Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
naye olijja ddi gye ndi?
Nnaabeeranga mu nnyumba yange
nga siriiko kya kunenyezebwa.
3 (B)Sijjanga kwereetereza kintu
kyonna ekibi.
Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
sijjanga kubyeteekako.
4 (C)Sijjanga kuba mukuusa;
ekibi nnaakyewaliranga ddala.
5 (D)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
sijja kubigumiikirizanga.
6 (E)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
y’anamperezanga.
7 Atayogera mazima
taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
sirimuganya kwongera kubeera nange.
8 (F)Buli nkya nnaazikirizanga
abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
mu kibuga kya Mukama.
Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
109 (A)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
tonsiriikirira.
2 (B)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
banjogeddeko eby’obulimba.
3 (C)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
ne bannumbagana awatali nsonga.
4 (D)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
kyokka nze mbasabira.
5 (E)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.
6 (F)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
wabeewo amuwawaabira.
7 (G)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8 (H)Aleme kuwangaala;
omuntu omulala amusikire.
9 (I)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (J)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (K)Waleme kubaawo amusaasira,
wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (L)Ezzadde lye lizikirizibwe,
n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (M)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (N)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
n’ensi ebeerabirire ddala.
16 (O)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (P)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (Q)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
ne kumutobya ng’amazzi,
ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (R)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
era abanjogerako eby’akabi ebyereere.
21 (S)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
nnwanirira olw’erinnya lyo;
era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (T)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (U)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (V)Abandoopaloopa bansekerera;
bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.
26 (W)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (X)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (Y)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (Z)Abandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
30 (AA)Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
ע Ayini
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (A)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (B)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (C)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
era onjigirize amateeka go.
125 (D)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (E)Naye nze njagala amateeka go
okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (F)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
פ Pe
129 Ebiragiro byo bya kitalo;
kyenva mbigondera.
130 (G)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (H)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
nga njaayaanira amateeka go.
132 (I)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (J)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (K)Mponya okujooga kw’abantu,
bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (L)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
era onjigirizenga amateeka go.
136 (M)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
olw’abo abatakwata mateeka go.
צ Tisade
137 (N)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
era amateeka go matuufu.
138 (O)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
era byesigibwa.
139 (P)Nnyiikadde nnyo munda yange,
olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (Q)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
kyenva mbyagala.
141 (R)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (S)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
amateeka go ge gansanyusa.
144 (T)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
11 (A)eri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera. 12 (B)Abantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 (C)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
14 (D)“Siribonereza bawala bammwe
olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
abantu abatategeera balizikirira.
15 (E)“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
newaakubadde okwambuka e Besaveni.[a]
Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 (F)Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima
ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17 Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
mumuleke abeere yekka.
18 Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
beeyongera mu bwamalaaya;
n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 (G)Embuyaga kyeziriva zibatwala,
ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
15 Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi. 16 (A)Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza. 17 (B)Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.
Pawulo Akyalira Yakobo
18 (C)Awo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ng’agenda okulaba Yakobo, n’abakadde b’Ekkanisa y’omu Yerusaalemi bonna baaliwo. 19 (D)Okulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo n’abategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ng’aweereza mu baamawanga.
20 (E)Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya. 21 (F)Baategeezebwa nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa z’Ekiyudaaya. 22 Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze. 23 (G)Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa. 24 (H)Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa. 25 (I)Ku nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”
26 (J)Ku lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.
Yesu Ayita Leevi
27 (A)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.” 28 (B)Leevi n’aleka awo byonna, n’asitukiramu n’amugoberera.
29 (C)Awo Leevi n’afumbira Yesu ekijjulo eky’amaanyi mu maka ge. Waaliwo abasolooza banne ab’omusolo bangi, n’abantu abalala bangi, abaali ku kijjulo ekyo. 30 (D)Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya, olw’abayigirizwa be nga bagamba nti, “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza b’omusolo n’abalina ebibi?”
31 Yesu n’abaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde. 32 (E)Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.”
33 (F)Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba n’okusaba. N’abayigirizwa b’Abafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.”
34 (G)Naye Yesu n’abagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ng’awasizza omugole akyali nabo? 35 (H)Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ng’abaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.”
36 Awo Yesu n’abagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bw’akikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, n’ekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde. 37 Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ez’amaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike. 38 Naye wayini omusu ateekebwa mu nsawo za maliba empya. 39 Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.