Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Abaggalatiya 3:26 - Abakkolosaayi 4:18

Baana ba Katonda

26 (A)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (B)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (C)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.

Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. (D)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. (E)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we (F)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. (G)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” (H)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.

Pawulo Alowooza ku Baggalatiya

(I)Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. (J)Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 (K)Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 (L)neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.

12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 (M)era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 (N)Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?

17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 (O)Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 (P)Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

Agali ne Saala

21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (Q)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (R)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (S)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (T)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka
    ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
    newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
    abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (U)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (V)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

Eddembe mu Kristo

(W)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

(X)Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. (Y)Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. (Z)Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. (AA)Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. (AB)Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.

(AC)Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? (AD)Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. (AE)Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 (AF)Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 (AG)Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

Obulamu bw’Omwoyo

13 (AH)Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14 (AI)Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15 Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 16 (AJ)Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 17 (AK)Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 18 (AL)Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

19 (AM)Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 21 (AN)ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

22 (AO)Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 23 (AP)obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 24 (AQ)N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 (AR)Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.

(AS)Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. (AT)Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. (AU)Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe. (AV)Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.

(AW)Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. (AX)Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. (AY)Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. 10 (AZ)Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.

Si kukomola wabula abantu abaggya

11 (BA)Mulabe, bwe nnabawandiikira n’omukono gwange mu nnukuta ennene! 12 (BB)Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olw’omusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 13 (BC)Kubanga n’abo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 14 Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze. 15 (BD)Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya. 16 N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.

17 (BE)Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.

18 (BF)Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe n’omwoyo gwammwe. Amiina.

(BG)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.

(BH)Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

Emikisa mu Kristo

(BI)Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu. (BJ)Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe. (BK)Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli. (BL)Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo. (BM)Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli, kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna. (BN)Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo. 10 (BO)Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.

11 (BP)Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe; 12 (BQ)ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo. 13 (BR)Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, 14 (BS)gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.

Okusaba kwa Pawulo

15 (BT)Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 (BU)sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 (BV)ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 (BW)Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 (BX)Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 (BY)amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 (BZ)Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 (CA)Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu

(CB)Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. (CC)Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. (CD)Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna. Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, (CE)ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. (CF)Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. (CG)Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. (CH)Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. (CI)Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 10 (CJ)Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

11 Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, 12 (CK)nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 13 (CL)Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14 Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 15 (CM)Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16 alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17 Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 18 (CN)Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

19 (CO)Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 20 (CP)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 21 (CQ)Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22 Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Omulimu gwa Pawulo mu Baamawanga

(CR)Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.

(CS)Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba. (CT)Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okw’ekyama kwe yandaga. (CU)Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo. (CV)Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi. (CW)Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.

(CX)Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge. (CY)Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika. (CZ)Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. 10 (DA)Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo. 11 Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. 12 (DB)Kristo atuwa obuvumu n’obugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olw’okukkiriza nga tetutya. 13 Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.

Okwagala kwa Kristo

14 (DC)Nfukaamirira Kitaffe, 15 ebika byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi mwe biggya obulamu. 16 (DD)Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we, 17 (DE)Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, 18 (DF)mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. 19 (DG)Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.

20 (DH)Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, 21 (DI)agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina.

Okuba ab’omubiri ogumu

(DJ)Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. (DK)Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe. (DL)Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe. Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu. Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

(DM)Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. (DN)Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,

“Bwe yalinnya mu ggulu,
    n’atwala omunyago,
    n’awa abantu ebirabo.”

Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna. 11 (DO)Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza. 12 (DP)Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. 13 (DQ)Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.

14 (DR)Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba. 15 (DS)Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa. 16 (DT)Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.

Obulamu obuggya mu Kristo

17 (DU)Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 (DV)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 (DW)Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.

20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 (DX)kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 (DY)Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 (DZ)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.

25 (EA)Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. 26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27 Temuwanga Setaani bbanga. 28 (EB)Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.

29 Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. 30 (EC)Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. 31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 32 (ED)Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

Okubeera mu Musana

Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. (EE)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

(EF)Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. (EG)Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. (EH)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.

(EI)Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, (EJ)ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 (EK)Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 (EL)Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,

“Zuukuka ggwe eyeebase,
    Ozuukire mu bafu,
    Kristo anaakwakira.”

15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (EM)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (EN)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (EO)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (EP)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (EQ)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Abakazi ne ba bbaabwe

21 (ER)Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.

