Zabbuli 97:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
Abaruumi 12:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okwagala
9 (A)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,
Read full chapter
Yoweeri 2:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
Mikka 5:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
oba abaana b’abantu.
Mikka 5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
ne wataba n’omu aziwonya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.