Book of Common Prayer
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.
102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
2 (B)Tonneekweka
mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
3 (C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
4 (D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
neerabira n’okulya emmere yange.
5 Olw’okwaziirana kwange okunene,
nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
6 (E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7 (F)Nsula ntunula,
nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
8 Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
9 (G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
mpotoka ng’omuddo.
12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
18 (O)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (P)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (Q)okuwulira okusinda kw’abasibe,
n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (R)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
okusinza Mukama.
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (S)Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (T)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (U)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (V)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (W)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6 (F)Owulire okukaaba kwange,
kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7 (G)Nziggya mu kkomera,
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (H)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (I)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (J)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (K)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (L)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (M)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (N)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (O)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (P)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
10 (A)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
bakotese emitwe gyabwe.
11 (B)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
12 (C)Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
mu bifuba bya bannyaabwe.
13 (D)Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
14 (E)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
15 (F)Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
16 (G)Abalabe bo bonna
baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17 (H)Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
18 (I)Kaabirira Mukama
n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
maaso go kuwummula.
14 Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. 15 Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo. 16 (A)Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? 17 (B)Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.
27 (A)Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 28 (B)Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29 Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30 Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 31 (C)Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 32 (D)Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi.
Ekyekiro kya Mukama Waffe
12 (A)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”
13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 (B)Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”
16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.
17 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri. 18 Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
19 Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”
20 (C)N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya. 21 (D)Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
22 (E)Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”
23 (F)Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.
24 (G)N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. 25 (H)Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.