Add parallel Print Page Options

40 (A)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.

Read full chapter

(A)Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza.

Read full chapter

29 (A)Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza.

Read full chapter

    (A)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
    ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
(B)bajjajjammwe gye bangezesa;
    newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (C)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
    ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
    era tebamanyi makubo gange.’

Read full chapter

Footnotes

  1. 95:8 Meriba kitegeeza okwemulugunya
  2. 95:8 Maasa kitegeeza kugezesa

(A)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
    okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
    abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
    era ne banyweza endagaano yange,

Read full chapter