU)Togeza kugenda mu nnimiro
newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
n’entiisa ejjudde mu bantu.
26 (EV)Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
27 (EW)“Nkufudde ekigezesa
abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
amakubo gaabwe.
28 (EX)Bonna bakyewaggula
abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 (EY)Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
kubanga Mukama abalese.”
Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu
7 Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. 2 (EZ)Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.
Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. 3 (FA)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. 4 (FB)Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ 5 (FC)Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, 6 (FD)ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, 7 (FE)kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. 8 Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.
9 (FF)“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; 10 (FG)ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? 11 (FH)Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.
12 (FI)“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. 13 (FJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. 14 (FK)Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. 15 (FL)Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.
16 (FM)“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 (FN)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. 19 (FO)Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”
20 (FP)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Okugaana Okuwulira Bannabbi
21 (FQ)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 22 (FR)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 23 (FS)Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 24 (FT)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 25 (FU)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 26 (FV)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.
27 (FW)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (FX)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”
Ekiwonvu eky’Okufiiramu
30 (FY)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (FZ)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (GA)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (GB)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (GC)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.
8 “Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago. 2 (GD)Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka. 3 (GE)N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Ekibi n’Okubonerezebwa
4 (GF)“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
5 (GG)Kale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
6 (GH)Nawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
7 (GI)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”
8 (GJ)Muyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
9 (GK)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
10 (GL)Noolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 (GM)Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
babikomya kungulu nga boogera nti,
Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 (GN)Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
balikka lwe balibonerezebwa,”
bw’ayogera Mukama.
13 (GO)“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
biribaggyibwako.
14 (GP)Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 (GQ)Twasuubira mirembe
naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye waaliwo ntiisa.
16 (GR)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
17 (GS)“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
amasalambwa g’otasobola kufuga,
emisota egyo girikuluma,”
bwayogera Mukama.
18 (GT)Nnina ennaku etewonyezeka,
omutima gwange gwennyise.
19 (GU)Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
okuva mu nsi ey’ewala.
“Mukama taliimu mu Sayuuni?
Kabaka we takyalimu?”
“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,
bakatonda abalala abatagasa?”
20 “Amakungula gayise,
n’ekyeya kiyise,
tetulokolebbwa.”
21 (GV)Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.
Nkaaba ne nzijula ennaku.
22 (GW)Teri ddagala mu Gireyaadi?
Teriiyo musawo?
Lwaki ekiwundu ky’abantu bange
tekiwonyezebwa?
9 (GX)Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga
n’amaaso gange luzzi lwa maziga,
nnandikaabye emisana n’ekiro
olw’abantu bange be batta!
2 (GY)Woowe singa mbadde n’ekisulo
ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
bibiina by’abasajja ab’enkwe.
3 (GZ)“Bategeka olulimi lwabwe
ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
era tebammanyi,”
bw’ayogera Mukama.
4 (HA)“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
5 Buli muntu alimba muliraanwa we
era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 (HB)Mubeera wakati mu bulimba;
mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
7 (HC)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
kiki ate kye nnaakolera abantu bange
kubanga boonoonye?
8 (HD)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
9 (HE)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
eriri nga lino?”
10 (HF)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.
11 (HG)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”
12 (HH)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
13 (HI)Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. 14 (HJ)Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” 15 (HK)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. 16 (HL)Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
17 (HM)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (HN)Leka bajje mangu
batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (HO)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
‘Nga tunyagiddwa!
Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”
20 (HP)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 (HQ)Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
22 (HR)“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”
23 (HS)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
oba omugagga mu bugagga bwe.
24 (HT)Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
bw’ayogera Mukama.
25 (HU)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 26 (HV)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
Katonda ne bakatonda abalala
10 Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2 (HW)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Temugobereranga makubo g’amawanga
oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,
kubanga amawanga ge byeraliikirira.
3 (HX)Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
batema omuti mu kibira,
omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
4 (HY)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
bagukomerera n’enninga n’ennyondo
guleme okunyeenyanyeenya.
5 (HZ)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”
6 (IA)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
7 (IB)Ani ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
8 (IC)Bonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
9 (ID)Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 (IE)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu
11 (IF)“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”
12 (IG)Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
13 (IH)Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,
asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba,
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.