Zabbuli 7:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ayi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.
Zabbuli 7:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Katonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
Zabbuli 45:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
Zabbuli 33:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Zabbuli 17:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.