Bible in 90 Days
30 (A)“Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 31 (B)Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, 32 (C)olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. 33 Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’
34 (D)“ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. 35 (E)Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. 36 (F)Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”
Mukama Ayita Samwiri
3 (G)Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
2 (H)Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye. 3 (I)Ettabaaza[a] ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu[b] ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali. 4 (J)Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno.” 5 N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”
6 Mukama n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”
7 (K)Samwiri yali tannategeera nga Mukama y’amuyita, nga n’ekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.
8 Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.”
Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka. 9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.
10 Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
11 (L)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala. 12 (M)Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri. 13 (N)Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza. 14 (O)Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
15 Samwiri n’addayo n’agalamira okutuusa obudde lwe bwakya, n’aggulawo enzigi ez’ennyumba ya Mukama. N’atya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna, 16 naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
17 (P)Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.” 18 (Q)Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”
19 (R)Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira. 20 (S)Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. 21 (T)Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.
Abafirisuuti Bawamba Essanduuko ya Katonda
4 (U)Awo ekigambo kya Samwiri ne kibuna Isirayiri yenna.
Mu biro ebyo Abayisirayiri ne balumba Abafirisuuti, Abayisirayiri ne basiisira okumpi ne Ebenezeri, ate nga Abafirisuuti bo basiisidde mu Afeki. 2 Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa. 3 (V)Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.”
4 (W)Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya Mukama Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano.
5 (X)Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma. 6 Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?”
Bwe baategeera nti essanduuko ya Mukama ereeteddwa mu nkambi, 7 (Y)Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. 8 Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale[c] bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. 9 (Z)Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.”
10 (AA)Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. 11 (AB)Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
Okufa Kwa Eri
12 (AC)Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 13 (AD)Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.
14 Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”
Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza. 15 (AE)Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. 16 Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”
Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?” 17 Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”
18 (AF)Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.
19 Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako. 20 Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo.
21 (AG)N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde. 22 N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”
Abafirisuuti n’Essanduuko ya Mukama mu Asudodi ne Ekuloni
5 (AH)Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi; 2 (AI)ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni[d], okuliraana Dagoni. 3 (AJ)Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. 4 (AK)Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama, ng’omutwe gwe n’emikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ng’ekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. 5 (AL)Bakabona ba Dagoni n’abo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gw’essabo lye, ne leero.
6 (AM)Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. 7 Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.” 8 (AN)Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.
9 (AO)Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama. 10 Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni.
Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe.” 11 (AP)Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa. 12 Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu.
Essanduuko Ezzibwayo mu Isirayiri
6 Awo essanduuko ya Mukama bwe yali yakamala emyezi musanvu mu nsi y’Abafirisuuti, 2 (AQ)Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya Mukama? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.”
3 (AR)Ne baddamu nti, “Bwe muba muzzaayo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa Mukama kyeyavudde ababonereza.”
4 (AS)Abafirisuuti ne babuuza nti, “Kiki kye tunamuweereza okuba ekiweebwayo olw’omusango?” Ne babaddamu nti, “Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu bitaano n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bitaano[e], ng’omuwendo gwa bakulembeze b’Abafirisuuti bwe guli.
“Mwabonerezebwa mu ngeri y’emu ng’abakulembeze bammwe n’ensi yammwe. 5 (AT)Noolwekyo mukole ebibumbe eby’ebizimba n’eby’emmese ebireetedde ensi okusaanawo, muwe Katonda wa Isirayiri ekitiibwa; oboolyawo anaabasonyiwa, ne balubaale bammwe n’ensi yammwe. 6 (AU)Lwaki mukakanyaza emitima gyammwe ng’Abamisiri ne Falaawo bwe baakola? Bwe yabamala[f] amaanyi, tebakkiriza Bayisirayiri kugenda era ne bagenda?