22 (ES)Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 (ET)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

25 (EU)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (EV)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (EW)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 (EX)N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 (EY)kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 (EZ)“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 (FA)Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Abazadde n’abaana baabwe

(FB)Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: (FC)Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. (FD)Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Abaddu ne bakama baabwe

(FE)Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. (FF)Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, (FG)nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. (FH)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.

Ebyokulwanyisa bya Katonda

10 (FI)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (FJ)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (FK)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (FL)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (FM)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (FN)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (FO)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (FP)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

19 (FQ)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.

21 (FR)Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 22 (FS)Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.

23 (FT)Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.

24 Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.

Okulamusa

(FU)Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; (FV)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.

Okwebaza n’okusaba Katonda

(FW)Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, (FX)era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. (FY)Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. (FZ)Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. (GA)Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. (GB)Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 (GC)mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 (GD)nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.

Obusibe bwa Pawulo bubunyisa Njiri

12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 13 (GE)n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 14 (GF)N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.

15 Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16 (GG)Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. 17 (GH)Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. 18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.

Era nzija kweyongera okusanyuka. 19 (GI)Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 20 (GJ)Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 21 (GK)Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 23 (GL)Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.

27 (GM)Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu. 28 Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda. 29 (GN)Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe. 30 (GO)Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.

Mulabire ku Kristo

(GP)Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, (GQ)mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, (GR)nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

(GS)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(GT)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(GU)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(GV)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(GW)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (GX)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (GY)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwakira Ensi

12 (GZ)Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. 13 (HA)Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

14 (HB)Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, 15 (HC)mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, 16 (HD)nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa. 17 (HE)Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna. 18 Era nammwe musanyukire wamu nange.

Timoseewo ne Epafuladito

19 (HF)Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. 20 (HG)Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, 21 (HH)kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. 22 (HI)Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. 23 (HJ)Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 24 (HK)Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.

25 (HL)Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 (HM)ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 (HN)Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 (HO)kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.

Obutuukirivu obwa Nnama ddala

Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza. (HP)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. (HQ)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. (HR)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, (HS)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.

(HT)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. (HU)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, (HV)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (HW)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (HX)nga nsuubira nga nange ndizuukira.

12 (HY)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune. 13 (HZ)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (IA)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.

15 (IB)Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira. 16 Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.

17 (IC)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (ID)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (IE)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (IF)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. 21 (IG)Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Okuyigiriza

(IH)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.

(II)Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.

(IJ)Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. (IK)Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. (IL)Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. (IM)N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako. (IN)Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Okwebaza

10 (IO)Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 11 (IP)Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 12 (IQ)Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 13 (IR)Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

14 (IS)Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 15 (IT)Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. 16 (IU)Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. 17 (IV)Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe. 18 (IW)Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. 19 (IX)Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

20 (IY)Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

21 (IZ)Munnamusize buli mutukuvu mu Kristo Yesu; era n’abooluganda abali wano nange babalamusizza.

22 (JA)Era n’abatukuvu bonna babatumidde, naye okusingira ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaali.

23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

Amiina.

Okwebaza n’okusaba

(JB)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, (JC)tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

(JD)Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. (JE)Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, (JF)olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. (JG)Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. (JH)Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, (JI)ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

(JJ)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (JK)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (JL)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (JM)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (JN)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

15 (JO)Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 (JP)Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 (JQ)Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 18 (JR)Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 19 (JS)Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 (JT)era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

21 (JU)Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. 22 Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. 23 Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa

24 (JV)Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 25 (JW)Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 26 (JX)Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 27 (JY)Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

28 (JZ)Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 29 (KA)Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.

(KB)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. (KC)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. (KD)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. (KE)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. (KF)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.

Obulamu obujjuvu mu Kristo

(KG)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, (KH)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.

(KI)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (KJ)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (KK)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (KL)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.

13 (KM)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (KN)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (KO)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.

16 (KP)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (KQ)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (KR)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (KS)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.

20 (KT)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (KU)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.

Ebiragiro ku Butukuvu

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. (KV)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, (KW)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. (KX)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

(KY)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. (KZ)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, (LA)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. (LB)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. (LC)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (LD)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (LE)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (LF)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15 (LG)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo

16 (LH)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (LI)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

18 (LJ)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (LK)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (LL)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Ebiragiro Ebirala

Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. (LM)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga (LN)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. (LO)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. (LP)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.

(LQ)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. (LR)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, (LS)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.

10 (LT)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (LU)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (LV)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (LW)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (LX)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.

16 (LY)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.

17 (LZ)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”

18 Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.