Book of Common Prayer
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
6 (A)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
so tombonereza mu kiruyi kyo.
2 (B)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3 (C)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4 (D)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5 (E)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
6 (F)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
n’omutto ne gutoba.
7 (G)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 (B)Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 (C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 (B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 (C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 (D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6 Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
7 (E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 (F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 (G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.
12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
17 (A)Sayuuni agolola emikono gye,
naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
18 (B)“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
19 (C)“Nakoowoola bannange bannyambe,
naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
baddemu amaanyi.
20 (D)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
21 (E)“Abantu bawulidde okusinda kwange,
naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
lubatuukeko, babeere nga nze.
22 (F)“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
n’omutima gwange guzirika.”
8 (A)Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. 9 (B)Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 (C)eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 (D)Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.
Pawulo akyusa mu ntegeka ze
12 (E)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13 Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 14 (F)era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 15 (G)Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 16 (H)nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 17 (I)Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18 (J)Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 (K)Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[a] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 (L)Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 (M)Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 (N)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.
Yesu Abuuzibwa Obuyinza gy’Abuggya
27 Yesu n’abayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali 28 ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”
29 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange n’ababuulira eyampa obuyinza obwo! 30 Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!”
31 Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 32 (A)Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.
33 Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.”
Awo Yesu n’abaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.