7 (AV)“Kale nno, muteeketeeke ekigaali ekipya, n’ente bbiri ezaakazaala, ezitateekebwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali, naye ennyana zaazo muziziggyeeko. 8 Muddire essanduuko ya Mukama mugiteeke ku kigaali, ate muddire n’ekisanduuko mwe munaateeka ebintu ebya zaabu olw’ekiweebwayo olw’ekibi, mukiteeke ku mabbali g’essanduuko ya Mukama. Mugisindike, egende yokka. 9 (AW)Naye mugitunuulire; bw’eneekwata ekkubo erigenda ewaabayo mu nsi yaayo, e Besusemesi, olwo nga Mukama ye yatuleeseeko ekibonoobono kino ekinene. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo tunaategeera ng’omukono gwe si gwe gutubaddeko, kyatutuukako butuusi.”
10 Ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezaakazaala, ne baziggyako ennyana zaazo ne bazisiba ku kigaali. 11 Ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali n’ekisanduuko ekyalimu emmese eza zaabu n’ebibumbe eby’ebizimba okugiriraana. 12 Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo ey’e Besusemesi.
13 Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba. 14 (AX)Ekigaali ne kituukira mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi ne kiyimirira omwo okumpi n’awali ejjinja eddene. Abantu ne bayasa embaawo ez’ekigaali, ente ne baziwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 15 (AY)Abaleevi[g] ne batwala essanduuko ya Mukama, n’ekisanduuko ekyalimu ebibumbe ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Awo ku lunaku olwo abantu b’e Besusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka eri Mukama. 16 Abakulembeze abataano ab’Abafirisuuti olwalaba ebyo, ne baddayo mu Ekuloni ku lunaku olwo.
17 (AZ)Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri Mukama byali: ekimu kya Asudodi, n’ekirala kya Gaza, n’ekirala kya Asukulooni, n’ekirala kya Gaasi, n’ekirala kya Ekuloni; 18 era n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bwe byali, ng’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti ebyali eby’Abakungu abataano, ate nga bibuga ebiriko enkomera n’ebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe baateeka essanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi, ne libeera kijjukizo n’okutuusa leero.
19 (BA)Naye nsanvu ku basajja ab’e Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama. Abantu ne banakuwala nnyo olw’ekibonerezo ekinene Mukama kye yabawa, 20 (BB)era abantu b’e Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya Mukama tugiweereze ani?”
21 (BC)Ne batuma ababaka eri abatuuze b’e Kiriyasuyalimu n’obubaka nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama. Muserengete, mujje mugiddukire mugitwale ewammwe.”
7 (BD)Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama[h].
Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa
2 Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama. 3 (BE)Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 4 Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.
5 (BF)Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.” 6 (BG)Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.
7 (BH)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 8 (BI)Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 9 (BJ)Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.
10 (BK)Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. 11 Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.
12 (BL)Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri[i], ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.” 13 (BM)Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti. 14 Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli[j].
15 (BN)Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. 16 Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa[k] mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna. 17 (BO)N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.
Abayisirayiri Basaba Kabaka
8 (BP)Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. 2 (BQ)Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. 3 (BR)Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.
4 (BS)Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, 5 (BT)ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.”
6 (BU)Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama. 7 (BV)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. 8 Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. 9 (BW)Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.”
10 Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba. 11 (BX)N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. 12 (BY)Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. 13 Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. 14 (BZ)Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. 15 Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. 16 Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. 17 Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. 18 (CA)Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye Mukama talibafaako ku lunaku olwo.”
19 (CB)Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, 20 (CC)naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.”
21 (CD)Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu Mukama. 22 (CE)Mukama n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.”
Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.”
Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta
9 (CF)Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini. 2 (CG)Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.
3 Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.” 4 (CH)Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.
5 (CI)Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.” 6 (CJ)Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.” 7 (CK)Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
8 Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.” 9 (CL)(Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).
10 Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali. 11 (CM)Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?” 12 (CN)Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu. 13 Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira[l] mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”
14 Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu. 15 Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti, 16 (CO)“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
17 (CP)Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.” 18 Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?” 19 Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo. 20 (CQ)Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?” 21 (CR)Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?” 22 Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.
23 Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”
24 (CS)Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo. 25 (CT)Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu. 26 Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga. 27 Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”
10 (CU)Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri. 2 (CV)Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’
3 (CW)“Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. 4 Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize.
5 (CX)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. 6 (CY)Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya. 7 (CZ)Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky’onoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe.
