Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37

Zabbuli ya Dawudi.

37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
    so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
(B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
    bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

(C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
    onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
(D)Sanyukiranga mu Mukama,
    anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

(E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
    mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
(F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
    n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

(G)Siriikirira awali Mukama,
    ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
    Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

(H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
    teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
(I)Kubanga ababi balisalibwako,
    naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
    wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
    ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
    kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
    ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
    era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
    n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
    bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
    naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
    era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
    ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20 (S)Naye ababi balizikirira;
    abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
    era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
    naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
    naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
    aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
    kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
    naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
    wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
    Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
    munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
    n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
    naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
    ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
    n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
    era ebigere bye tebiseerera.

32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
    ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
    wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
    otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
    ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
    ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
    ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37 (AI)Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;
    obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
38 (AJ)Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
    ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

39 (AK)Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
    ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 (AL)Mukama abayamba n’abalokola;
    abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
    kubanga gy’ali gye baddukira.

Olubereberye 11:1-9

Omunaala gwa Babiri

11 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. (A)Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.

(B)Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. (C)Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”

(D)Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. (E)Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”

(F)Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. (G)Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Abaebbulaniya 6:13-20

Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda

13 (A)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 14 (B)Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 15 (C)Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.

16 (D)Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 17 (E)Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. 18 (F)Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. 19 (G)Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. 20 (H)Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Yokaana 4:1-15

Yesu n’Omukazi Omusamaliya

(A)Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana, newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, (B)n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.

Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. (C)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (D)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (E)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (F)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (G)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (H)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (I)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.