Add parallel Print Page Options

12 (A)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
    zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:12 Basani kyali kifo ekyali ku luuyi olw’obukiikakkono obw’ebuvanjuba, era kyali kimanyiddwa olw’ente zisseddume ez’amaanyi ate nga nsava.

18 (A)Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani.

Read full chapter

(A)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
    n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
    mulabe akajagalalo akanene akali eyo
    n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

Read full chapter

(A)Bagalamira okumpi ne buli kyoto
    ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
    mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.

Read full chapter

11 (A)Olinnyirira omwavu,
    n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.
Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,
    temuligabeeramu;
era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,
    temulinywa ku wayini waamu.

Read full chapter

(A)mmwe abagula abaavu n’effeeza
    n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
    ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

Read full chapter