8 (DA)“Serengeta onsookeyo e Girugaali[m]. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.”
Sawulo Afuulibwa Kabaka
9 (DB)Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. 10 (DC)Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo. 11 (DD)Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?” 12 Omu ku batuuze b’ekitundu ekyo n’abuuza nti, “Ye kitaabwe y’ani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?” 13 Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, n’ayambuka mu kifo ekigulumivu.
14 (DE)Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.” 15 Kojja wa Sawulo n’amugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.” 16 (DF)Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka.
17 (DG)Samwiri n’ayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri Mukama e Mizupa[n]. 18 (DH)N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. 19 (DI)Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”
20 Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu[o]. 21 N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika. 22 (DJ)Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?”
Awo Mukama n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”
23 (DK)Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu. 24 (DL)Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”
25 (DM)Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe.
26 (DN)Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima. 27 (DO)Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega.
Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi
11 (DP)Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni[p] n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” 2 (DQ)Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” 3 Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.”
4 (DR)Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. 5 Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese.
6 (DS)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. 7 (DT)N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. 8 (DU)Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu.
9 Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. 10 (DV)Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” 11 (DW)Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne.
Sawulo Akakasibwa Okuba Kabaka
12 (DX)Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
13 (DY)Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero Mukama alokodde Isirayiri.” 14 (DZ)Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” 15 (EA)Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.
Ebigambo bya Samwiri ng’Asiibula
12 (EB)Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. 2 (EC)Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. 3 (ED)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”
4 Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”
5 (EE)Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”
6 (EF)Samwiri n’agamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. 7 (EG)Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.
8 (EH)“Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.
9 (EI)“Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. 10 (EJ)Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ 11 (EK)Mukama n’alyoka atuma Yerubbaali[q], ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. 12 (EL)Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ 13 (EM)Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga. 14 (EN)Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. 15 (EO)Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.
16 (EP)“Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu Mukama kyagenda okukola mu maaso gammwe. 17 (EQ)Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”
18 (ER)Awo Samwiri n’asaba Mukama, Mukama n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. 19 (ES)Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”
20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. 21 (ET)Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. 22 (EU)Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe. 23 (EV)Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. 24 (EW)Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. 25 (EX)Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”
Samwiri Anenya Sawulo
13 Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. 2 (EY)Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe. 3 (EZ)Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!” 4 (FA)Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali.
5 (FB)Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. 6 (FC)Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. 7 (FD)Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.
Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya. 8 (FE)N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. 9 (FF)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 10 (FG)Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza.
11 (FH)Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, 12 (FI)ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”
13 (FJ)Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. 14 (FK)Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.” 15 (FL)Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.
Ebbula ly’Ebyokulwanyisa mu Isirayiri
16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi. 17 (FM)Abalabe ne bava mu nkambi y’Abafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali, 18 (FN)n’ekibinja ekirala ne kyolekera Besukolooni, n’ekyokusatu ne kyolekera ensalo etunuulidde ekiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu.
19 (FO)Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” 20 Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. 21 Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda.
22 (FP)Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani[r]. 23 (FQ)Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi.
Yonasaani Alumba Abafirisuuti
14 Lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende ku ludda luli mu nkambi ey’Abafirisuuti.” Kyokka n’atabuulira kitaawe.
2 (FR)Sawulo yali asiisidde ku njegoyego za Gibea wansi w’omukomamawanga mu Migulooni. Yalina abaserikale nga lukaaga; 3 (FS)ku bo kwe kwali Akiya eyali ayambadde ekkanzu ey’obwakabona[s] nga ye mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro. Tewali yamanya nti Yonasaani agenze.
4 (FT)Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene. 5 Olukonko olumu lwali ku luuyi olw’obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n’olulala nga luli ku luuyi olw’obukiikaddyo okwolekera Geba. 6 (FU)Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono.
