Book of Common Prayer
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
12 (J)Bwe baali bakyali batono,
nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
16 (M)Yaleeta enjala mu nsi,
emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (N)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (O)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (P)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (Q)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (R)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
23 (S)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (T)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (U)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (V)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
27 (W)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (X)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (Y)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (Z)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (AA)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (AB)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (AC)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (AD)Yalagira, enzige ne zijja
ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (AE)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (AF)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (AG)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (AH)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (AI)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (AJ)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (AK)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (AL)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (AM)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (AN)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
28 Awo Labusake n’ayimirira n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli! 29 (A)Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwange. 30 Temuganya Keezeekiya kubasendasenda mwesige Mukama ng’agamba nti, Mukama alibalokola, era n’ekibuga kino tekiriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
31 (B)“Temuwuliriza Keezeekiya. Bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mujje gye ndi, buli omu ku mmwe anywe okuva mu muzabbibu ggwe, buli muntu ku mutiini gwe, na buli muntu anywe amazzi ag’omu kidiba kye ye;[a] 32 (C)okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano n’omwenge omusu, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu, ensi ey’amafuta aga zeyituuni n’omubisi gw’enjuki, mube balamu muleme okufa.’
“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga abawabya bw’agamba nti, ‘Mukama alibalokola.’ 33 (D)Waliwo katonda n’omu owa baamawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 34 (E)Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n’ab’e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab’e Kena n’ab’e Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange? 35 (F)Ani ku bakatonda abo bonna ab’ensi ezo eyali alokodde ensi ye mu mukono gwange, mulyoke mulowooze nti Mukama alirokola Yerusaalemi mu mukono gwange?”
36 Naye abantu ne basirika ne bataddamu kigambo na kimu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
37 (G)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamutegeeza ebigambo Labusake bye yali ayogedde.
Ebigwanira omutume ne by’ateekwa okukola
9 (A)Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? 2 (B)Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.
3 Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. 4 (C)Sirina buyinza kulya na kunywa? 5 (D)Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa[a], ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? 6 (E)Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?
7 (F)Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? 8 Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? 9 (G)Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 (H)oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 (I)Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 (J)Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.
Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 13 (K)Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 (L)Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.
15 (M)Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa.
22 (A)Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 23 (B)Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”
Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi
24 (C)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”
28 (D)Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.