Zekkaliya 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?”
Read full chapter
Okubikkulirwa 3:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Firaderufiya
7 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.
Read full chapter
Okubikkulirwa 19:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.
Yabonereza malaaya omukulu
eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.
Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.