7 Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.” 8 Yonasaani n’alyoka ayogera nti, “Kale, tusomoke tugende eri abasajja, tubeerage. 9 Bwe banaatugamba nti, ‘Mutulindirire okutuusa lwe tunajja,’ kale tunaasigala we tuli, ne tutagenda gye bali. 10 (FV)Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje gye tuli,’ tunaayambuka, kubanga ako ke kanaaba akabonero gye tuli nti Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”
11 (FW)Awo bombi ne beeraga eri olusiisira lw’Abafirisuuti. Abafirisuuti ne boogera nti, “Mulabe, Abaebbulaniya batandise okuva mu binnya mwe baali beekwese.” 12 (FX)Abasajja ab’omu nkambi ne bakoowoola Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga boogera nti, “Mwambuke gye tuli, tubalage enkola.”
Awo Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Ngoberera twambuke kubanga Mukama abawaddeyo mu mukono gwa Isirayiri.”
13 Yonasaani n’alinnyalinnya, ng’ayavula nga n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bw’amuvaako emabega. Yonasaani n’atta Abafirisuuti, n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ng’amuvaako emabega naye n’atta abo abaali bawonyeewo. 14 Mu lulumba olwo olwasooka, Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye, batta abasajja amakumi abiri mu kibangirizi ekyenkana ekitundu kya eka.
Isirayiri Atta Abafirisuuti bangi
15 (FY)Awo ne waba okutya kungi nnyo mu ggye lyonna ery’Abafirisuuti abo abaali mu nkambi n’abaali ku ttale; era n’ab’omu bibinja ebirala n’ebibondo ebirumba n’ettaka ne likankana. Okukankana okwo kwava eri Katonda.
16 (FZ)Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ng’ekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna. 17 Awo Sawulo n’alagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani n’eyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo.
18 (GA)Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri. 19 (GB)Awo Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi y’Abafirisuuti, n’agamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.” 20 (GC)Awo Sawulo n’abasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala. 21 (GD)Abaebbulaniya abaabeeranga n’Abafirisuuti, abaali bagenze nabo mu nkambi, ne beegatta ku Bayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 22 (GE)Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu bwe baawulira ng’Abafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe. 23 (GF)Mukama n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni.
Yonasaani Alya Omubisi gw’Enjuki
24 (GG)Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ng’agamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ng’obudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba n’omu ku baserikale akomba ku kantu.
25 Awo abantu bonna bwe baatuuka mu kibira ne balaba omubisi gw’enjuki ku ttaka. 26 Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba n’omu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola. 27 (GH)Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina n’annyika omusa gwagwo mu bisenge by’enjuki, n’agukombako, amaaso ge ne ganyirira n’addamu amaanyi. 28 Awo omu ku baserikale n’amugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde n’atulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.” 29 (GI)Yonasaani n’ayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki. 30 Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gw’abalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?”
31 (GJ)Abayisirayiri we baamalira okutta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni nga bakooye nnyo. 32 (GK)Ne badda ku munyago, ne baddira endiga n’ente n’ennyana ne bazisalira wansi ku ttaka ne balya ennyama n’omusaayi gwayo. 33 Awo omuntu omu n’ategeeza Sawulo nti, “Abantu basobya ku Mukama kubanga balya ennyama erimu omusaayi.”
N’ayogera nti, “Musobezza nnyo. Munjiringisirize wano ejjinja eddene kaakano.” 34 Sawulo n’agamba nti, “Muyiteeyite mu bantu mubategeeze nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye n’endiga ye muzittire wano era mu zirye. Temuddangayo okusobya ku Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Awo buli omu ku bo n’aleeta ente ye ekiro ekyo n’agisalira awo. 35 (GL)Sawulo n’azimbira Mukama ekyoto, era ekyo kye kyoto kye yasooka okuzimbira Mukama.
36 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lw’eneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’osiima.”
Naye kabona n’ayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.” 37 (GM)Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda n’atamuddamu ku olwo.
38 (GN)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze b’abantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero. 39 (GO)Nga Mukama alokola Isirayiri bw’ali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba n’omu amwanukula.
40 Awo Sawulo n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’onoosiima.”
41 Sawulo n’asaba Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we. 42 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani n’alondebwa.
43 (GP)Sawulo n’abuuza Yonasaani nti, “Mbulira ky’okoze.” Yonasaani n’amutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gw’enjuki nga nkozesa omusa gw’omuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?” 44 (GQ)Sawulo n’amuddamu nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo bw’otoofe, Yonasaani!” 45 (GR)Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa. 46 Ne Sawulo n’alekeraawo okugoberera Abafirisuuti, nabo ne beddirayo mu nsi yaabwe.
47 (GS)Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, n’Abamoni, ab’e Edomu, ne bakabaka ba Zoba, n’Abafirisuuti, na buli we yaddanga n’abawangula. 48 (GT)N’alwana n’obuzira bungi n’awangula Abamaleki, n’anunula Isirayiri okuva mu mukono gw’abo abaabanyaganga.
Enju ya Sawulo
49 (GU)Batabani ba Sawulo baali Yonasaani, ne Isuvi, ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri gaali Merabu nga ye mukulu, ate omuto nga ye Mikali. 50 Omukyala we ye yali Akinoamu muwala wa Akimaazi. Omuduumizi w’eggye lye omukulu ye yali Abuneeri mutabani wa Neeri, taata wa Sawulo omuto. 51 (GV)Kiisi kitaawe wa Sawulo ne Neeri kitaawe wa Abuneeri baali batabani ba Abiyeeri. 52 (GW)Mu biro byonna ebya Sawulo, waaliwo okulwanagana okw’amaanyi n’Abafirisuuti, era buli Sawulo bwe yalabanga omusajja ow’amaanyi oba omuzira n’amuyingiza mu magye.
15 (GX)Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Mukama nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka w’abantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri Mukama Katonda. 2 (GY)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olw’ekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri. 3 (GZ)Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, n’eŋŋamira n’endogoyi.’ ”
4 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya abasajja, n’ababalira e Terayimu, nga bawera abaserikale ab’ebigere emitwalo amakumi abiri, n’abalala omutwalo gumu okuva mu Yuda. 5 Sawulo n’asemberera ekibuga kya Amaleki n’abateegera mu kiwonvu. 6 (HA)N’agamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki.
7 (HB)Awo Sawulo n’alumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba w’e Misiri. 8 (HC)N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala. 9 (HD)Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala.
10 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Samwiri nti, 11 (HE)“Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira Mukama ekiro kyonna.
12 (HF)Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.”
13 Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo n’ayogera nti, “Mukama akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya Mukama.” 14 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?” 15 Sawulo n’amuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente n’endiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri Mukama Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.”
16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze Mukama kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” 17 (HG)Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? Mukama yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. 18 Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’ 19 (HH)Lwaki tewagondedde ddoboozi lya Mukama? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga Mukama?”
20 (HI)Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya Mukama, era nagenze ku mulimu Mukama gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe. 21 Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”
22 (HJ)Naye Samwiri n’amugamba nti,
“Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka,
okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama?
Okugonda kusinga ssaddaaka,
era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.
23 (HK)Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira,
era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala.
Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama,
naye akugaanye okuba kabaka.”
24 (HL)Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe. 25 (HM)Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza Mukama.”
26 (HN)Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.” 27 (HO)Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekyambalo kye, ne kiyulika. 28 (HP)Samwiri n’amugamba nti, “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, n’abuwa omu ku baliraanwa bo akusinga. 29 (HQ)Oyo ayitibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye.”
30 (HR)Sawulo n’addamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso g’abakadde b’abantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.” 31 Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’asinza Mukama.
32 Samwiri n’alagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka w’Abamaleki.”
Agagi n’ajja gy’ali ng’akankana naye ng’agamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bw’okufa buyise.”
33 (HS)Naye Samwiri n’ayogera nti,
“Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana,
ne nnyoko talibeera na mwana.”
Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga Mukama e Girugaali.
34 (HT)Samwiri n’alyoka agenda e Laama, naye Sawulo ye n’agenda ewuwe mu Gibea ekya Sawulo. 35 (HU)Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. Mukama n’anyolwa olw’okufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.